2 Ebyomumirembe 18 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 18:1-34

Mikaaya Ayogera Ebyobunnabbi Akabu

118:1 a 2By 17:5 b 2By 19:1-3; 22:3 c 2By 21:6Yekosafaati yali mugagga nnyo era nga wa kitiibwa kinene nnyo, ate nga mukoddomi wa Akabu. 2Bwe waayitawo emyaka, n’aserengeta okugenda okulaba ku Akabu e Samaliya. Akabu n’amuteekerateekera ekijjulo eky’amaanyi n’amuttira endiga nnyingi n’ente nnyingi, ye n’abantu be yagenda nabo, era n’amusendasenda okulumba Lamosugireyaadi. 3Akabu kabaka wa Isirayiri n’abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi?” Yekosafaati n’addamu nti, “Ky’oli kye ndi, era n’abantu bo be bantu bange, tujja kukwegattako mu lutalo.” 4Naye Yekosafaati n’alabula kabaka wa Isirayiri nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”

5Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi bonna awamu; baali abasajja ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Tugende tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo?” Ne bamuddamu nti, “Tugende, kubanga Mukama anaakigabula mu mukono gwa kabaka.” 6Naye Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewaliwo wano nnabbi wa Mukama gwe tuyinza okwebuuzaako?”

7Awo kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Waliyo omusajja omulala gwe tuyinza okwebuuzaako ku Mukama, ye Mikaaya mutabani wa Imula, naye namukyawa kubanga tandagulako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati n’ayogera nti, “Kabaka teyandiyogedde bw’atyo.” 8Kabaka wa Isirayiri n’alyoka alagira omu ku bakungu be nti, “Kima Mikaaya mutabani wa Imula ku bwangu.”

9Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu gguuliro ku mulyango gwa wankaaki w’e Samaliya, nga bambadde ebyambalo byabwe, nga ne bannabbi bonna balagulira mu maaso gaabwe. 10Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeeweesereza amayembe ag’ekyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abasuuli balitomerwa na gano okutuusa lwe balimalibwawo.’ ”

1118:11 2By 22:5Era ne bannabbi abalala bonna baalagulanga kye kimu nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi onoowangula kubanga Mukama anaakiwaayo mu mukono gwa kabaka.”

12Awo omubaka eyali agenze okuyita Mikaaya, n’amugamba nti, “Laba, ebigambo ebya bannabbi bali abalala byogera kyekimu, kale naawe ba bumu nabo.”

1318:13 Kbl 22:18, 20, 35Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu Katonda ky’anaŋŋamba ekyo kye nnaayogera.”

14Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, oba tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Mugende mukirumbe, munaakiwangula, kubanga banaaweebwayo mu mukono gwo.”

15Naye kabaka n’amugamba nti, “Nnaakulayizanga emirundi emeka, obutannimbanga wabula okuntegeezanga amazima mu linnya lya Mukama?”

1618:16 a 1By 9:1 b Kbl 27:17; Ez 34:5-8Awo Mikaaya n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna, nga basaasaanye ku nsozi ng’endiga ezitalina musumba, Mukama n’ayogera nti, ‘Abantu bano tebalina abakulembera, buli omu addeyo ewaabwe mirembe.’ ”

17Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Sakugambye nti talina kirungi ky’andagulako, okuggyako ebibi?”

1818:18 Dan 7:9Mikaaya n’ayongerako na bino nti, “Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama: Nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka n’eggye lyonna ery’omu ggulu nga liyimiridde okumwetooloola ku mukono gwe ogwa kkono. 19Awo Mukama n’abuuza nti, ‘Ani anasendasenda Akabu kabaka wa Isirayiri okulumba Lamosugireyaadi n’oluvannyuma afiire eyo?’

“Omu ku bo n’ateesa kino, n’omulala kiri. 20Ku nkomerero, omwoyo ogumu ne gusembera, ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nzija kumusendasenda.’

Mukama n’agubuuza nti, ‘Ekyo onookikola otya?’

2118:21 1By 21:1; Yob 1:6; Zek 3:1; Yk 8:44“Ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda, mbeere omwoyo omulimba mu kamwa ka buli nnabbi we.’

Mukama n’agugamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda, era genda okole bw’otyo.’

2218:22 Yob 12:16; Is 19:14; Ez 14:9“Kale nno Mukama atadde omwoyo ogw’obulimba mu kamwa ka bannabbi bo, era Mukama akwogeddeko kabi keereere.”

2318:23 Yer 20:2; Mak 14:65; Bik 23:2Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera okumpi ne Mikaaya we yali n’amukuba oluyi mu maaso, n’amubuuza nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko wa okwogera naawe?”

24Mikaaya n’amuddamu nti, “Laba, ekyo olikimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.”

25Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya mumuzzeeyo ewa Amoni ew’omukulu w’ekibuga n’ewa Yowaasi omulangira, 2618:26 2By 16:10; Beb 11:36mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, Omuntu ono mumuteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono n’amazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo mirembe.’ ”

27Awo Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo mirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze,” ate n’ayongerako na kino nti, “Mmwe mwenna, mwekuume ebigambo byange.”

Akabu Afiira e Lamosugireyaadi

28Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. 2918:29 1Sa 28:8Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nze nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde ng’omuntu omulala, naye ggwe yambala ebyambalo byo.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula ng’omuntu omulala, ne bagenda mu lutalo.

30Naye kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi ab’amagaali ge nti, “Temulwanagananga na muntu yenna, oba wa kitiibwa oba si wa kitiibwa, okuggyako kabaka wa Isirayiri.” 3118:31 2By 13:14Awo abaduumizi ab’amagaali bwe balaba Yekosafaati, ne boogera nti, “Oyo ye kabaka wa Isirayiri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka, Mukama n’amubeera, era Katonda n’abaziyiza, n’okubaggyawo n’abaggyawo. 32Abaduumizi ab’amagaali bwe baakizuula nti si ye kabaka wa Isirayiri, ne balekeraawo okumugoba.

33Naye omu ku basajja n’amala ganaanuula omutego gwe, n’alasa kabaka wa Isirayiri mu kifo ekimu ebyambalo bye eby’olutalo we byegattira. Kabaka n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa onzigye mu lutalo kubanga nfumitiddwa.” 3418:34 2By 22:5Olutalo ne lukanya olunaku lwonna, kyokka kabaka wa Isirayiri ne yeewaliriza okusigala mu gaali lye ng’atunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ng’egwa n’afa.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志下 18:1-34

米該雅先知警告亞哈

1約沙法極有財富和尊榮,他與亞哈結為姻親。 2幾年後,約沙法下到撒瑪利亞拜訪亞哈亞哈宰了很多牛羊款待他和他的隨從,又遊說他與自己一起去攻打基列拉末3以色列亞哈猶大約沙法說:「你願意與我一起去攻打基列拉末嗎?」約沙法回答說:「你我不分彼此,我的民就是你的民,我必與你同去。」 4約沙法又對以色列王說:「你要先求問耶和華。」

5於是,以色列王召來四百名先知,問他們:「我可以去攻打基列拉末嗎?」他們說:「可以去,上帝必把那城交在王手中。」 6約沙法問:「這裡沒有耶和華的先知供我們求問嗎?」 7以色列王回答說:「還有一個人,是音拉的兒子米該雅,我們可以託他求問耶和華。可是我厭惡他,因為他給我的預言都是有凶無吉。」約沙法說:「王不要這樣說。」 8以色列王召來一名內侍,說:「你快把音拉的兒子米該雅帶來。」

9以色列王和猶大約沙法身穿朝服,坐在撒瑪利亞城門前麥場的寶座上,眾先知都在他們面前說預言。 10基拿拿的兒子西底迦造了兩隻鐵角,說:「耶和華這樣說,『你必用這鐵角牴亞蘭人,直到毀滅他們。』」 11所有的先知也都預言說:「去攻打基列拉末吧,一定得勝,耶和華必將那城交在王的手中。」

12去召米該雅的使者對米該雅說:「眾先知都異口同聲地向王說吉言,你也像他們一樣說些吉言吧。」 13米該雅回答說:「我憑永活的耶和華起誓,我的上帝對我說什麼,我就說什麼。」 14米該雅來到王面前,王就問他:「米該雅啊,我們可不可以去攻打基列拉末?」米該雅回答說:「上去攻打吧,一定得勝,敵人必被交在你們手中。」 15王卻說:「我要囑咐你多少次,你才肯奉耶和華的名對我說實話呢?」 16米該雅說:「我看見所有以色列人四散在山上,好像沒有牧人的羊群一樣。耶和華說,『這些人沒有主人,讓他們各自平安地回家去吧。』」

17以色列王對約沙法說:「我不是告訴過你嗎?他給我的預言都是有凶無吉。」 18米該雅說:「你們要聽耶和華的話。我看見耶和華坐在寶座上,眾天軍侍立在祂左右。 19耶和華說,『誰願意去引誘以色列亞哈基列拉末去送死呢?』眾天軍議論紛紛。 20後來,有一個靈站出來對耶和華說他願意去。耶和華問他用什麼方法, 21他說,『我要做謊言之靈,進入他眾先知的口中。』耶和華說,『你必能成功,就這樣做吧。』 22現在,耶和華已經把謊言之靈放進這些先知口中,耶和華已決意降禍給你。」

23基拿拿的兒子西底迦聽了米該雅的話就上前打他的臉,說:「耶和華的靈怎會離開我向你說話呢?」 24米該雅說:「你躲進密室的那天就知道了。」 25以色列王下令說:「把米該雅交給亞們總督和約阿施王子, 26告訴他們,『王說,要把這人關進監牢,只給他一些餅和水,直到我平安地回來。』」 27米該雅說:「你若能夠平安回來,耶和華就沒有藉著我說話。」他又說:「眾民啊,你們都要記住我的話。」

亞哈之死

28以色列王和猶大約沙法出兵攻打基列拉末29以色列王對約沙法說:「我要改裝上陣,你就穿王袍吧。」以色列王改裝後,他們就上陣去了。 30亞蘭王已經吩咐戰車長不要與對方的大小軍兵交鋒,只攻擊以色列王。 31戰車長看見約沙法,以為他就是以色列王,便轉身攻擊他。約沙法高聲喊叫,耶和華上帝就幫助他,使敵人離開他。 32戰車長見他不是以色列王,便不再追殺他。 33有人隨手放了一箭,射進了以色列王的鎧甲縫中。王對駕車的說:「調轉車頭拉我離開戰場吧,我受了重傷。」 34那天的戰事非常激烈,以色列王勉強支撐著站在車上迎戰亞蘭人,直到黃昏。太陽下山的時候,他就死了。