Abaebbulaniya 11 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 11:1-40

Okukkiriza

111:1 Bar 8:24; 2Ko 4:18Okukkiriza kwe kukakasa ebyo bye tusuubira, bwe butabaamu kakunkuna newaakubadde nga tebirabika. 211:2 nny 4, 39Okukkiriza kwe kwaleetera abantu ab’edda abakulu okusiimibwa Katonda.

311:3 Lub 1; Yk 1:3; 2Pe 3:5Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika. 411:4 a Lub 4:4; 1Yk 3:12 b Beb 12:24Olw’okukkiriza Aberi yawaayo Ssaddaaka esinga obulungi eri Katonda okusinga eya Kayini gye yawaayo, era ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Katonda ng’amuweerwa obujulirwa olw’ebirabo bye, era newaakubadde nga Aberi yafa, akyayogera.

511:5 Lub 5:21-24Olw’okukkiriza Enoka yatwalibwa nga taleze ku kufa, n’atalabika kubanga Katonda yamutwala. Bwe yali tannamutwala, yayogera nga Enoka bwe yamusanyusa. 611:6 Beb 7:19Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.

711:7 a Lub 6:13-22 b 1Pe 3:20Nuuwa bwe yalabulwa ku bintu bye yali tannalaba, n’atya, era mu kukkiriza n’azimba eryato olw’okulokola ennyumba ye. Bw’atyo n’asalira ensi omusango, ate n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuli mu kukkiriza.

811:8 a Lub 12:7 b Lub 12:1-4; Bik 7:2-4Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n’agonda, n’alaga mu kifo kye yali agenda okuweebwa ng’omugabo, bw’atyo n’agenda nga ne gy’alaga tamanyiiyo. 911:9 a Bik 7:5 b Lub 12:8; 18:1, 9 c Beb 6:17Era ne bwe yatuuka mu nsi Katonda gye yamusuubiza, mu nsi gye yali tamanyangako, olw’okukkiriza yasulanga mu weema era lsaaka ne Yakobo nabo bwe baakola, Katonda ng’abasuubizza nga bwe yasuubiza Ibulayimu. 1011:10 a Beb 12:22; 13:14 b Kub 21:2, 14Ibulayimu yali alindirira ekibuga kiri ekirina omusingi, Katonda kye yategeka era n’azimba.

1111:11 a Lub 17:17-19 b Lub 21:2Olw’okukkiriza ne Saala yennyini, omukazi omugumba yaweebwa amaanyi okuba olubuto newaakubadde nga yali ayise ku myaka egy’okuzaalirako; yakkiriza nti oyo amusuubizza mwesigwa. 1211:12 a Bar 4:19 b Lub 22:17Bwe kityo bangi ne bava mu muntu omu eyali omukadde ennyo ne baba bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era ng’omusenyu oguli ku nnyanja ogutabalika.

1311:13 a nny 39 b Mat 13:17 c Lub 23:4; Zab 39:12Abo bonna baafiira mu kukkiriza. Baafa nga Katonda bye yabasuubiza tebannabifuna, naye nga basanyufu nga bamanyi nti bibalindiridde, kubanga baategeera nti ku nsi kuno baali bagenyi bugenyi abatambuze. 14Aboogera bwe batyo balaga nti bayolekedde obutaka bwabwe obw’omu nsi endala. 1511:15 Lub 24:6-8Abantu abo singa baalowooza ku birungi eby’ensi eno bandisobodde okudda emabega. 1611:16 a 2Ti 4:18 b Mak 8:38 c Kuv 3:6, 15 d Beb 13:14Naye kaakano beegomba ensi esingako, ye y’omu ggulu. Katonda kyava aba Katonda waabwe, nga tekimuswaza kuyitibwa bw’atyo, kubanga abateekeddeteekedde ekibuga.

1711:17 Lub 22:1-10Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yagezesebwa, n’awaayo Isaaka omwana we omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa, 1811:18 Lub 21:12; Bar 9:7gwe kyayogerwako nti, “Mu Isaaka mw’olifunira abazzukulu,” 1911:19 Bar 4:21gwe yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era n’ayaniriza Isaaka, nga Isaaka ali ng’azuukidde mu bafu.

2011:20 Lub 27:27-29, 39, 40Olw’okukkiriza ebyo ebyali bigenda okubaawo, Isaaka yasabira Yakobo ne Esawu omukisa.

2111:21 Lub 48:1, 8-22Olw’okukkiriza Yakobo bwe yali anaatera okufa, yasabira bazzukulu be abaana ba Yusufu omukisa kinoomu, n’akutama ku muggo gwe n’asinza Katonda.

2211:22 Lub 50:24, 25Yusufu bwe yali anaatera okufa, olw’okukkiriza yayogera ku kuva kw’abaana ba Isirayiri mu Misiri, era n’abalagira n’okutwala amagumba ge nga baddayo ewaabwe.

23Olw’okukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo.

2411:24 Kuv 2:10, 11Olw’okukkiriza Musa ng’akuze, yagaana okuyitibwa omwana w’omumbejja wa Falaawo 2511:25 nny 37n’alondawo okubonaabonera awamu n’abantu ba Katonda n’agaana okuba mu ssanyu ery’ekibi eriggwaawo amangu. 2611:26 a Beb 13:13 b Beb 10:35Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera. 2711:27 Kuv 12:50, 51Olw’okukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ng’alaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso ag’omubiri. 2811:28 Kuv 12:21-23Olw’okukkiriza Musa yassaawo Embaga ejjuukirirwako Okuyitako, n’amansira omusaayi omuzikiriza aleme okutta abaana ababereberye Abayisirayiri.

2911:29 Kuv 14:21-31Olw’okukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ng’abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo.

3011:30 Yos 6:12-20Olw’okukkiriza, bbugwe wa Yeriko yagwa nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu.

3111:31 Yos 2:1, 9-14Olw’okukkiriza malaaya Lakabu, teyazikirizibwa n’abajeemu, kubanga yasembeza abakessi, n’emirembe.

3211:32 a Bal 4–5 b 1Sa 16:1, 13 c 1Sa 1:20Njogere ki nate? N’ekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidyoni, ne ku Baraki, ne Samusooni, ne Yefusa, ne Dawudi, ne Samwiri ne bannabbi abalala, 3311:33 a 2Sa 7:11; 8:1-3 b Dan 6:22abaawangula bakabaka olw’okukkiriza, be baakola eby’obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, era be baabuniza obumwa bw’empologoma, 3411:34 a 2Bk 20:7 b Bal 15:8be baazikiza omuliro ogw’amaanyi, be baawona obwogi bw’ekitala. Be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, era be baafuuka abazira ab’amaanyi mu ntalo, ne bagoba amaggye g’amawanga. 3511:35 1Bk 17:22, 23Abakazi baddizibwa abantu baabwe abaali bafudde ne bazuukira. Abalala baabonyaabonyezebwa okutuusa okufa, nga tebalokolebbwa, balyoke bafune obulamu obusingako nga bazuukidde. 3611:36 a Yer 20:2 b Lub 39:20N’abalala ne basekererwa ne bakubibwa embooko nga bagezesebwa, n’abalala ne basibwa ne bateekebwa ne mu makomera. 3711:37 a 2By 24:21 b 1Bk 19:10 c 2Bk 1:8Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n’emisumeeno, ne battibwa n’ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g’endiga n’ag’embuzi nga kumpi tebalina kantu, nga bali mu kwetaaga, ne banyigirizibwa, ne bayisibwa bubi, 38n’ensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi nga beekweka mu mpuku ne mu mpampagama z’enjazi. 3911:39 nny 13Naye abantu bano bonna abajjula okukkiriza tebaafuna kyasuubizibwa. 40Kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

希伯來書 11:1-40

論信心

1信心是對盼望的事有把握,對還沒看見的事很確定。 2古人因有這樣的信心而得到了讚許。 3我們憑信心知道宇宙是藉著上帝的話造成的,所以看得見的是從看不見的造出來的。

4亞伯憑信心向上帝獻祭,比該隱所獻的更美,蒙了上帝的悅納,被稱為義人。他雖然死了,卻仍然藉著信心說話。

5以諾因為信而被接到天上,沒有經歷死亡。世人找不到他,因為上帝已經把他接走了。其實他在被接之前,已經得到了肯定,是一個蒙上帝喜悅的人。 6沒有信心的人不能得到上帝的喜悅,因為來到上帝面前的人必須相信上帝存在,並相信祂會賞賜一切尋求祂的人。

7挪亞因為有信心,在上帝指示他未來要發生的事之後,就懷著敬畏的心建造方舟,來救全家的人。他藉著信心定了那個世代的罪,並承受了因信而來的義。

8亞伯拉罕因為有信心,聽到上帝的呼召後,就遵命前往他將要承受為產業的地方,但他出發的時候還不知道自己要去哪裡。 9他憑信心像異鄉人一樣寄居在上帝應許給他的地方。他住在帳篷裡,與同受一個應許的以撒雅各一樣。 10因為他盼望的是一座有根基的城,是由上帝設計、建造的。

11撒拉過了生育年齡後憑信心仍然得到了孕育後代的能力,因為她認定賜她應許的上帝言出必行。 12所以,從一個垂暮之年的人生出許多子孫,好像天上的星、海邊的沙那麼多。

13這些人到死都滿懷信心。他們雖然沒有得到上帝所應許的,卻從遠處望見了,就歡喜快樂,承認自己在世上不過是寄居的異鄉人。 14他們抱這樣的態度,表明他們正在尋找一個家鄉。 15如果他們想念的是自己離開的家鄉,就找機會回去了。 16然而,他們渴慕的是天上更美的家鄉。所以,上帝不以被他們稱為上帝為恥,因為祂已經為他們預備了一座城。

17亞伯拉罕被試驗時憑信心把以撒獻為祭物,承受應許的亞伯拉罕當時獻上了自己的獨生子。 18論到這兒子,上帝曾說:「以撒生的才可算為你的後裔。」 19他認定上帝能使死人復活,從象徵意義上說,他也確實從死亡中得回了以撒

20以撒憑信心指著將來的事為雅各以掃祝福。

21雅各憑信心在臨終之時分別為約瑟的兩個兒子祝福,並拄著拐杖敬拜上帝。

22約瑟臨終之時憑信心提到以色列人將來要離開埃及,並交代要如何處理自己的骸骨。

23摩西生下來時,他父母見他長得俊美,就憑信心把他藏了三個月,不怕違抗王的命令。

24摩西長大成人後,憑信心拒絕做法老之女的兒子, 25寧願與上帝的子民一同受苦,也不肯享受一時的罪中之樂。 26在他眼中,為基督所受的凌辱遠比埃及的財富更有價值,因為他盼望的是將來的賞賜。 27他憑信心離開埃及,不怕王的憤怒。他堅忍不拔,好像看見了肉眼不能看見的主。 28他憑信心守逾越節,行灑血的禮,免得那位殺長子的傷害以色列人。

29以色列人憑信心渡過紅海,如履乾地,埃及人試圖過去,卻被海水淹沒。 30以色列人憑信心繞著耶利哥城走了七天,城牆就倒塌了。

31妓女喇合憑信心善待以色列的探子,沒有與那些不順服的人一同滅亡。

32我還要再說下去嗎?我沒有時間一一細說基甸巴拉參孫耶弗特大衛撒母耳和眾先知的事了。 33他們憑信心戰勝了敵國,行了公義,得到了應許,堵住了獅子的口, 34熄滅了猛烈的火焰,刀下逃生,由軟弱變為剛強,作戰勇猛,擊退外敵。

35有些婦女得回了從死裡復活的親人;有些人受盡嚴刑拷打,仍不肯苟且偷生,為要得到一個復活後更美好的生命。 36有些人遭受戲弄和鞭打,還有些人遭受捆鎖和囚禁。 37他們被人用石頭打死,受威逼利誘11·37 有聖經抄本在此處無「受威逼利誘」。,被鋸成兩截,喪生刀劍之下,披著綿羊和山羊的皮四處奔跑,受盡貧乏、迫害和虐待, 38在曠野、群山、山洞和地穴中漂流不定。他們是世界不配有的!

39這些人都因信心而獲得讚許,但他們並未得到上帝的應許, 40因為上帝為我們預備了更美的,要叫他們與我們一同得到才算完美。