2 Samwiri 8 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 8:1-18

Obuwanguzi bwa Dawudi

1Oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, n’abafuula abaddu be, n’awamba n’ekibuga kyabwe ekikulu.

28:2 Lub 19:37; Kbl 24:17Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, n’alagira buli omu ku bo yebake wansi, n’abapimako n’olukoba olupima. Buli eyali ebipimo bibiri yattibwanga, naye oyo eyali ow’ebipimo ebisatu nga y’alama. Abamowaabu8:2 Abamowaabu baali bazzukulu ba Lutti (Lub 19:37) abaabeeranga mu kitundu eky’ebuvanjuba bw’Ennyanja ey’Omunnyo. Sawulo yali abawangudde era ng’abafufuggazizza (1Sa 14:47). Dawudi bwe yali mu buwaŋŋanguse, abooluganda be, yabaweereza mu Mowaabu (1Sa 22:3-4). Bajjajja ba Dawudi baavanga mu Mowaabu (Lus 1:22; 4:22) ne bafuuka baddu ba Dawudi ne bamuwanga obusuulu. 38:3 a 2Sa 10:16, 19 b 1Sa 14:47Ate era Dawudi n’awangula Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba, bwe yali nga yeddiza amatwale ge ku Mugga Fulaati. 48:4 Yos 11:9Dawudi n’awamba amagaali ga Kadadezeri lukumi, n’abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ebiri. N’atema kumpi embalaasi zonna, n’azilemaza n’alekawo kikumi ku zo.

58:5 1Bk 11:24Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko ne bajja okubeera Kadadezeri kabaka w’e Zoba, naye Dawudi n’atta emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ku bo. 68:6 nny 14; 2Sa 3:18; 7:9Dawudi n’assa ebibinja eby’abaserikale mu Busuuli e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu be, era ne bamuwanga obusuulu. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.

78:7 1Bk 10:16Dawudi n’anyaga engabo eza zaabu ezasitulibwanga abaserikale ba Kadadezeri n’azireeta e Yerusaalemi. 88:8 Ez 47:16Kabaka Dawudi n’anyaga n’ebikomo bingi ddala okuva mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri.

98:9 1Bk 8:65; 2By 8:4Awo Toyi kabaka w’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri, 10n’atuma mutabani we Yolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako, n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri. Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n’amutwalira ebintu bya ffeeza ne zaabu n’ebikomo.

118:11 1Bk 7:51; 1By 26:26Kabaka Dawudi n’abiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu bye yaggya mu mawanga amalala ge yawangula. 128:12 a nny 2 b 2Sa 10:14 c 2Sa 5:25 d 1Sa 27:8Amawanga gaali: Busuuli, ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti ne Amaleki; n’awonga n’omunyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba.

138:13 a 2Sa 7:9 b 2Bk 14:7; 1By 18:12Erinnya lya Dawudi ne litutumuka, bwe yakomawo okuva okutta Abasuuli omutwalo gumu mu kanaana mu kiwonvu eky’Omunnyo.

148:14 a Kbl 24:17-18 b Lub 27:29, 37-40 c nny 6N’ateeka ebibinja bya baserikale mu Busuuli yonna, Abasuuli bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.

Amannya g’Abakungu ba Dawudi

15Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, ng’afuga abantu be bonna mu bwenkanya ne mu mazima. 168:16 a 2Sa 19:13; 1By 11:6 b 2Sa 20:24; 1Bk 4:3Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omuduumizi w’eggye, Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza, 178:17 a 2Sa 15:24, 29; 1By 16:39; 24:3 b 1Bk 4:3; 2Bk 12:10Zadooki8:17 Zadooki yali muzzukulu wa Eriyazaali. Yasigala nga musajja wa Dawudi ow’oku lusegere, era oluvannyuma ye yafuka n’amafuta ku musika wa Dawudi, Sulemaani mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali nga be bakabona, Seroya nga ye muwandiisi, 188:18 a 2Sa 20:23; 1Bk 1:8, 38; 1By 18:17 b 1Sa 30:14Benaaya mutabani wa Yekoyaada nga ye mukulu w’Abakeresi n’Abaperesi8:18 Abakeresi n’Abaperesi baali magye mapangise. Abakeresi baava Kuleete, ate Abaperesi nga bava Bufirisuuti. Ebibinja ebyo byombi bye byakumanga bakabaka. abaakuumanga ba kabaka, batabani ba Dawudi nga be bawi ba magezi ab’obwakabaka.