Abaefeso 4 – LCB & LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaefeso 4:1-32

Okuba ab’omubiri ogumu

14:1 a Bef 3:1 b Baf 1:27; Bak 1:10Ng’omusibe wa Mukama waffe, mbakuutira mubeere n’empisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa okutambuliramu. 2Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala. 34:3 Bak 3:14Munyiikirenga okukuuma obumu obw’Omwoyo mu kwegatta awamu okw’emirembe. 44:4 1Ko 12:13Omubiri nga bwe guli ogumu, n’Omwoyo omu, n’essuubi liri limu ery’okuyitibwa kwammwe. 5Mukama waffe ali omu, n’okukkiriza kumu n’okubatizibwa kumu. 6Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.

74:7 a 1Ko 12:7, 11 b Bar 12:3Buli omu ku ffe yaweebwa ekisa ng’okugera kwa Kristo bwe kuli. 84:8 a Bak 2:15 b Zab 68:18Ebyawandiikibwa kyebiva bigamba nti,

“Bwe yalinnya mu ggulu,

n’atwala omunyago,

n’awa abantu ebirabo.”

9Okugamba nti “yalinnya,” kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w’ensi. 10Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, n’ayisa waggulu w’eggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bw’ensi yonna. 114:11 a 1Ko 12:28 b Bik 21:8Era y’omu oyo eyawa abamu okuba abatume, n’abalala okuba bannabbi, n’abalala okuba ababuulizi b’enjiri, n’abalala okuba abasumba, n’abalala okuba abayigiriza. 124:12 1Ko 12:27Ekyo yakikola olw’okutendeka abantu ba Katonda olw’omulimu ogw’obuweereza, okuzimba omubiri gwa Kristo. 134:13 a nny 3, 5 b Bak 1:28Ekyo kijja kutwongera okugenda mu maaso, okutuusa ffenna lwe tulibeera n’okukkiriza kumu, n’okumanyira ddala Omwana wa Katonda nga tukulidde ddala mu mwoyo okutuuka ku kigera eky’okubeera nga Kristo bw’ali.

144:14 a 1Ko 14:20 b Yak 1:6 c Bef 6:11Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ng’abaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogw’okuyigiriza okw’abantu abakuusa, mu nkwe olw’okugoberera enteekateeka ey’obulimba. 154:15 Bef 1:22Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gw’Ekkanisa. 164:16 Bak 2:19Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ng’ekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala.

Obulamu obuggya mu Kristo

174:17 Bar 1:21Ng’omugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ng’abatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe eby’obusirusiru. 184:18 a Bar 1:21 b Bef 2:12 c 2Ko 3:14Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by’obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu. 194:19 a 1Ti 4:2 b Bar 1:24 c Bak 3:5Tebakyalina nsonyi, beemalidde mu bya buwemu, na mululu gwa kukola bya bugwenyufu ebya buli ngeri.

20Kyokka mmwe si bwe mwayigirizibwa ku bya Kristo. 21Obanga ddala mwamuwulira, era ne muyigirizibwa mu ye ng’amazima bwe gali mu Yesu, 224:22 a 1Pe 2:1 b Bar 6:6kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. 234:23 Bak 3:10Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe, 244:24 a Bar 6:4 b Bef 2:10era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.

254:25 a Zek 8:16 b Bar 12:5Mulekeraawo okulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu. 26“Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona.” Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde. 27Temuwanga Setaani bbanga. 284:28 a Bik 20:35 b 1Bs 4:11 c Luk 3:11Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola eby’omugaso ng’akola n’emikono gye, alyoke afune ky’agabirako n’abo abeetaaga.

29Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira. 304:30 a 1Bs 5:19 b Bar 8:23Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa. 31Okunyiiga, n’obusungu, n’obukambwe, n’okukaayana, n’okuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe. 324:32 Mat 6:14, 15Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.