2 Ebyomumirembe 15 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 15:1-19

115:1 Kbl 11:25, 26; 24:2; 2By 20:14; 24:20Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Azaliya mutabani wa Obedi, 215:2 a nny 4, 15; 2By 20:17 b Yak 4:8 c Yer 29:13 d 1By 28:9; 2By 24:20n’agenda n’asisinkana Asa n’amugamba nti, “Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda ne Benyamini mwenna, Mukama ali nammwe bwe muba mu ye. Bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga, naye bwe munaamulekuliranga naye anaabalekuliranga. 315:3 a Lv 10:11 b 2By 17:9; Kgb 2:9Isirayiri yamala ebbanga ddene nga tegondera Katonda ow’amazima, nga tebalina kabona abayigiriza, wadde okuba n’amateeka. 415:4 Ma 4:29Naye wakati mu nnaku yaabwe ne bakyukira Mukama Katonda wa Isirayiri, ne bamunoonya, era ne bamulaba. 515:5 Bal 5:6Mu biro ebyo tewaali mirembe abantu okutambula nga bwe baayagalanga, kubanga baali mu kweraliikirira kungi nnyo. 615:6 Mat 24:7Amawanga n’amawanga gaalwanagananga, n’ebibuga ne birumbagananga kubanga Katonda yabaleetako ebizibu bingi nnyo. 715:7 a Yos 1:7, 9 b Zab 58:11Naye mmwe mugume omwoyo! Temuganya mikono gyammwe kunafuwa kubanga omulimu gwammwe guliko empeera.”

815:8 a 2By 13:19 b 2By 8:12Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ebyobunnabbi bwa Azaliya mutabani wa Obedi, n’aguma omwoyo, n’aggyawo ebifaananyi ebyole okuva mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini, n’okuva mu bibuga bye yali awambye mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. N’addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g’ekisasi ekya yeekaalu ya Mukama. 915:9 2By 11:16-17N’akuŋŋaanya aba Yuda n’aba Benyamini bonna, n’abantu b’e Efulayimu, n’e Manase, n’e Simyoni abaabeeranga nabo, kubanga bangi basenga gyali okuva mu Isirayiri bwe baalaba nga Mukama Katonda ali wamu naye.

10Ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogwokusatu mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Asa. 1115:11 2By 14:13Ku lunaku olwo ne bawaayo eri Mukama ebimu ku by’omunyago: ente lusanvu, n’endiga n’embuzi zonna kasanvu. 1215:12 a 2Bk 11:17; 2By 23:16; 34:31 b 1By 16:11Ne beeyama okunoonyanga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, n’omutima gwabwe gwonna, n’emmeeme yaabwe yonna. 1315:13 Kuv 22:20; Ma 13:9-16Era abo bonna abatanoonyanga Mukama, Katonda wa Isirayiri battibwanga, oba bato oba bakulu, oba bakazi oba basajja. 14Ne balayirira Mukama mu ddoboozi ery’omwanguka, wamu n’okufuuwa amakondeere n’eŋŋombe. 1515:15 a Ma 4:29 b 1By 22:9; 2By 14:7Yuda yonna ne basanyukira ekirayiro ekyo, kubanga baali balayidde n’omutima gwabwe gwonna, era nga bamunoonyezza n’okwagala kwabwe kwonna, ne bamulaba. Era Mukama n’abawa emirembe enjuuyi zonna.

1615:16 Kuv 34:13; 2By 14:2-5Kabaka Asa n’agoba jjajjaawe Maaka ku bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi ekyole ekya Asera. Asa n’akitemaatema n’akimenyaamenya, n’akyokera mu kagga Kidulooni. 17Newaakubadde nga teyaggyawo bifo ebigulumivu mu Isirayiri, Asa yamalirira mu mutima gwe okunywerera ku Mukama ennaku ze zonna. 18Mu yeekaalu ya Mukama n’aleetamu effeeza ne zaabu, n’ebintu ye ne kitaawe bye baawonga.

19Ne wataba ntalo nate okumala emyaka amakumi asatu mu etaano egy’obufuzi bwa Asa.