2 Ebyomumirembe 28 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 28:1-27

Akazi Kabaka wa Yuda

128:1 1By 3:13; Is 1:1Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Naye obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi, yakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama. 228:2 Kuv 34:17; 2By 22:3N’atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri, n’okukola n’akola ebifaananyi ebisaanuuse ebyakozesebwanga mu kusinza Baali. 328:3 a Yos 15:8; 2Bk 23:10 b Lv 18:21; 2Bk 3:27; 2By 33:6; Ez 20:26 c Ma 18:9; 2By 33:2N’ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n’awaayo batabani be okuba ebiweebwayo ebyokebwa, ng’agoberera emizizo gy’abannaggwanga, Mukama be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri. 4N’awangayo ssaddaaka wamu n’okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu, ne ku ntikko z’ensozi, ne wansi wa buli muti omubisi.

528:5 Is 7:1Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Busuuli, eyamuwangula n’atwala abantu ba Yuda bangi nga basibe, n’abaleeta e Ddamasiko.

Ate era yaweebwayo ne mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri, eyaleeta ku bantu ba Yuda ebisago ebinene. 628:6 a 2Bk 15:25, 27 b nny 8; Is 9:21; 11:13Peka mutabani wa Lemaliya yatta abaserikale ba Yuda emitwalo kkumi n’ebiri mu lunaku lumu, kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 7Ne Zikuli, omusajja omulwanyi omuzira owa Efulayimu n’atta Maaseya mutabani wa kabaka, ne Azulikamu omukulu w’olubiri ne Erukaana omukungu, addirira kabaka. 828:8 a Ma 28:25-41; 2By 11:4 b 2By 29:9Abayisirayiri ne bawamba abakyala, n’abaana aboobulenzi, n’aboobuwala, emitwalo amakumi abiri ku baganda baabwe, ne babatwala nga basibe e Samaliya, ate ne babatwalako n’omunyago mungi.

928:9 a 2By 25:15; Is 10:6; 47:6; Zek 1:15 b Ezr 9:6; Kub 18:5Awo Odedi nnabbi wa Mukama eyali eyo n’agenda okusisinkana eggye eryali lijja e Samaliya, n’abagamba nti, “Laba, kubanga Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyeyava abawaayo mu mukono gwammwe, kyokka mubasse n’ekiruyi n’okutuuka ne kituuka mu ggulu. 1028:10 Lv 25:39-46Kaakano, abasajja n’abakazi aba Yuda ne Yerusaalemi mumaliridde, okubafuula abaddu bammwe. Naye bwe mmwekebera, temulina kye mwali musobezza Mukama Katonda wammwe? 1128:11 2By 11:4; Yak 2:13Kale nno, mumpulirize, muleke baganda bammwe be muwambye baddeyo ewaabwe, kubanga Mukama abasunguwalidde mmwe.”

12Awo abamu ku bakadde ba Efulayimu, Azaliya mutabani wa Yokanaani, ne Berakiya mutabani wa Mesiremosi, ne Yekizukiya mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, ne bayimirira okuziyiza abo abaali bava mu lutalo. 13Ne babagamba nti, “Temujja kuleeta basibe abo wano, kubanga mujja kutuleetako omusango eri Mukama nga mwongereza ku kibi ne ku musango bye tulina. Omusango gwaffe munene, n’obusungu bwe buli ku Isirayiri.”

14Awo abaserikale ne basumulula abasibe, n’omunyago ne baguwaayo mu maaso g’abakungu n’ekibiina kyonna. 1528:15 a 2Bk 6:22; Nge 25:21-22 b Ma 34:3; Bal 1:16Ne balonda abasajja abaatwala abasibe ne baggya engoye mu munyago ne bambaza abo bonna abaali obwereere, ne babawa engoye endala, n’engatto, ne babawa emmere n’ekyokunywa, ne babanyiga n’ebiwundu. N’abaali abanafu ennyo bonna ne babasitulira ku ndogoyi, ne babazzaayo eri baganda baabwe e Yeriko, ekibuga eky’enkindu, bo ne bakomawo e Samaliya.

1628:16 2Bk 16:7Awo mu biro ebyo kabaka Akazi n’asaba kabaka w’e Bwasuli amuyambe, 1728:17 a Zab 137:7; Is 34:5 b 2By 29:9kubanga Abayedomu baali bazeemu okulumba Yuda, ne batwala abantu mu busibe. 1828:18 a Ez 16:27, 57 b Yos 10:12Mu kiseera kyekimu Abafirisuuti baali balumbye ebibuga eby’omu nsenyi n’eby’omu bukiikaddyo obwa Yuda, nga bawambye Besusemesi, ne Ayalooni, ne Gederosi, ne Soko, ne Timuna, ne Gimuzo n’ebyalo ebyali byetoolodde ebibuga ebyo, era ng’omwo mwe babeera. 1928:19 2By 21:2Mukama yakkakkanya nnyo Yuda olw’ebibi n’obutali bwesigwa bwa Akazi kabaka wa Isirayiri eri Mukama, Akazi bye yakola mu Yuda. 2028:20 a 2Bk 15:29; 1By 5:6 b 2Bk 16:7Tirugazupiruneseri kabaka w’e Bwasuli n’ajja gy’ali, n’amucocca mu kifo eky’okumuyamba. 21Akazi n’aggya ebimu ku bintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, ne ku ebyo ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne ku bya balangira n’abiwa kabaka w’e Bwasuli; naye ekyo ne kitamuyamba.

2228:22 Yer 5:3Mu kiseera ekyo kabaka Akazi we yalabira ennyo ennaku, yeeyongera obutaba mwesigwa eri Mukama. 2328:23 a 2By 25:14 b Yer 44:17-18N’awangayo ssaddaaka eri bakatonda b’e Ddamasiko, abaali bamuwangudde, kubanga yalowooza nti, “Engeri bakatonda ba bakabaka b’e Busuuli bwe babayambye, nnaawaayo ssaddaaka gye bali, nange bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe n’okwa Isirayiri yenna.

2428:24 a 2Bk 16:18 b 2By 29:7 c 2By 30:14Akazi n’akuŋŋaanya ebintu eby’omu yeekaalu ya Katonda, n’abiggyamu, n’aggalawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, ne yeezimbira ebyoto mu buli nsonda mu Yerusaalemi. 25Mu buli kibuga kya Yuda n’azimbamu ebifo ebigulumivu okuwerangayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, n’asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.

26Ebyafaayo ebirala eby’omu mulembe gwe n’empisa ze zonna, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri. 2728:27 a Is 14:28-32 b 2By 21:20; 24:25Akazi n’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Yerusaalemi, naye si mu masiro ga bassekabaka ba Isirayiri. Keezeekiya mutabani we n’amusikira.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志下 28:1-27

犹大王亚哈斯

1亚哈斯二十岁登基,在耶路撒冷执政十六年。他没有效法他祖先大卫做耶和华视为正的事, 2反而步以色列诸王的后尘,又铸造巴力神像。 3他不但在欣嫩子谷烧香,还效法耶和华在以色列人面前赶走的外族人的可憎行径,焚烧自己的儿子作祭物。 4他还在丘坛、山冈和绿树下献祭烧香。

与亚兰和以色列交战

5因此,他的上帝耶和华把他交在亚兰王手中,亚兰王就打败他,把他的许多人民掳到大马士革。他也被交在以色列王手中,损失惨重。 6利玛利的儿子比加一天之内杀了犹大十二万勇士,因为他们背弃了他们祖先的上帝耶和华。 7以法莲的勇士细基利杀了王子玛西雅、宫廷总管押斯利甘和宰相以利加拿8以色列军队从他们的犹大同胞中掳走了二十万妇孺,同时也将大量战利品带回撒玛利亚

俄德先知

9撒玛利亚有一位耶和华的先知名叫俄德,他出城去迎接班师回来的军队,说:“看啊,你们祖先的上帝耶和华向犹大发怒,才将他们交在你们手中。你们竟怒气冲天,对他们大加杀戮。 10现在你们竟还想让犹大耶路撒冷的男女做你们的仆俾。你们岂不也得罪你们的上帝耶和华吗? 11你们还是听我的忠告,释放你们掳来的同胞,让他们回去吧!因为耶和华的烈怒已经临到你们了。”

12约哈难的儿子亚撒利雅米实利末的儿子比利迦沙龙的儿子耶希西迦哈得莱的儿子亚玛撒四位以法莲族长起来阻挡从战场回来的军队, 13说:“你们不可把这些俘虏带进来,我们的罪已经够重了,耶和华的烈怒已经临到以色列人,不要再得罪耶和华,加重我们的罪恶了。” 14于是,士兵们便把俘虏和战利品交给众首领和民众。 15那些以法莲族长就上前照顾俘虏,从战利品中拿出衣服和鞋子给那些赤身露体的俘虏穿上,供应他们吃喝,又给他们的伤口抹上油,让软弱的骑驴。他们把所有的俘虏送到棕树城耶利哥他们的亲族那里,随后返回撒玛利亚

亚哈斯向亚述王求援

16那时,亚哈斯王派人到亚述王那里求援。 17原来以东人又来攻打犹大,掳掠民众。 18非利士人也入侵丘陵和犹大南方的城镇,攻占了伯·示麦亚雅仑基低罗,以及梭哥亭拿瑾锁和三城周围的村庄,并住在那里。 19耶和华使犹大衰微,因为以色列28:19 以色列王”这里可能指统治犹大的王,而非统治北国以色列的王。亚哈斯犹大肆无忌惮,悖逆耶和华。 20亚述提革拉·毗列色来到犹大后,不但不救他,反而压迫他。 21亚哈斯从耶和华的殿里、王宫和官员家中取财宝送给亚述王,但无济于事。

亚哈斯的恶行

22亚哈斯在患难时越发悖逆耶和华, 23竟去祭拜打败他的大马士革人的神明,说:“既然亚兰王的神明帮助了亚兰人,我要向这些神明献祭,以便它们帮助我。”但那些神明导致了他和全体以色列人的灭亡。 24亚哈斯将耶和华上帝殿里的器皿收集起来打碎,封锁殿门,并在耶路撒冷的每个角落为自己设立祭坛。 25他还在犹大各城建立丘坛,向其他神明烧香,惹他祖先的上帝耶和华发怒。 26亚哈斯其他的事及所作所为自始至终都记在犹大以色列的列王史上。 27亚哈斯与祖先同眠后,葬在耶路撒冷城中,但没有葬在以色列的王陵。他儿子希西迦继位。