2 Ebyomumirembe 21 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 21:1-20

121:1 1By 3:11Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi; Yekolaamu mutabani we n’amusikira. 2Yekolaamu yalina baganda be, batabani ba Yekosafaati, nga be ba Azaliya, ne Yekyeri, ne Zekkaliya, ne Azaliya, ne Mikayiri ne Sefatiya. Abo bonna bali baana ba Yekosafaati kabaka wa Yuda. 321:3 a 2By 11:23 b 2By 11:10Kitaabwe yabawa eby’obugagga bingi, ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu eby’omuwendo ebirala, wamu n’ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, naye obwakabaka n’abuwa Yekolaamu kubanga ye yali omuggulanda.

Yekolaamu Kabaka wa Yuda

421:4 a 1Bk 2:12 b Bal 9:5Awo Yekolaamu bwe yamala okwenywereza ddala ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’atta baganda be bonna n’ekitala, era n’abakungu abamu aba Isirayiri.21:4 Isirayiri, ssoma Yuda. 5Yekolaamu yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. 621:6 a 1Bk 12:28-30 b 2By 18:1; 22:3N’atambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakolanga, era n’okuwasa n’awasa muwala wa Akabu. N’akola eby’ebibi mu maaso ga Mukama. 721:7 a 2Sa 7:13 b 2Sa 7:15; 2By 23:3 c 2Sa 21:17; 1Bk 11:36Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama teyayagala kusaanyaawo nnyumba ya Dawudi, kubanga yali akoze endagaano ne Dawudi, ate ng’asuubizza okukuuma ettabaaza ye n’eya bazzukulu be ng’eyaka emirembe gyonna.

821:8 2By 20:22-23Mu biro bya Yekolaamu Edomu n’ajeemera okufuga kwa Yuda ne beeteekerawo kabaka owaabwe. 9Awo Yekolaamu n’agendayo n’abakungu be n’amagaali ge gonna. Abayedomu ne bamutaayiza ye n’abaduumizi ab’amagaali ge mu kiro, naye n’abagolokokerako n’abakuba. 1021:10 Kbl 33:20Okuva ku olwo Edomu ne bajeemera Yuda n’okutuusa leero. Mu kiseera ekyo Libuna naye ne n’amujeemera, kubanga Yekolaamu yali avudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe. 11Yali azimbye n’ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, era ng’aleetedde n’abatuuze ba Yerusaalemi obutaba beesigwa, nga ne Yuda bawabye.

1221:12 a 2Bk 1:16-17 b 2By 17:3-6 c 2By 14:2Yekolaamu n’afuna ebbaluwa okuva eri Eriya nnabbi ng’egamba nti,

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti, ‘Olw’obutatambulira mu makubo ga kitaawo Yekosafaati, wadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda, 1321:13 a nny 6, 11; 1Bk 16:29-33 b 1Bk 16:4; 2:32naye n’otambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri, n’oleetera Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi obutaba beesigwa, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, era n’otta ne baganda bo ab’ennyumba ya kitaawo, abaali bakusinga empisa, 14Mukama kyaliva aleeta kawumpuli ow’amaanyi, ku bantu bo, n’abaana bo, n’abakyala bo, ne ku bintu byo byonna, 1521:15 nny 18-19; Kbl 12:10ate naawe olirwala obulwadde obw’amaanyi mu lubuto, erireetera ebyenda byo okuvaayo, buli lunaku.’ ”

1621:16 2By 17:10-11; 22:1; 26:7Awo Mukama n’asitusa obusungu bw’Abafirisuuti n’Abawalabu abaabeeranga okumpi n’Abaesiyopiya eri Yekolaamu, 1721:17 2Bk 12:18; 2By 22:1; 25:23; Yo 3:5ne balumba Yuda, ne bakiwangula, ne batwala ebintu byonna ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne batabani be, ne bakazi be, ne wataba mutabani we n’omu eyalekebwa okuggyako Yekoyakaazi, omuggalanda.

18Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Mukama n’aleetako Yekolaamu obulwadde obutawonyezeka obw’omu lubuto. 1921:19 2By 16:14Awo ebiro bwe byayitawo, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bitanula okumuvaamu, olw’obulwadde, n’afa mu bulumi bungi. Abantu be ne batamukumira lumbe, nga bwe baali bakoledde bajjajjaabe.

2021:20 2By 24:25; 28:27; 33:20; Yer 22:18, 28Yekolaamu yali wa myaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatandika okuba kabaka, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka munaana. Okufa kwe tekwaleetera muntu n’omu kwejjusa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi naye si ku biggya bya bassekabaka.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志下 21:1-20

1约沙法与祖先同眠后,葬在大卫城他的祖坟里。他儿子约兰继位。

犹大王约兰

2亚撒利雅耶歇撒迦利雅亚撒列夫米迦勒示法提雅约兰的兄弟、犹大约沙法的儿子。 3他们的父亲赐给他们许多金银、财宝和犹大境内的坚城,但将王位赐给了约兰,因为他是长子。 4约兰登基,巩固了王位后,就用刀杀了他所有的兄弟和一些以色列首领。 5约兰三十二岁登基,在耶路撒冷执政八年。 6他与亚哈家一样步以色列诸王的后尘,因为他娶了亚哈的女儿为妻,做耶和华视为恶的事。 7但耶和华不愿毁灭大卫家,因为祂曾与大卫立约,应许让大卫和他的子孙永远做王。

8约兰执政期间,以东人反叛犹大,自己立王。 9约兰率将领及所有战车前去讨伐,结果被以东人包围。但他们乘夜突出重围。 10以东人至今仍脱离犹大的统治,立拿人也在那时候叛变了,因为约兰背弃了他祖先的上帝耶和华。 11约兰犹大的山上修建丘坛,引诱耶路撒冷的居民和犹大人与假神苟合。

12以利亚先知写信给约兰说:“你祖先大卫的上帝耶和华这样说,‘因为你没有效法你父亲约沙法,也没有效法犹大亚撒13而是重蹈以色列诸王的覆辙,与亚哈家一样,引诱犹大人和耶路撒冷的居民与假神苟合,还杀了比你好的兄弟。 14因此,耶和华要降大灾祸给你的人民、儿女、妻妾及一切所有。 15你必患严重的肠病,并且日益加重,直到你的肠子掉出来。’”

16耶和华驱使非利士人和古实附近的阿拉伯人攻打约兰17他们起兵攻打犹大,侵入境内,掳走了王宫里的所有财物以及约兰的儿子和妻妾,只留下他最小的儿子约哈斯

18这事以后,耶和华使约兰患了无法医治的肠病, 19日益加重,两年后肠子掉了出来,他痛苦地死去了。他的百姓没有像对待他祖先那样向他焚火致哀。 20约兰三十二岁登基,在耶路撒冷执政八年。他死后无人向他致哀。他葬在大卫城,但没有葬在王陵里。