2 Samwiri 20 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 20:1-26

Seba Ajeemera Dawudi

120:1 a Lub 31:14 b Lub 29:14; 1Bk 12:16 c 1Sa 22:7-8; 2By 10:16Waaliwo omusajja omujeemu erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini. Yafuuwa ekkondeere n’ayogerera n’eddoboozi ery’omwanguka nti,

“Tetulina mugabo mu Dawudi,

so tetulina busika mu mutabani wa Yese!

Buli muntu adde mu weema ye, ggwe Isirayiri!”

2Awo abantu ba Isirayiri bonna ne balekulira Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Naye abantu ba Yuda bo ne basigala ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi. 320:3 2Sa 15:16; 16:21-22Dawudi bwe yadda mu lubiri lwe e Yerusaalemi, n’addira abakyala be ekkumi be yali alese okulabirira olubiri n’abasibira mu kkomera. N’abagabirira mu byokulya kwabwe, naye n’atebaka nabo. Ne baggalirwa eyo okutuusa lwe baafa, nga bali nga bannamwandu.

420:4 2Sa 17:25; 19:13Awo kabaka n’agamba Amasa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja ba Yuda mu nnaku ssatu, naawe obeerewo.” 5Naye Amasa bwe yagenda okukola ky’alagiddwa, n’atwala ekiseera kiwanvu okusinga kabaka kye yali amuwadde. 620:6 2Sa 21:17Dawudi n’agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli alitukola akabi okusinga Abusaalomu bwe yakola. Noolwekyo twala abasajja ba mukama wo omugoberere aleme okuddukira mu bibuga ebiriko bbugwe, n’atusimatuka.” 720:7 1Sa 30:14; 2Sa 8:18; 15:18; 1Bk 1:38Awo abasajja ba Yowaabu, n’Abakeresi, n’Abaperesi, n’abaserikale abazira bonna, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda okunoonya Seba mutabani wa Bikuli nga baduumirwa Abisaayi.

820:8 a Yos 9:3 b 2Sa 2:18Bwe baatuuka ku lwazi olunene mu Gibyoni, Amasa n’ajja okubasisinkana. Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby’olutalo, ne mu kiwato nga yeesibye olukoba olwaliko ekitala ekyali mu kiraato kyakyo. Bwe yasituka, ne kisowoka mu kiraato kyakyo ne kigwa wansi.

9Yowaabu n’alamusa Amasa ng’ayogera nti, “Mirembe, muganda wange?” Yowaabu n’akwata Amasa ekirevu n’omukono gwe ogwa ddyo, n’aba nga agenda okumunywegera. 1020:10 a Bal 3:21; 2Sa 2:23; 3:27 b 1Bk 2:5Naye Amasa n’atassaayo mwoyo okwekuuma ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; Yowaabu n’akimufumita mu lubuto, n’ayiwa ebyenda bye wansi. N’atamufumita lwakubiri, Amasa bw’atyo n’afa. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne beeyongera okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.

11Omu ku basajja ba Yowaabu n’ayimirira okumpi n’omulambo gwa Amasa n’ayogera nti, “Buli ayagala Yowaabu, era buli ali ku luuyi lwa Dawudi, agoberere Yowaabu.” 1220:12 2Sa 2:23Omulambo gwa Amasa ne gubeera mu musaayi gwe nga gukulukunyirizibwa omwo wakati mu luguudo. Ne wabaawo omusajja eyalaba nga buli eyatuukanga awali omulambo gwa Amasa ng’ayimirira; omusajja oyo n’agusitula n’aguggya mu luguudo n’agutwala ebbali mu nsiko, n’agusuulako olugoye. 13Awo omulambo gwa Amasa bwe gwaggyibwa mu kkubo abantu bonna ne beeyongerayo ne Yowaabu okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.

1420:14 Kbl 21:16Seba n’ayita mu bika byonna ebya Isirayiri ng’abakunga okutuuka mu Aberi eky’e Besumaaka, n’ayita ne mu kitundu kyonna eky’Ababeri ne bakuŋŋaanira gy’ali ne bamugoberera. 1520:15 a 1Bk 15:20; 2Bk 15:29 b 2Bk 19:32; Is 37:33; Yer 6:6; 32:24Eggye lyonna eryali ne Yowaabu, ne bazingiza Seba mu Aberi eky’e Besumaaka. Ne bakola ebifunvu okutuuka ku kibuga n’okwolekera ekigo. Bwe baali nga bakyamenya bbugwe, 1620:16 2Sa 14:2ne wavaayo omukazi ow’amagezi mu kibuga, n’akoowoola ng’ayogera nti, “Muwulirize. Muwulirize! Mugambe Yowaabu ajje wano, mbeeko kye mmugamba.” 17Yowaabu n’agenda okumpi ne we yali, omukazi n’amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?”

N’addamu nti, “Nze nzuuyo.”

N’amugamba nti, “Wuliriza omuweereza wo by’anaayogera.”

N’addamu nti, “Mpuliriza.”

18N’ayongera n’ayogera nti, “Edda baayogeranga nti, ‘Bw’oba ng’olina ky’obuuza genda mu Aberi,’ era ekyo kye ky’amalanga ensonga. 1920:19 a Ma 2:26 b 1Sa 26:19; 2Sa 21:3Ffe bantu abaagazi b’emirembe era abeesigwa mu Isirayiri. Mwagala okuzikiriza ekibuga, nnyina w’abaana mu Isirayiri. Lwaki oyagala okumira obusika bwa Mukama?”

20Yowaabu n’addamu nti, “Kikafuuwe, nze okumira ekibuga kino newaakubadde okukizikiriza. 2120:21 2Sa 4:8Si bwe kiri. Waliwo omusajja erinnya lye ye Seba, mutabani wa Bikuli, ow’omu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, agolodde omukono gwe eri kabaka Dawudi. Bwe munaamuwaayo oyo omu yekka, nange nzija kulekayo okubalumba.”

2220:22 Mub 9:13Omukazi n’agamba Yowaabu nti, “Omutwe gwe gunaakasukibwa gy’oli ku bbugwe.” Awo omukazi n’agenda n’ekiteeso kye eri abantu bonna, ne basalako omutwe gwa Seba mutabani wa Bikuli, ne bagusuulira Yowaabu. Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja be ne bava ku kibuga ne basaasaana, bonna ne baddayo ewaabwe. Yowaabu ye n’addayo eri kabaka mu Yerusaalemi.

2320:23 2Sa 2:28; 8:16-18; 24:2Yowaabu yali muduumizi wa ggye lya Isirayiri,

ne Benaya mutabani wa Yekoyaada nga y’akulira Abakeresi, n’Abaperesi.

2420:24 a 1Bk 4:6; 5:14; 12:18; 2By 10:18 b 2Sa 8:16; 1Bk 4:3Adolaamu ye yakuliranga abapakasi,

Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza.

2520:25 1Sa 2:35; 2Sa 8:17Seva ye yali omuwandiisi,

Zadooki ne Abiyasaali nga be bakabona,

26ne Ira Omuyayiri nga ye kabona wa Dawudi.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記下 20:1-26

示巴反叛大衛

1有一個無賴名叫示巴,是便雅憫比基利的兒子,當時剛好在吉甲。他吹響號角,大喊:「我們與大衛毫無關係,耶西兒子的產業沒有我們的份。以色列人啊,各自回家去吧!」 2於是,以色列人都離開了大衛,跟隨了比基利的兒子示巴。但猶大人仍然緊緊跟隨他們的王,從約旦河一直來到耶路撒冷3大衛回到耶路撒冷的宮裡,把從前留下來看守王宮的十個妃嬪關進冷宮,供養她們,卻不再和她們同房。她們像寡婦一樣在軟禁中度過餘生。

4王對亞瑪撒說:「你要在三天內招聚猶大人,跟他們一起來見我。」 5亞瑪撒就去招聚猶大人,但他超過了王所定的期限。 6大衛亞比篩說:「現在比基利的兒子示巴對我們帶來的危害恐怕比押沙龍還要大。你帶領我的部下去捉拿他,免得他佔據了堅固的城池,得以逃脫。」

7於是,約押的部下和基利提人、比利提人以及所有的勇士都跟隨亞比篩離開耶路撒冷,去追趕比基利的兒子示巴8他們來到基遍的巨石旁,見亞瑪撒迎面而來。約押當時身穿戰袍,腰間佩刀,他迎上去的時候,刀從鞘中滑落出來。 9約押亞瑪撒說:「兄弟,你好嗎?」他用右手抓住亞瑪撒的鬍子,親吻他。 10亞瑪撒毫無防備,被約押一刀刺入肚子,肚破腸流而死。然後,約押和他兄弟亞比篩繼續追趕比基利的兒子示巴

11約押的一個部下站在亞瑪撒的屍體旁邊說:「擁護約押大衛的人來跟隨約押吧!」 12亞瑪撒的屍體倒在路中間的血泊中。那人見眾人駐足圍觀,便把屍體從路上拖到田裡,扔了一件衣服蓋上。 13屍體搬走以後,大家都跟隨約押去追比基利的兒子示巴

14示巴走遍以色列各支派,一直到伯·瑪迦亞比拉城。他的本族比利人都聚集起來跟隨他。 15約押率大軍來到伯·瑪迦,把示巴圍困在亞比拉城內,他們修築攻城的高臺,撞擊城牆。 16有一個聰明的婦人從城上喊:「請聽我說!請聽我說!請約押到這邊來,我有話要對他說。」 17約押就走上前去,那婦人問道:「你是約押嗎?」約押答道:「我就是。」婦人說:「請聽婢女說幾句。」約押說:「你說吧!」 18婦人說:「古時候人們常說,『有事到亞比拉去請教,問題都會解決。』 19我們這座城的人在以色列素來熱愛和平、忠心耿耿,你卻要毀滅這座大城。你為什麼要吞掉耶和華的產業?」 20約押答道:「我根本不想吞掉或毀滅這城。 21以法蓮山區比基利的兒子示巴背叛大衛王,你們只要把他交出來,我就撤退。」那婦人說:「我們一定把他的首級從城上拋下來給你。」 22婦人把自己的良策告訴眾人,他們便把比基利的兒子示巴的頭割下來,拋給約押約押就吹響號角令軍隊各自回家,自己回耶路撒冷見王。

23約押負責統率以色列全軍;耶何耶大的兒子比拿雅統轄基利提人和比利提人; 24亞多蘭管理服勞役的;亞希律的兒子約沙法擔任史官; 25示法做書記;撒督亞比亞他任祭司; 26雅珥以拉大衛的祭司。