2 Ebyomumirembe 33 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 33:1-25

Manase Kabaka wa Yuda

133:1 1By 3:13Manase yalya obwakabaka nga wa myaka kkumi n’ebiri, n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. 233:2 a Yer 15:4 b Ma 18:9; 2By 28:3N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, ng’agoberera ebikolwa eby’ekivve eby’amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g’Abayisirayiri. 333:3 a Ma 16:21-22 b Ma 17:3; 2By 31:1N’addaabiriza ebifo ebigulumivu kitaawe Keezeekiya bye yali amenyeemenye, n’azimbira ne Baali ebyoto, n’akola ne Baasera, n’asinza era n’aweereza n’eggye lyonna ery’oku ggulu. 433:4 2By 7:16N’azimba ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yayogerako nti, “Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.” 533:5 2By 4:9N’azimba ebyoto eby’okusinzizangako eggye lyonna ery’oku ggulu, mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. 633:6 a Lv 18:21; Ma 18:10; 2By 28:3 b Lv 19:31 c 1Sa 28:13N’awaayo abaana be ng’ekiweebwayo, n’abookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n’akola eby’obufumu, n’alagulira mu bire, n’akola eby’obulogo, n’agendanga n’eri abaliko emizimu ne ddayimooni. N’akola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, n’asunguwaza nnyo Mukama.

733:7 2By 7:16N’addira ekifaananyi ekyole kye yakola, n’akiteeka mu yeekaalu ya Katonda, Katonda gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi muno, bye nalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga Erinnya lyange emirembe gyonna. 833:8 2Sa 7:10Sijjululenga nate kigere kya Isirayiri okuva mu nsi gye nawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola bye mbalagidde, nga bagoberera amateeka gonna, n’ebiragiro, n’obulombolombo bye nnawa Musa.” 933:9 Yer 15:4Naye Manase n’asendasenda Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi okukola ebitaali bya butuukirivu okusinga amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri.

10Mukama n’ayogera ne Manase n’abantu be, kyokka ne batassaayo mwoyo. 1133:11 a Ma 28:36 b Zab 149:8Mukama kyeyava abasindikira abaduumizi b’eggye lya kabaka w’e Bwasuli, ne basiba Manase mu njegere ne mu masamba, ne bateeka eddobo mu nnyindo ye, ne bamutwala e Babulooni nga musibe. 1233:12 2By 6:37; 32:26; 1Pe 5:6Ng’ali eyo mu nnaku ye, ne yeegayirira Mukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. 13N’amusaba, Mukama n’awulira okwegayirira kwe, n’amukomyawo e Yerusaalemi n’eri obwakabaka bwe. Awo Manase n’ategeera nga Mukama ye Katonda.

1433:14 a 1Bk 1:33 b Nek 3:3; 12:39; Zef 1:10 c 2By 27:3; Nek 3:26Oluvannyuma lw’ebyo n’addaabiriza bbugwe ow’ebweru ow’ekibuga kya Dawudi, ku luuyi olw’ebugwanjuba olwa Gikoni, mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw’Ebyennyanja, n’okwetooloola olusozi lwa Oferi, n’okumuzimba n’amuzimba ng’asingako bbugwe eyaliwo obuwanvu. N’ateeka n’abaduumizi b’eggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe mu Yuda. 1533:15 nny 3-7; 2Bk 23:12N’aggyamu bakatonda abamawanga n’ekifaananyi ekyole mu yeekaalu ya Mukama, n’ebyoto byonna bye yazimba ku kasozi ka yeekaalu ne mu Yerusaalemi, n’abisuula ebweru w’ekibuga. 1633:16 Lv 7:11-18N’addaabiriza ekyoto kya Mukama, n’aweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe n’ez’okwebaza, n’alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isirayiri. 17Wabula abantu bo, ne beeyongera okuweerangayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, nga baziwaayo eri Mukama Katonda waabwe.

18Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ng’omwo mwe muli okusaba kwe eri Mukama n’ebigambo abalabi bye baamutegeezanga mu linnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 1933:19 a 2By 6:37 b 2Bk 21:17Okusaba kwe, n’okusaasira kwa Katonda gy’ali, n’ebibi bye, n’obutali bwesigwa bwe, n’ebifo ebigulumivu bye yazimba, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole bye yassaawo nga taneetoowaza, byonna byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gy’abalabi. 2033:20 2Bk 21:18; 2By 21:20Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu lubiri lwe, Amoni mutabani we n’amusikira.

Amoni kabaka wa Yuda

2133:21 1By 3:14Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka. 22N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, nga Manase kitaawe bwe yakola. 2333:23 nny 12; Kuv 10:3; 2By 7:14; Zab 18:27; 147:6; Nge 3:34Naye obutafaanana nga kitaawe Manase, Amoni n’ayongera ekibi ku kibi, n’ateetoowaza mu maaso ga Mukama.

24Abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe ne bamuttira mu lubiri lwe. 2533:25 2By 22:1Naye Abantu ab’omu nsi ne batta abo bonna abasala olukwe okutta kabaka Amoni; ne bafuula Yosiya mutabani we okuba kabaka mu kifo kye.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志下 33:1-25

猶大王瑪拿西

1瑪拿西十二歲登基,在耶路撒冷執政五十五年。 2他做耶和華視為惡的事,效法耶和華在以色列人面前趕走的外族人的可憎行徑。 3他重建他父親希西迦拆毀的邱壇,為巴力築造祭壇,製造亞舍拉神像,並祭拜和供奉天上的萬象。 4耶和華曾指著祂的殿說:「我的名必永遠在耶路撒冷。」他卻在耶和華的殿內建造異教的祭壇。 5他在耶和華殿的兩個院子裡建造祭拜天上萬象的祭壇。 6他還在欣嫩子谷把自己的兒子燒死,獻作祭物。他行巫術、占卜、觀兆,求問靈媒和巫師。他做了許多耶和華視為惡的事,惹耶和華發怒。 7他雕刻偶像,放在上帝的殿中。關於這殿,上帝曾經對大衛和他兒子所羅門說:「我從以色列眾支派中選擇了這殿和耶路撒冷,我的名要在這裡永遠受尊崇。 8只要以色列人謹遵我藉著摩西頒給他們的一切法度、律例和典章,我就不再把他們從我賜給他們祖先的土地上趕走。」 9瑪拿西誘使猶大人和耶路撒冷的居民作惡,比耶和華在以色列人面前所毀滅的各族更嚴重。

瑪拿西悔改

10耶和華警告瑪拿西和他的百姓,他們卻不肯聽從。 11所以,耶和華就差遣亞述王的將領來攻擊他們,他們捉住瑪拿西,用鉤子鉤著他,用銅鏈鎖著他押往巴比倫12在困苦中,瑪拿西祈求他的上帝耶和華的幫助,並且在他祖先的上帝面前極其謙卑。 13耶和華應允他的禱告,垂聽他的懇求,使他返回耶路撒冷繼續做王。瑪拿西這才明白耶和華是上帝。

14這事以後,瑪拿西重建大衛城的外牆,從谷中基訓泉的西邊直到魚門口,環繞俄斐勒,築高城牆。他又派將領駐紮猶大各堅城。 15瑪拿西將偶像和外族人的神像從耶和華的殿中除去,又把他在聖殿山和耶路撒冷築造的一切祭壇全部拆掉,扔在城外。 16他重建耶和華的祭壇,在上面獻平安祭和感恩祭,又吩咐猶大人事奉以色列的上帝耶和華。 17然而,眾人仍然在邱壇獻祭,只是獻給他們的上帝耶和華。

瑪拿西逝世

18瑪拿西其他的事、他向上帝的禱告以及先見奉以色列的上帝耶和華的名對他說的話,都記在以色列的列王史上。 19他的禱告,上帝的答覆,他在謙卑下來之前的罪惡和不忠,他在哪裡修築邱壇以及設立亞舍拉神像和其他偶像的事,都記在《先知書》33·19 《先知書》或譯《何賽的書》。上。 20瑪拿西與祖先同眠後,葬在宮內,他兒子亞們繼位。

亞們做猶大王

21亞們二十二歲登基,在耶路撒冷執政兩年。 22亞們效法他父親瑪拿西,做耶和華視為惡的事。他祭拜和供奉他父親瑪拿西製造的一切偶像。 23可是,亞們沒有像他父親瑪拿西一樣在耶和華面前謙卑下來。相反,他犯的罪日益增加。 24他的臣僕謀反,在王宮裡殺了他。 25民眾殺死那些背叛亞們王的人,立他兒子約西亞為王。