2 Ebyomumirembe 12 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 12:1-16

Sisaki Alumba Yerusaalemi

112:1 a nny 13 b 2By 11:17Awo Lekobowaamu bwe yanywera ku bwakabaka, n’aba mugumu, ye ne Isirayiri yonna ne bava ku mateeka ga Mukama. 212:2 a 1Bk 14:22-24 b 1Bk 11:40Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi kubanga tebaali beesigwa eri Mukama. 312:3 2By 16:8; Nak 3:9N’ajja n’amagaali lukumi mu bibiri, n’abeebagala embalaasi emitwalo mukaaga, ate n’abaserikale ab’ebigere bangi nnyo: Abalubimu, n’Abasukkiyimu, n’Abaesiyopiya okuva e Misiri. 412:4 2By 11:10N’awamba ebibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda n’atuuka n’e Yerusaalemi.

512:5 a 2By 11:2 b Ma 28:15; 2By 15:2Awo Semaaya nnabbi n’agenda eri Lekobowaamu n’eri abakulembeze ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi olw’okutya Sisaki, n’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwanvaako, nange kyenvudde mbawaayo mu mukono gwa Sisaki.’ ”

612:6 Kuv 9:27; Dan 9:14Awo abakulembeze ba Isirayiri, nga bali wamu ne kabaka ne beetoowaza ne boogera nti, “Mukama asala bulungi emisango.”

712:7 1Bk 21:29; Zab 78:38Awo Mukama bwe yalaba okwetoowaza kwabwe, ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya nti, “Beetoowazizza noolwekyo siribazikiriza. Ndibalokola, era n’obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi nga buyita mu mukono gwa Sisaki. 812:8 Ma 28:48Wabula baliba baddu be, balyoke bategeere enjawulo eriwo wakati w’okumpeereza n’okuweereza bakabaka baamawanga amalala.”

912:9 2By 9:16Awo Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi n’atwala obugagga obw’omu yeekaalu ya Mukama, n’obugagga obw’omu lubiri lwa kabaka, n’atwala buli kintu kyonna, era n’atwala n’engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 10Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ekikomo okudda mu kifo kyaziri eza zaabu, n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki ow’olubiri lwa kabaka. 11Buli kabaka bwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abakuumi baazeetikkanga nga bamuwerekera, n’oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abakuumi.

1212:12 1Bk 14:13; 2By 19:3Lekobowaamu bwe yeetoowaza, Mukama n’alekeraawo okumusunguwalira n’atasaanyizibwawo ddala, ne mu Yuda ne mubaamu emirembe.

1312:13 Ma 12:5; 2By 6:6Kabaka Lekobowaamu ne yeenyweza mu Yerusaalemi, n’afuga nga ye kabaka. Yalina emyaka amakumi ana mu gumu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri n’ateekamu Erinnya lye. Nnyina erinnya lye ye yali Naama Omwamoni. 14Lekobowaamu n’akola ebibi, n’atamalirira kunoonya Mukama mu mutima gwe.

1512:15 2By 9:29; 11:2Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Lekobowaamu okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya Semaaya nnabbi n’ebya Iddo omulabi? Ne wabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. 1612:16 2By 11:20Awo Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, Abiya mutabani we n’amusikira.