Abaebbulaniya 9 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 9:1-28

Okusinza ku nsi ne mu ggulu

19:1 Kuv 25:8Endagaano ey’olubereberye, yalina amateeka agaalagirwa ag’okusinzanga Katonda, era waaliwo n’eweema entukuvu ey’oku nsi. 29:2 a Kuv 25:8, 9 b Kuv 25:31-39 c Kuv 25:23-29 d Lv 24:5-8Mu weema eno mwalimu ebisenge bibiri. Mu kisenge ekisooka nga mwe muli ekikondo ekya zaabu eky’ettaala, n’emmeeza okwabeeranga emigaati emyawule, ekisenge kino kyayitibwanga Ekifo Ekitukuvu. 39:3 Kuv 26:31-33Era waaliwo olutimbe olwokubiri ng’emabega waalwo we wali ekifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu. 49:4 a Kuv 30:1-5 b Kuv 25:10-22 c Kuv 16:32, 33 d Kbl 17:10Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ky’obubaane ekya zaabu, n’essanduuko ey’endagaano, eyabikkibwako zaabu ku buli ludda. Mu ssanduuko nga mulimu ekibya ekya zaabu ekyalimu emmaanu, n’omuggo gwa Alooni nga gutojjedde, n’ebipande eby’amayinja eby’Amateeka Ekkumi eby’endagaano. 59:5 Kuv 25:17-19Ku kisaanikira ky’essanduuko nga kuliko bakerubbi ab’ekitiibwa nga basiikirizza entebe ey’okusaasira; ebintu ebyo tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.

69:6 Kbl 28:3Ebintu byonna nga bimaze okutegekebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga mu kisenge ekisooka buli lunaku ne bakola emirimu gyabwe egy’okuweereza. 79:7 a Lv 16:11-19 b Lv 16:34 c Beb 5:2, 3Naye Kabona Asinga Obukulu yekka ye yayingiranga mu kisenge eky’omunda omulundi gumu buli mwaka. Yagendangayo n’omusaayi, gwe yawangayo ku lulwe n’olw’ebibi by’abantu bye baakolanga mu butanwa. 89:8 a Beb 3:7 b Yk 14:6; Beb 10:19, 20Mu bino byonna, Mwoyo Mutukuvu atutegeeza bulungi nti, Ekkubo erituuka mu bifo ebitukuvu lyali terinnamanyika, ng’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’olubereberye ekyaliwo, n’enkola ey’edda ng’ekyaliwo. 99:9 Beb 5:1Amakulu geekyo mu kiseera kya leero, ge gano: ebirabo ne Ssaddaaka ebyaweebwangayo tebiyinza kutukuza mutima gw’oyo asinza. 109:10 a Lv 11:2-23 b Bak 2:16 c Beb 7:16Bikoma ku byakulya na byakunywa na ku bulombolombo obw’okunaaba, n’ebiragiro abantu bye baalina okukwata n’okugondera okutuusa ku biro eby’okuzza ebintu obuggya.

Omusaayi gwa Kristo

119:11 a Beb 2:17 b Beb 10:1 c Beb 8:2Kristo yajja nga Kabona Asinga Obukulu ow’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja. Yayingira mu weema esinga obukulu n’okutuukirira, etaakolebwa na mikono gya bantu, etali ya mu nsi muno. 129:12 a Beb 10:4 b nny 24 c Beb 7:27Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo. 139:13 Kbl 19:9, 17, 18Obanga omusaayi gw’embuzi, n’ente ennume, n’evvu ly’ente enduusi, bimansirwa ku abo abalina ebibi, ne bibatukuza mu mubiri; 149:14 a 1Pe 3:18 b Tit 2:14; Beb 10:2, 22 c Beb 6:1omusaayi gwa Kristo ataliiko kamogo, eyeewaayo ye yennyini eri Katonda olw’Omwoyo ataggwaawo, tegulisinga nnyo okutukuza emyoyo gyaffe okuva mu bikolwa ebifu tulyoke tuweereze Katonda omulamu?

159:15 a 1Ti 2:5 b Beb 7:22Noolwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, okufa bwe kwabaawo olw’okununulibwa okuva mu byonoono eby’omu ndagaano eyasooka, abo abaayitibwa ab’obusika obutaggwaawo balyoke baweebwe ekisuubizo.

16Kubanga ekiraamo kiteekebwa mu nkola ng’eyakikola amaze kufa. 17Kubanga kikola ng’eyakikola afudde, kubanga tekiba na makulu eyakikola bw’aba ng’akyali mulamu. 189:18 Kuv 24:6-8Era n’endagaano ey’olubereberye teyakolebwa awatali musaayi. 199:19 Kuv 24:6-8Kubanga Musa bwe yamala okuwa abantu bonna Amateeka, n’atwala omusaayi gwa zisseddume n’ogw’embuzi, n’amazzi, n’addira obutabi obw’akawoowo obwa ezobu, n’ebyoya by’endiga ebiriko omusaayi, n’amansira ku kitabo kyennyini era ne ku bantu. 209:20 Kuv 24:8; Mat 26:28N’ayogera nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano Katonda gye yabalagira okukwata.” 21Era bw’atyo n’amansira ne ku weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne ku byonna ebyakozesebwanga mu kusinza. 229:22 a Lv 8:15 b Lv 17:11Era mu mateeka buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.

239:23 Beb 8:5Ebifaananyi by’ebintu eby’omu ggulu kyebiva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu eby’omu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo. 249:24 Beb 8:2Kubanga Kristo teyayingira mu kifo kya Watukuvu w’Awatukuvu ekyakolebwa n’emikono gy’abantu, naye yayingira mu ggulu mwennyini gy’ali kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe. 259:25 a Beb 10:19 b nny 7, 8Kristo teyayingira mu ggulu kwewangayo mirundi mingi, nga Kabona Asinga Obukulu bw’ayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu buli mwaka n’omusaayi ogutali gugwe, 269:26 a Beb 4:3 b Beb 7:27kubanga kyali kimugwanira okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw’ensi. Naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y’omulembe, ne yeewaayo yennyini ng’ekiweebwayo. 279:27 a Lub 3:19 b 2Ko 5:10Ng’abantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu n’oluvannyuma okulamulwa ne kutuuka, 289:28 a Tit 2:13 b 1Pe 2:24 c 1Ko 1:7era ne Kristo bw’atyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi by’abantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

希伯来书 9:1-28

旧约敬拜的礼仪

1旧约有敬拜的礼仪和地上的圣幕。 2建成后的圣幕共分两间,外面的一间称为圣所,摆设了灯台、桌子和圣饼。 3在第二道幔子后面的那一间叫至圣所, 4里面有纯金的香坛和包金的约柜。约柜里珍藏着盛吗哪的金罐、亚伦那根发过芽的手杖和两块刻着十诫的石版, 5上面有荣耀的基路伯天使,高展翅膀盖着约柜上面的施恩座。关于这些事,现在不能一一细说。

6这些东西都齐备了,祭司们便经常进入圣所,举行敬拜。 7可是,只有大祭司有资格每年一次独自进入至圣所,而且每次都要端着血进去,为自己和以色列人的过犯献上。 8圣灵借此指明,只要头一个圣幕还在,进入至圣所的路就还没有开启。 9这件事是一个象征,告诉现今的世代:所献的礼物和祭物都不能使敬拜的人良心纯全, 10因为这些不过是关于饮食和各样洁净礼仪的外在规条,等新秩序的时代一到,便不再有效了。

美好新约

11现在基督已经来到,做了美好新约的大祭司,祂进入了那更伟大、更全备、非人手建造、不属于这个世界的圣幕。 12祂只进入至圣所一次便完成了永远的救赎,用的不是山羊和牛犊的血,而是自己的血。 13如果把山羊血、公牛血和母牛犊的灰洒在污秽的人9:13 污秽的人”指在犹太人的宗教礼仪上被视为不洁净的人。身上,就可以使他们圣洁,身体得到洁净, 14更何况基督借着永恒的灵把自己毫无瑕疵地献给上帝呢?祂的血岂不更能洗净我们的良心,使我们脱离导致灭亡的行为,以便事奉永活的上帝吗?

15因此,祂是新约的中保,借着死亡救赎了触犯旧约的人,好叫那些蒙召的人得到所应许的永恒基业。

16凡是遗嘱9:16 遗嘱”希腊文和“约”是同一个字。,必须等到立遗嘱的人死了以后才能生效。 17如果立遗嘱的人依然健在,遗嘱就不能生效。 18正因如此,连立旧约也需要用血才能生效。 19摩西依照律法向犹太人颁布所有诫命之后,便用红色的羊毛和牛膝草蘸了牛犊和山羊的血以及水,洒在律法书和百姓身上, 20说:“这是上帝用来与你们立约的血。” 21他又照样把血洒在圣幕和所有用来献祭的器具上。 22根据律法,几乎所有的器具都要用血来洁净,因为若不流血,罪就得不到赦免。

23既然仿照天上的样式所造的器具需要用祭牲的血来洁净,天上的原物当然要用更美的祭物来洁净。 24因为基督并非进入了人手所造的圣所,那只是真圣所的缩影,祂是进入了天堂,替我们来到上帝面前。 25祂在天上不必一次又一次地把自己献上,好像那些大祭司年年都带着牛羊的血进入至圣所。 26否则,自创世以来,祂不知道要受难多少次了。但如今在这世代的末期,祂只一次献上自己,便除去了人的罪。 27按着定命,人人都有一死,死后还有审判。 28同样,基督为了承担世人的罪,也曾一次献上自己。祂还要再来,不是来除罪,而是来拯救那些热切等候祂的人。