2 Ebyomumirembe 2 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 2:1-18

Enteekateeka z’Okuzimba Yeekaalu

12:1 a Ma 12:5 b Mub 2:4Sulemaani n’awa ebiragiro okuzimbira erinnya lya Mukama eyeekaalu, ate naye okwezimbira olubiri olwa kabaka. 22:2 nny 18; 2By 10:4N’alonda abasajja emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutema amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okubakuliranga.

32:3 a 2Sa 5:11 b 1By 14:1Awo Sulemaani n’aweereza Kulamu kabaka w’e Ttuulo obubaka nti,

“Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange, n’omuweereza emivule egy’okwezimbira olubiri lwe okubeeramu, nange kolagana nange mu ngeri y’emu. 42:4 a nny 1; Ma 12:5 b Kuv 30:7 c Kuv 25:30 d Kuv 29:42; 2By 13:11 e Kbl 28:9-10Laba kaakano nnaatera okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange eyeekaalu, era ngiwonge olw’okwoterezaayo obubaane obw’ebyakaloosa obulungi mu maaso ge, n’okuweerayo emigaati egya buli lunaku, n’olw’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa enkya n’akawungeezi buli ssabbiiti ne ku myezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe, ng’ekiragiro eky’enkalakkalira eri Isirayiri.

52:5 a 1By 22:5; Zab 135:5 b 1By 16:25“Eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba yaakitiibwa, kubanga Katonda waffe waakitiibwa okusinga bakatonda abalala bonna. 62:6 a 1Bk 8:27; 2By 6:18; Yer 23:24 b Kuv 3:11Naye ani ayinza okumuzimbira eyeekaalu, nga n’eggulu erya waggulu ddala taligyamu? Noolwekyo nze ani okumuzimbira eyeekaalu, okuggyako okumuzimbira ekifo eky’okwoterezangamu obubaane mu maaso ge?

72:7 nny 13-14; Kuv 35:31; 1By 22:16“Noolwekyo mpeereza omusajja omumanyirivu nga mugezi asobola okuweesa zaabu, ne ffeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, ate era asobola okuluka engoye eza kakobe, n’entwakaavu, n’eza bbululu, ate era nga mumanyirivu mu kukola enjola ez’engeri zonna, ngakolaganira wamu n’abasajja bange abamanyirivu mu by’omu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.

8“Era mpeereza n’emivule, n’emiberosi, n’emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi nti abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abaddu bange banaakolagananga n’ababo 9okunteekerateekera embaawo mu bungi, kubanga eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba egenda kuba nnene era nga yaakitiibwa. 102:10 Ezr 3:7Laba, ndiwa abaweereza bo, abasajja ababazzi, lita ez’eŋŋaano ense emitwalo amakumi ana mu ena, ne lita eza sayiri, emitwalo amakumi ana mu ena, n’ebita eby’omwenge emitwalo ebiri, n’ebita eby’amafuta ag’omuzeeyituuni emitwalo ebiri.”

112:11 1Bk 10:9; 2By 9:8Awo Kulamu n’addamu ebbaluwa Sulemaani gye yamuweereza ng’agamba nti,

“Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.”

122:12 Nek 9:6; Zab 8:3; 33:6; 102:25N’ayongerako na kino nti,

Mukama Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu n’ensi, yeebazibwe, kubanga awadde kabaka Dawudi omwana omutegeevu, alina okutegeera n’okwawula ebirungi n’ebibi, agenda okuzimbira Mukama eyeekaalu, n’okwezimbira olubiri.

132:13 1Bk 7:13“Nkuweereza Kulamu omusajja omumanyirivu, era alina okutegeera n’obumanyirivu bungi, 142:14 a Kuv 31:6 b Kuv 35:31 c Kuv 35:35ne nnyina y’omu ku bazzukulu ba Ddaani, nga ne kitaawe musajja w’e Ttuulo. Yatendekebwa mu kuweesa zaabu n’effeeza, n’ebikomo n’ebyuma n’okutema amayinja era nga mubazzi, ate n’okuluka engoye eza kakobe, n’eza bbululu, n’entwakaavu, n’eza bafuta. Era alina obumanyirivu mu kwola enjola ez’engeri zonna, era ayinza okuyiiya engeri yonna ey’okukolamu ekintu kyonna ekimuweereddwa. Y’anaakolanga n’abaweesi bo n’aba mukama wange Dawudi.

152:15 nny 10; Ezr 3:7“Kaakano mukama wange aweereze abaddu be eŋŋaano ne sayiri, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini gwe yasuubiza, 162:16 Yos 19:46; Yon 1:3tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunaagiseeyeeyeteza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe oligyambusa e Yerusaalemi.”

172:17 a 1By 22:2 b 2Sa 24:2Awo Sulemaani n’abala bannaggwanga bonna abaali mu nsi eya Isirayiri, ng’okubala Dawudi kitaawe kwe yakola bwe kwali; baali abasajja emitwalo kkumi n’ettaano mu enkumi ssatu mu lukaaga. 182:18 nny 2; 1By 22:2; 2By 8:8N’alonda mu bo emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutemanga amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okulabiriranga abantu abaakolanga.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志下 2:1-18

预备建圣殿

1所罗门决定为耶和华的名建造殿宇,也为自己兴建王宫。

2他征用七万名搬运工、八万名在山上凿石的匠人、三千六百名监工, 3并派人去见泰尔希兰,说:“你曾运香柏木给我父亲建造王宫,请你也照样帮助我。 4现在,我要为我的上帝耶和华的名建一座殿,我要把殿献给祂,在祂面前烧芬芳的香,经常献上供饼,在每天早晚、安息日、朔日2:4 朔日”即每月初一。及我们的上帝耶和华所定的节期献上燔祭。这是以色列人应当永远遵守的定例。 5我要建造的殿宇极其宏伟,因为我们的上帝超越一切神明。 6诸天尚且容纳不下祂,谁能为祂建造殿宇呢?我是谁,怎能为祂建造殿宇?我不过是建个向祂烧香的地方。 7现在,请你派一位巧匠来,他要懂得雕刻,会用金银铜铁铸造物品,会编织紫色、朱红色和蓝色的布,好与我父大卫犹大耶路撒冷所预备的巧匠一起工作。 8也请你从黎巴嫩运些香柏木、松木和檀香木来,因为我知道你的仆人擅长砍伐黎巴嫩的树木。我会派人与你的仆人一起工作。 9我要建的殿宇非常宏伟,所以需要的木料非常多。 10我会供给你的伐木工人四百四十万升小麦、四百四十万升大麦、四十四万升酒和四十四万升油。”

11泰尔希兰写信给所罗门说:“耶和华爱祂的子民,所以立你做他们的王。 12创造天地的以色列的上帝耶和华当受称颂!祂赐给大卫王一个有智慧、谋略和悟性的儿子来为耶和华建殿,也为他自己建造王宫。 13现在,我派聪明能干的巧匠户兰去你那里。 14他的母亲是支派的人,父亲是泰尔人。他精于雕刻和设计,善用金银铜铁和木石制造物品,又会编织紫色、蓝色、朱红色的布和细麻布。你可以让他与你的工匠和你父亲大卫的工匠一起工作。 15现在,请我主把许诺的小麦、大麦、油和酒运给仆人。 16我们会在黎巴嫩砍伐你需要的木材,扎成木筏,经海道运到约帕,你可以从那里将木材转运到耶路撒冷。”

17所罗门依照他父亲大卫的方法,统计所有寄居在以色列的外族人,共有十五万三千六百人。 18他指派其中的七万人做搬运工,八万人在山上采凿石头,三千六百人做监工。