2 Ebyomumirembe 19 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 19:1-11

1Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akomawo mirembe mu lubiri lwe mu Yerusaalemi. 219:2 a 1Bk 16:1 b 2By 16:2-9 c Zab 139:21-22 d 2By 24:18; 32:25; Zab 7:11Yeeku, Omulabi, mutabani wa Kanani n’agenda okumusisinkana, n’agamba Yekosafaati nti, “Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate n’okukolagana n’abo abakyawa Mukama? Olw’ekikolwa ekyo, obusungu bwa Mukama kyebuvudde bukubuubukirako. 319:3 a 1Bk 14:13; 2By 12:12 b 2By 17:6 c 2By 18:1; 20:35; 25:7; Ezr 7:10Kyokka mu ggwe mulimu ebirungi, kubanga wazikiriza Baaserosi n’obaggya mu nsi, n’omalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.”

Yekosafaati Alonda Abalamuzi

4Awo Yekosafaati n’abeeranga mu Yerusaalemi, n’addayo eri abantu okuva e Beeruseba okutuuka mu Efulayimu mu nsi ey’ensozi, bonna n’abakomyawo eri Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. 519:5 Lub 47:6; Kuv 18:26N’alonda abalamuzi mu nsi, ne mu buli kibuga kya Yuda ekiriko Bbugwe. 619:6 a Lv 19:15 b Ma 1:17; 16:18-20; 17:8-13N’abategeeza nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bw’abantu wabula ku bwa Mukama, abeera nammwe buli bwe musala omusango. 719:7 a Lub 18:25; Ma 32:4 b Ma 10:17; Yob 34:19; Bar 2:11; Bak 3:25Noolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwekanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi.”

819:8 2By 17:8-9Ate ne mu Yerusaalemi Yekosafaati yalonda abamu ku Baleevi, ne bakabona, n’emitwe gy’ennyumba za Isirayiri okulamulanga ku bwa Mukama, n’okusalangawo ensonga enzibu. 9N’abakuutira ng’agamba nti, “Mukole nga mutya Mukama, n’obwesigwa era n’omutima gumu. 1019:10 Ma 17:8-13Bwe wanaabangawo ensonga evudde eri baganda bammwe okuva mu bibuga byabwe, ng’ekwata ku kuyiwa omusaayi, oba ku nsonga endala yonna ekwata ku kiragiro, ku mateeka oba ku biragiro, munaabalabulanga obutayonoona Mukama, obusungu bwe muleme okubatuukako mmwe ne baganda bammwe. Bwe mutyo bwe munaakolanga muleme okubaako omusango.

1119:11 1By 28:20“Era Amaliya kabona asinga obukulu y’anaababeerangako n’obuvunaanyizibwa mu nsonga zonna eza Mukama, ate Zebadiya mutabani wa Isimayiri omukulu ow’ekika kya Yuda ye n’avunaanyizibwanga mu nsonga zonna eza kabaka, era n’Abaleevi banaaweerezanga ng’abaami mu maaso gammwe. Mube n’obuvumu, era Mukama abeere n’abo abakola obutuukirivu.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志下 19:1-11

先知责备约沙法

1犹大约沙法平安地回到耶路撒冷的宫中。 2哈拿尼先见的儿子耶户出来迎接约沙法王,对他说:“你怎能帮助恶人,爱那憎恨耶和华的人呢?你这样做已经惹怒耶和华了。 3然而你还有善行,因为你铲除境内的亚舍拉神像,立志寻求上帝。”

约沙法的改革

4约沙法耶路撒冷住了一段时间后,就出巡民间,从别示巴一直走到以法莲山区,引导民众归向他们祖先的上帝耶和华。 5他又在犹大各坚城委任审判官, 6对他们说:“你们办事必须谨慎,因为你们不是为人而是为耶和华断案,你们断案的时候,耶和华必与你们同在。 7现在你们应当敬畏耶和华,谨慎办事,因为我们的上帝耶和华毫无不义,不偏待人,不受贿赂。”

8约沙法还在耶路撒冷委任一些利未人、祭司和以色列族长替耶和华断案,审理诉讼。他们就住在耶路撒冷9约沙法训导他们说:“你们要怀着敬畏耶和华的心,全心全意地办事。 10各城中的同胞若把案件带到你们面前,无论是杀人流血,还是有关律法、诫命、律例和典章的案件,你们都要警告他们不要得罪耶和华,免得耶和华的烈怒临到你们和你们的同胞。你们这样行,就没有罪了。 11凡有关耶和华的事,由亚玛利雅大祭司监督你们;凡有关君王的事,由犹大支派的族长以实玛利的儿子西巴第雅监督你们。利未人做官长协助你们。你们要行事勇敢,愿耶和华与正直的人同在!”