2 Bassekabaka 6 – LCB & KJV

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 6:1-33

Omutwe gw’Embazzi ogwali gubuze guzuulibwa

16:1 1Sa 10:5; 2Bk 4:38Awo ekibiina kya bannabbi ne bagamba Erisa nti, “Laba, ekifo we tukuŋŋaanira wafunda nnyo. 2Leka tulage ku lubalama lwa Yoludaani, buli omu ku ffe atemeyo omuti gumu, twezimbire ekifo ekigazi mwe tuyinza okubeera.” N’abagamba nti, “Mugende.”

3Awo omu ku bo n’amubuuza nti, “Toogende n’abaddu bo?”

N’addamu nti, “Nzija kugenda nammwe.” 4N’agenda nabo.

Ne baserengeta ne balaga ku Yoludaani, ne batandika okutema emiti. 5Naye omu ku bo bwe yali ng’atema omuti, omutwe gw’embazzi ye ne gusowokamu ne gugwa mu mazzi, n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange, nagyeyazise bweyazisi!”

66:6 Kuv 15:25; 2Bk 2:21Awo omusajja wa Katonda n’amubuuza nti, “Yagudde wa?” Bwe yamulaga ekifo, Erisa n’atema akati, n’akakanyuga mu kifo ekyo, ekyuma ne kiva wansi ne kiseeyeeya kungulu ku mazzi. 7Erisa n’amugamba nti, “Giggyeemu.” Omusajja n’agiggyamu.

Erisa Aziba Amaaso g’Abasuuli

8Awo olwatuuka kabaka wa Busuuli yali atabadde Isirayiri, ne yeebuza ku baserikale be ng’agamba nti, “Kifo ki mwe ndikuba olusiisira lwange?” 96:9 nny 12Naye mu kiseera kye kimu omusajja wa Katonda n’aweereza kabaka wa Isirayiri obubaka nti, “Weegendereze obutayita mu kifo gundi, kubanga Abasuuli bajja kubeerayo.” 106:10 Yer 11:18Awo kabaka wa Isirayiri n’atuma bakebere mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yayogerako. Era bulijjo Erisa yamulabulanga, kabaka n’awona si mulundi gumu so si ebiri.

11Ekyo kyanyiiza nnyo kabaka wa Busuuli, era n’ayita abaserikale be, n’ababuuza nti, “Muntegeeze, ani mu ffe ali ku ludda lwa kabaka wa Isirayiri?” 126:12 nny 9Omu ku bo n’amuddamu nti, “Tewali n’omu ku ffe mukama wange kabaka, naye Erisa nnabbi ali mu Isirayiri, y’ategeeza kabaka wa Isirayiri, ebigambo by’oyogerera mu kisenge kyo.” 136:13 Lub 37:17Kabaka n’alagira nti, “Mugende mulabe w’ali, ndyoke ntume abasajja bamukwate.” Ne bakomyawo obubaka nti, “Ali mu Dosani.” 146:14 2Bk 1:9Amangwago n’asindika embalaasi, n’amagaali, n’eggye ery’amaanyi, ne bajja mu kiro ne bazingiza ekibuga.

15Omuweereza ow’omusajja wa Katonda bwe yazuukuka ku makya n’afuluma ebweru, laba, eggye eririna embalaasi, n’amagaali nga lyetoolodde ekibuga. Omuweereza n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange tunaakola tutya?”

166:16 a Lub 15:1 b 2By 32:7; Zab 55:18; Bar 8:31; 1Yk 4:4Nnabbi n’addamu nti, “Totya kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.”

176:17 2Bk 2:11, 12; Zab 68:17; Zek 6:1-7Awo Erisa n’asaba ng’agamba nti, “Ayi Mukama, zibula amaaso ge asobole okulaba.” Amangwago Mukama n’azibula amaaso ag’omuweereza, laba ng’ensozi zijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro nga geetoolodde Erisa.

186:18 Lub 19:11; Bik 13:11Abalabe bwe baaserengeta okulumba Erisa, n’asaba Mukama, n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, ozibe amaaso g’abantu bano.” N’aziba amaaso gaabwe nga Erisa bwe yamusaba.

19Erisa n’abagamba nti, “Lino si lye kkubo, era kino si kye kibuga. Mungoberere, mbatwale eri omusajja gwe munoonya.” N’abakulemberamu n’abatwala e Samaliya. 20Olwayingira mu kibuga, n’asaba Mukama nti, “Zibula amaaso g’abasajja bano, balabe.” Mukama n’azibula amaaso gaabwe, ne batunula, laba nga bali mu Samaliya wakati.

216:21 2Bk 5:13Awo kabaka wa Isirayiri bwe yabalaba, n’abuuza Erisa nti, “Kitange, mbatte? Mbatte?” 226:22 Ma 20:11; 2By 28:8-15; Bar 12:20N’amuddamu nti, “Tobatta. Oyinza okutta abo b’owambye n’ekitala kyo, n’omutego gw’akasaale? Bategekere emmere n’amazzi, balye n’okunywa banywe, n’oluvannyuma obasindike baddeyo eri mukama waabwe.” 236:23 2Bk 5:2N’abateekerateekera embaga nnene, era bwe baamala okulya n’okunywa, n’abasindika ne baddayo eri mukama waabwe. Abasuuli okwo kwe baakoma okulumba ensi ya Isirayiri.

Enjala egwa mu Kibuga ekizingize, Samaliya

246:24 a 1Bk 15:18; 20:1; 2Bk 8:7 b Ma 28:52Bwe waayitawoko ebbanga, Benikadadi kabaka w’e Busuuli, n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’alumba n’azingiza Samaliya. 256:25 a Lv 26:26; Lus 1:1 b Is 36:12Ne waba enjala nnyingi nnyo mu kibuga olw’okuzingiza okwo, omutwe gw’endogoyi6:25 Endogoyi yali etwalibwa okuba nga nsolo etali nnongoofu era nga teriibwa ne gutundibwanga kilo emu eya ffeeza, n’ekimu ekyokuna eky’ekibya eky’obusa bw’enjiibwa ne kitundibwanga gulaamu ataano mu ttaano eza ffeeza.

26Awo kabaka wa Isirayiri yali ayita okumpi ne bbugwe, omukazi omu n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Nnyamba mukama wange kabaka!”

27Kabaka n’amuddamu nti, “Mukama bw’ataakuyambe, nze nnaakuyamba ntya? Obuyambi nnaabuggya mu gguuliro oba mu ssogolero?” 28Era kwe ku mubuuza nti, “Mutawaana ki?”

Omukazi n’amuddamu nti, “Omukazi ono gw’olaba yateesezza nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye leero, enkya tulye owange.’ 296:29 Lv 26:29; Ma 28:53-55Ne nzikiriza, ne tufumba owange ne tumulya. Enkeera ne mugamba nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye,’ naye amukwese.”

306:30 a 2Bk 18:37; Is 22:15 b Lub 37:34; 1Bk 21:27Kabaka bwe yawulira ebigambo by’omukazi oyo, n’ayuza ebyambalo bye. Bwe yali ng’atambula ku bbugwe, abantu ne bamulengera, laba ng’ayambadde ebibukutu wansi w’ebyambalo bye. 31N’ayogera nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, omutwe gwa Erisa mutabani wa Safati bwe gunaabeera ku bibegabega bye leero!”

326:32 a Ez 8:1; 14:1; 20:1 b 1Bk 18:4 c nny 31Mu kiseera kye kimu ekyo, Erisa yali atudde mu nnyumba ye nga n’abakadde batudde wamu naye, kabaka n’atuma omubaka okumukulemberamu, naye omubaka oyo bwe yali tannatuuka, Erisa n’agamba abakadde nti, “Mulaba omutemu oyo bw’atumye omuntu okuntemako omutwe? Laba, omubaka ajja, muggaleewo oluggi mulunyweze so temumukkiriza kuyingira. Ebigere bya mukama we tebiri mabega we, tamuvaako mabega?”

336:33 Lv 24:11; Yob 2:9; 14:14; Is 40:31Awo Erisa bwe yali ng’akyayogera nabo, omubaka n’atuuka, n’ayogera nti, “Akabi kano kavudde eri Mukama. Lwaki nnindirira Mukama nate?”

King James Version

2 Kings 6:1-33

1And the sons of the prophets said unto Elisha, Behold now, the place where we dwell with thee is too strait for us. 2Let us go, we pray thee, unto Jordan, and take thence every man a beam, and let us make us a place there, where we may dwell. And he answered, Go ye. 3And one said, Be content, I pray thee, and go with thy servants. And he answered, I will go. 4So he went with them. And when they came to Jordan, they cut down wood. 5But as one was felling a beam, the axe head fell into the water: and he cried, and said, Alas, master! for it was borrowed.6.5 axe head: Heb. iron 6And the man of God said, Where fell it? And he shewed him the place. And he cut down a stick, and cast it in thither; and the iron did swim. 7Therefore said he, Take it up to thee. And he put out his hand, and took it.

8¶ Then the king of Syria warred against Israel, and took counsel with his servants, saying, In such and such a place shall be my camp.6.8 camp: or, encamping 9And the man of God sent unto the king of Israel, saying, Beware that thou pass not such a place; for thither the Syrians are come down. 10And the king of Israel sent to the place which the man of God told him and warned him of, and saved himself there, not once nor twice. 11Therefore the heart of the king of Syria was sore troubled for this thing; and he called his servants, and said unto them, Will ye not shew me which of us is for the king of Israel? 12And one of his servants said, None, my lord, O king: but Elisha, the prophet that is in Israel, telleth the king of Israel the words that thou speakest in thy bedchamber.6.12 None: Heb. No

13¶ And he said, Go and spy where he is, that I may send and fetch him. And it was told him, saying, Behold, he is in Dothan. 14Therefore sent he thither horses, and chariots, and a great host: and they came by night, and compassed the city about.6.14 great: Heb. heavy 15And when the servant of the man of God was risen early, and gone forth, behold, an host compassed the city both with horses and chariots. And his servant said unto him, Alas, my master! how shall we do?6.15 the servant: or, the minister 16And he answered, Fear not: for they that be with us are more than they that be with them. 17And Elisha prayed, and said, LORD, I pray thee, open his eyes, that he may see. And the LORD opened the eyes of the young man; and he saw: and, behold, the mountain was full of horses and chariots of fire round about Elisha. 18And when they came down to him, Elisha prayed unto the LORD, and said, Smite this people, I pray thee, with blindness. And he smote them with blindness according to the word of Elisha.

19¶ And Elisha said unto them, This is not the way, neither is this the city: follow me, and I will bring you to the man whom ye seek. But he led them to Samaria.6.19 follow…: Heb. come ye after me 20And it came to pass, when they were come into Samaria, that Elisha said, LORD, open the eyes of these men, that they may see. And the LORD opened their eyes, and they saw; and, behold, they were in the midst of Samaria. 21And the king of Israel said unto Elisha, when he saw them, My father, shall I smite them? shall I smite them? 22And he answered, Thou shalt not smite them: wouldest thou smite those whom thou hast taken captive with thy sword and with thy bow? set bread and water before them, that they may eat and drink, and go to their master. 23And he prepared great provision for them: and when they had eaten and drunk, he sent them away, and they went to their master. So the bands of Syria came no more into the land of Israel.

24¶ And it came to pass after this, that Ben-hadad king of Syria gathered all his host, and went up, and besieged Samaria. 25And there was a great famine in Samaria: and, behold, they besieged it, until an ass’s head was sold for fourscore pieces of silver, and the fourth part of a cab of dove’s dung for five pieces of silver. 26And as the king of Israel was passing by upon the wall, there cried a woman unto him, saying, Help, my lord, O king. 27And he said, If the LORD do not help thee, whence shall I help thee? out of the barnfloor, or out of the winepress?6.27 If…: or, Let not the LORD save thee 28And the king said unto her, What aileth thee? And she answered, This woman said unto me, Give thy son, that we may eat him to day, and we will eat my son to morrow. 29So we boiled my son, and did eat him: and I said unto her on the next day, Give thy son, that we may eat him: and she hath hid her son.6.29 next: Heb. other

30¶ And it came to pass, when the king heard the words of the woman, that he rent his clothes; and he passed by upon the wall, and the people looked, and, behold, he had sackcloth within upon his flesh. 31Then he said, God do so and more also to me, if the head of Elisha the son of Shaphat shall stand on him this day. 32But Elisha sat in his house, and the elders sat with him; and the king sent a man from before him: but ere the messenger came to him, he said to the elders, See ye how this son of a murderer hath sent to take away mine head? look, when the messenger cometh, shut the door, and hold him fast at the door: is not the sound of his master’s feet behind him? 33And while he yet talked with them, behold, the messenger came down unto him: and he said, Behold, this evil is of the LORD; what should I wait for the LORD any longer?