2 Samwiri 6 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 6:1-23

Essanduuko Ereetebwa e Yerusaalemi

1Dawudi n’akuŋŋaanya nate abasajja abaawera emitwalo esatu be yalonda mu Isirayiri. 26:2 a Yos 15:9 b 1Sa 4:4; 7:1 c Lv 24:16; Is 63:14 d Zab 99:1 e Kuv 25:22; 1By 13:5-6N’agolokoka n’agenda n’abantu bonna abaali naye, okuva e Baale, Yuda, okuggyayo essanduuko ya Katonda eyitibwa Erinnya lya Mukama ow’Eggye atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati wa bakerubi. 36:3 Kbl 7:4-9; 1Sa 6:7Ne bateeka essanduuko ya Katonda ku ggaali empya ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi, Uzza ne Akiyo batabani be ne bagikulembera 4ng’essanduuko ya Katonda kweri, Akiyo ng’agikulembeddemu. 56:5 1Sa 18:6-7; Ezr 3:10; Zab 150:5Dawudi n’ennyumba yonna eya Isirayiri ne bajaguliza mu maaso ga Mukama n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ennyimba nga bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa, n’ensaasi, n’ebirala.

66:6 Kbl 4:15, 19-20; 1By 13:9Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, ente bwe zeesittala, Uzza n’agolola omukono gwe n’akwata ku ssanduuko ya Katonda. 76:7 a 1By 15:13-15 b Kuv 19:22; 1Sa 6:19Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza olw’ekikolwa ekyo, Katonda n’amuttira awo okumpi n’essanduuko ya Katonda. 86:8 a Zab 7:11 b Lub 38:29Awo Dawudi n’anyiiga kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, n’atuuma ekifo ekyo Peruzuzza, ne leero.

96:9 Zab 119:120Olunaku olwo Dawudi n’atya Mukama, n’ayogera nti, “Essanduuko ya Mukama eyinza etya okuleetebwa gye ndi?” 106:10 1By 13:13; 26:4-5Dawudi n’atayagala kutwala ssanduuko ya Mukama mu kibuga kya Dawudi, era n’asalawo okugitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. 116:11 Lub 30:27; 39:5Essanduuko ya Mukama n’ebeera mu nnyumba ya Obededomu Omugitti emyezi esatu, era Mukama n’amuwa omukisa ye n’ennyumba ye yonna.

126:12 1Bk 8:1; 1By 15:25Awo Dawudi n’ategeezebwa nti, “Ennyumba ya Obededomu n’ebintu bye byonna biweereddwa omukisa olw’essanduuko ya Katonda.” Dawudi n’agenda n’aggyayo essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n’agireeta mu kibuga kya Dawudi ng’ajaguza. 136:13 1Bk 8:5, 62Abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baatambula ebigere mukaaga n’awaayo ente ennume n’ennyana ensava nga ssaddaaka. 146:14 a Kuv 19:6; 1Sa 2:18 b Kuv 15:20Dawudi ng’ayambadde olugoye olwa linena, n’azinira mu maaso ga Mukama n’amaanyi ge gonna. 156:15 Zab 47:5; 98:6Dawudi n’ennyumba ya Isirayiri yonna ne baleeta essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu, era nga bafuuwa n’amakondeere.

166:16 2Sa 5:7Awo essanduuko ya Mukama bwe yali ng’ereetebwa mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo, ng’ali mu ddirisa, n’alengera kabaka Dawudi ng’abuuka, ng’azinira mu maaso ga Mukama, n’amunyooma. 176:17 a 1By 15:1; 2By 1:4 b Lv 1:1-17; 1Bk 8:62-64Ne baleeta essanduuko ya Mukama ne bagiteeka mu kifo kyayo mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, Dawudi n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, mu maaso ga Mukama. 186:18 1Bk 8:22Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow’eggye, 196:19 a Kos 3:1 b Nek 8:10buli muntu n’amugabula omugaati, n’ekiyungula ky’ennyama, n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, abasajja n’abakyala. N’oluvannyuma abantu bonna ne baddayo ewaabwe.

206:20 nny 14, 16Dawudi n’addayo ewuwe okusabira ab’omu nnyumba ye omukisa, Mikali muwala wa Sawulo n’agenda okumusisinkana n’ayogera nti, “Kabaka wa Isirayiri ayinza atya okweswaza bw’atyo, ne yeyambulira mu maaso g’abawala abaweereza n’abaddu ng’omuntu atalina nsonyi?”

216:21 1Sa 13:14; 15:28Awo Dawudi n’agamba Mikali nti, “Nakikoledde mu maaso ga Mukama eyannonda okusinga kitaawo, n’ennyumba ye yonna okuba omukulembeze w’abantu ba Mukama, Isirayiri, era nzija kujagulizanga mu maaso ga Mukama. 22Nzija kweyongerera ddala okweswaza, era sijja kuswala mu maaso gange, naye mu maaso g’abawala abaweereza b’oyogeddeko, nnaasibwangamu ekitiibwa.”

23Awo muwala wa Sawulo Mikali, n’abeera mugumba okutuusa olunaku lwe yafa.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記下 6:1-23

運約櫃到耶路撒冷

1大衛召集了三萬名以色列精兵, 2率領他們到猶大巴拉去接上帝的約櫃。這約櫃以坐在基路伯天使上面的萬軍之耶和華的名字命名。 3他們把上帝的約櫃從座落在山上的亞比拿達家抬出來,放在一輛新造的牛車上,由亞比拿達的兩個兒子烏撒亞希約趕車, 4亞希約走在約櫃前面。 5大衛和全體以色列人在耶和華面前用琴、瑟、鼓、鈸和鑼奏樂,盡情歌舞。 6他們走到拿肯的麥場時,拉車的牛失蹄,烏撒便伸手去扶上帝的約櫃。 7耶和華上帝就向烏撒發怒,因他的不敬而擊殺了他。他死在了約櫃旁邊。 8大衛因耶和華擊殺烏撒而煩惱,就稱那地方為毗列斯·烏撒6·8 毗列斯·烏撒」意思是「向烏撒發怒」。,沿用至今。

9那天,大衛懼怕耶和華,他說:「耶和華的約櫃怎能運到我這裡?」 10他不願把耶和華的約櫃運進大衛城,而是把它運到迦特俄別·以東家。 11耶和華的約櫃在俄別·以東家停放了三個月,耶和華賜福給俄別·以東和他全家。

12大衛聽說耶和華因為約櫃而賜福給俄別·以東全家及其一切所有,就滿心歡喜地去把上帝的約櫃從俄別·以東家接進大衛城。 13這一次,抬耶和華約櫃的人走了六步,大衛就獻上公牛和肥犢為祭。 14大衛穿著細麻布的以弗得在耶和華面前盡情跳舞。 15大衛和全體以色列人在歡呼聲和號角聲中把耶和華的約櫃迎進大衛城。

16耶和華的約櫃進大衛城的時候,掃羅的女兒米甲從窗戶看見大衛在耶和華面前又跳又舞,心裡就輕視他。 17他們把耶和華的約櫃抬來,安放在大衛準備好的帳篷裡。大衛在耶和華面前獻上燔祭和平安祭, 18然後奉萬軍之耶和華的名給民眾祝福, 19還分給所有以色列人,不論男女,每人一個餅、一塊肉和一個葡萄餅。眾人就各自回家去了。

20大衛回到家為自己的家人祝福,米甲出來迎接他,說:「今天以色列王好光彩呀!居然像個粗俗之人,在臣僕和婢女面前露體!」 21大衛對她說:「我是在耶和華面前跳舞。祂不用你父親和你父親家裡的人,而是選立我來治理祂的以色列子民,所以我要在祂面前歡慶。 22我要讓自己更卑微,自視低賤,但你說的那些婢女會尊重我。」

23掃羅的女兒米甲終生都沒有生育。