2 Ebyomumirembe 24 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 24:1-27

Yowaasi Addaabiriza Yeekaalu

1Yowaasi yalina emyaka musanvu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi n’erinnya lya nnyina ye yali Zebbiya ow’e Beeruseba. 224:2 2By 25:2; 26:5Yowaasi n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama mu biro byonna ebya Yekoyaada kabona. 3Yekoyaada n’amulondera abakyala babiri, era ne bamuzaalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

4Bwe waayitawo ebbanga, Yowaasi n’ayagala okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 524:5 a Kuv 30:16; Nek 10:32-33; Mat 17:24 b 1By 11:1 c 1By 26:20N’ayita bakabona n’Abaleevi, n’abagamba nti, “Mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ensimbi eza buli mwaka okuva mu Isirayiri yenna, olw’okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, era mutandikirewo.” Naye Abaleevi ne batakikolerawo.

624:6 Kuv 30:12-16; Kbl 1:50Awo kabaka n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu, n’amubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugamba Abaleevi, n’ekibiina kya Isirayiri ku lw’eweema ey’Obujulirwa, okuva eri Yuda ne Yerusaalemi okuleetanga omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira?”

7Mu biro eby’emabegako, batabani ba Asaliya, omukazi oli omubi, baali baamenya ne bayingira mu yeekaalu ya Mukama, ne bakozesa ebintu byonna ebyawongebwa mu yeekaalu ya Mukama, emirimu gya Baali.

8Awo kabaka n’alagira ne bakola essanduuko, ne bagissa ebweru wa wankaaki wa yeekaalu ya Mukama. 9Ekiragiro ne kiyita mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi yonna, okuleeteranga Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira Isirayiri nga bali mu ddungu. 1024:10 Kuv 25:2; 1By 29:3, 6, 9Abakungu bonna n’abantu bonna ne baleetanga omusolo ogwo nga basanyufu, ne baguteekanga mu ssanduuko, okutuusa lwe yajjulanga. 11Buli essanduuko bwe yaleetebwanga Abaleevi eri abakungu ba kabaka ne balaba ng’erimu sente nnyingi, omuwandiisi wa kabaka n’omukungu wa kabona asinga obukulu, baagitwalanga ne baziggyamu, ne bagikomyawo mu kifo kyayo. Kino baakikolanga buli lunaku, era ne bakuŋŋaanya ensimbi nnyingi. 1224:12 2By 34:11Kabaka ne Yekoyaada ne bazikwasa abo abaavunaanyizibwanga omulimu gwa yeekaalu ya Mukama, bo ne bapangisa abaagula amayinja n’ababazzi okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, n’abalala baali baweesi ba byuma n’ebikomo era nabo nga baakuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.

13Abasajja abaavunaanyizibwanga omulimu ogwo baali banyiikivu, era n’omulimu ogwo gwali mu mikono gyabwe, era ne baddaabiriza yeekaalu ya Katonda okutuuka ku mutindo gwayo ogugisaanira, ne baginyweza. 14Awo bwe baamaliriza, ensimbi ezafikkawo ne bazikomyawo ewa kabaka ne Yekoyaada, ate ezo ne zikozesebwa okukola ebintu eby’omu yeekaalu ya Mukama, eby’obuweereza n’eby’ebiweebwayo ebyokebwa, ne bbakuli ez’obubaane, n’ebibya ebya zaabu ne ffeeza. Era ne baweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama ennaku zonna eza Yekoyaada.

15Yekoyaada n’akaddiwa, n’awangaala nnyo, n’afa ng’aweza emyaka kikumi mu asatu egy’obukulu. 16N’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi ne bassekabaka, kubanga yakola ebirungi mu Isirayiri, ku lwa Katonda ne ku lwa yeekaalu ye.

Enneeyisa Embi eya Yowaasi

17Awo Yekoyaada ng’amaze okufa, abakungu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka, n’abawuliriza. 1824:18 a nny 4; Yos 24:20; 2By 7:19 b Kuv 34:13; 1Bk 14:23; 2By 33:3; Yer 17:2 c Yos 22:20; 2By 19:2Ne baleka yeekaalu ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n’ebifaananyi, obusungu bwa Katonda kyebwava bubuubuukira ku Yuda ne Yerusaalemi. 1924:19 Kbl 11:29; Yer 7:25; Zek 1:4Newaakubadde nga Mukama yabatumira bannabbi okubakomyawo gy’ali, ne babalumiriza, tebassaayo mwoyo.

2024:20 a Bal 3:10; 1By 12:18; 2By 20:14 b Mat 23:35; Luk 11:51 c Kbl 14:41 d Ma 31:17; 2By 15:2Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Zekkaliya muzzukulu wa Yekoyaada, n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Katonda nti, ‘Lwaki mujeemera amateeka ga Mukama? Temujja kufuna mukisa kukulaakulana. Kubanga muvudde ku Mukama naye kyavudde abaleka.’ ”

2124:21 a Yos 7:25; Bik 7:58-59 b Nek 9:26; Yer 26:21 c Yer 20:2; Mat 23:35Naye ne basala olukwe okutta Zekkaliya, kabaka n’alagira n’akubibwa amayinja, n’afiira mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama. 2224:22 Lub 9:5Kabaka Yowaasi n’atajjukira kisa Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya kye yamulaga, n’atta mutabani we. Zekkaliya bwe yali ng’afa n’ayogera nti, “Mukama kino akirabe, era akuvunaane.”

2324:23 2Bk 12:17-18Ku nkomerero ey’omwaka, eggye ery’Abasuuli ne lirumba Yowaasi. Ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi ne bazikiriza abakungu bonna, ne baweereza omunyago gwonna eri kabaka waabwe e Ddamasiko. 2424:24 a 2By 14:9; 16:8; 20:2, 12 b Lv 26:23-25; Ma 28:25Newaakubadde ng’eggye ery’Abasuuli ly’ajja n’abasajja batono, Mukama yawaayo eggye eddene ennyo erya Yuda mu mukono gw’Abasuuli kubanga Yuda baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Abasuuli ne babonereza Yowaasi. 2524:25 2By 21:20Awo Abasuuli bwe baavaayo, ne baleka nga Yowaasi alumizibbwa nnyo, era abaddu be ne bamusalira olukwe, olw’omusaayi gw’abaana ba Yekoyaada kabona, gwe yayiwa, ne bamuttira mu kitanda kye. Bwe yafa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.

2624:26 a 2Bk 12:21 b Lus 1:4Abaamusalira olukwe baali Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu. 27Ebyafaayo ebikwata ku batabani be, n’ebyamulagulwako, n’eby’okuddaabiriza kwa yeekaalu ya Katonda, byawandiikibwa mu ngero ez’ekitabo ekya bassekabaka. Amaziya mutabani we n’amusikira.

New Russian Translation

2 Паралипоменон 24:1-27

Иоаш – царь Иудеи

(4 Цар. 11:21–12:3)

1Иоашу было семь лет, когда он начал царствовать, и правил он в Иерусалиме сорок лет. Его мать звали Цивия; она была родом из Вирсавии. 2Иоаш делал то, что было правильным в глазах Господа, все время, пока был жив священник Иодай. 3Иодай выбрал для него двух жен, и у него родились сыновья и дочери.

Иоаш восстанавливает поврежденный храм

(4 Цар. 12:4-16)

4Спустя некоторое время Иоаш решил восстановить дом Господа. 5Он собрал священников и левитов и сказал им:

– Ходите по городам Иудеи и собирайте со всех израильтян деньги, которые должны ежегодно поступать на поддержание дома вашего Бога. Смотрите, не мешкайте.

Но левиты не стали спешить. 6Тогда царь призвал первосвященника Иодая и сказал ему:

– Почему ты не требуешь от левитов, чтобы они приносили от Иудеи и Иерусалима налог, установленный слугой Господа Моисеем, и обществом Израиля для скинии свидетельства?24:6 См. Исх. 30:11-16.

7(Сыновья нечестивой Аталии повредили Божий дом и даже использовали его священную утварь в служении Баалам.)

8По повелению царя был изготовлен ящик, который поставили снаружи, у ворот Господнего дома. 9Затем по Иудее и Иерусалиму было объявлено, чтобы они приносили Господу дань, которую установил для израильтян в пустыне Божий слуга Моисей. 10Все приближенные и весь народ с радостью приносили деньги и бросали их в ящик, пока он не наполнился. 11Всякий раз, когда левиты приносили ящик к царским чиновникам и те видели, что в нем много денег, царский писарь и поверенный первосвященника приходили и опустошали ящик, и его снова относили на место. Они делали это постоянно и собрали много денег. 12Царь и Иодай отдали их людям, которые исполняли работу по дому Господа. Они наняли каменщиков и плотников, чтобы обновить дом Господа, и мастеров по работе с железом и бронзой, чтобы восстановить дом.

13Рабочие трудились усердно, и работа спорилась у них в руках. Они восстановили Божий дом по его первоначальному замыслу и укрепили его. 14Завершив работу, они принесли оставшиеся деньги царю и Иодаю, и на них была изготовлена утварь для дома Господа: утварь для службы и для всесожжений, а еще блюда и другие вещи из золота и серебра. Пока Иодай был жив, в доме Господа постоянно совершались всесожжения.

15Иодай состарился и насытился жизнью. Он умер в возрасте ста тридцати лет. 16Его похоронили с царями в Городе Давида, ради добра, которое он сделал в Израиле для Бога и для Его дома.

Иоаш отворачивается от Господа

(4 Цар. 12:17-21)

17После смерти Иодая вожди Иудеи явились на поклон к царю, и он стал прислушиваться к их советам. 18Они оставили дом Господа, Бога своих предков, и стали служить столбам Ашеры и идолам. За их вину на Иудею и Иерусалим обрушился Божий гнев. 19Хотя Господь посылал к народу пророков, чтобы обратить их к Себе, и хотя пророки свидетельствовали против них, те их не слушали.

20Тогда Дух Божий сошел на24:20 Букв.: «облекся». Захарию, сына священника Иодая. Он встал перед народом и сказал:

– Так говорит Бог: «Почему вы нарушаете повеления Господа? Не будет вам успеха. Раз вы оставили Господа, то и Он оставит вас».

21Но они составили против него заговор и, по приказу царя, его забили камнями до смерти во дворе Господнего дома. 22Царь Иоаш не вспомнил о милости, оказанной ему отцом Захарии Иодаем, и убил его сына, который сказал умирая:

– Пусть Господь увидит и взыщет.

23В конце года на Иоаша двинулось войско Арама. Оно вторглось в Иудею и в Иерусалим и перебило всех правителей народа. Арамеи отослали всю добычу своему царю в Дамаск. 24Хотя войско Арама было немногочисленным, Господь отдал в их руки гораздо более сильное войско. Так как они оставили Господа, Бога своих отцов, над Иоашем свершился приговор. 25Уходя, арамеи оставили Иоаша сильно израненным. Его приближенные составили против него заговор за убийство сына священника Иодая и убили его в постели. Он умер и был похоронен в Городе Давида, но не в царских гробницах.

26В заговоре против него состояли Завад24:26 Завад – вариант имени Иозавад (см. 4 Цар. 12:21)., сын аммонитянки Шимеаты, и Иегозавад, сын моавитянки Шимриты24:26 Шимрита – вариант имени Шомера (4 Цар. 12:21).. 27Рассказ о его сыновьях, многочисленные пророчества против него и рассказ о восстановлении24:27 Букв.: «об основании». дома записаны в «Толкованиях к Книге царей». Амасия, его сын, стал царем вместо него.