2 Bassekabaka 20 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 20:1-21

Okulwala kwa Keezeekiya

1Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala n’abulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.”

2Keezeekiya ne yeekyusa n’atunuulira ekisenge, ne yeegayirira Mukama ng’agamba nti, 320:3 a Nek 13:22 b 2Bk 18:3-6“Jjukira, Ayi Mukama Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa n’omutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” Keezeekiya n’akaaba nnyo.

4Awo Isaaya bwe yali nga tannava mu luggya olwa wakati, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, 520:5 a 1Sa 9:16; 1Bk 9:3; 2Bk 19:20 b Zab 39:12; 56:8“Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w’abantu bange nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti: Mpulidde okusaba kwo, era n’amaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu onooyambuka n’olaga mu yeekaalu ya Mukama. 620:6 2Bk 19:34Ndikwongerako emyaka emirala kkumi n’ettaano, era laba ndikulokola ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”

720:7 Is 38:21Awo Isaaya n’alagira baleete ekitole ky’ettiini, ne bakisiiga ku jjute, Keezeekiya n’awona.

8Keezeekiya yali abuuzizza Isaaya nti, “Kabonero ki akalindaga nti Mukama amponyezza, era nti ndyambuka mu yeekaalu ya Mukama nga wayiseewo ennaku ssatu?”

920:9 Ma 13:2; Yer 44:29Isaaya n’addamu nti, “Kano ke kaliba akabonero gy’oli okuva eri Mukama nti ajja kutuukiriza kye yasuubiza: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaaddayo emabega amadaala kkumi?”

10Keezeekiya n’addamu nti, “Kintu kyangu nnyo ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi, Noolwekyo kiddeyo emabega amadaala kkumi.”

1120:11 Yos 10:13Awo Isaaya n’akoowoola erinnya lya Mukama, era Mukama n’azzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi okuva ne we kyali ku madaala ga Akazi.

Obusirusiru bwa Keezeekiya

12Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti Keezeekiya yali alwadde. 13Keezeekiya n’ayaniriza ababaka abaleeta ebbaluwa, n’abalambuza amawanika ge gonna omwali eby’omuwendo ebingi ng’effeeza, ne zaabu, n’ebyakaloosa n’amafuta ag’omuwendo omungi. Yabalambuza ennyumba omwali ebyokulwanyisa, n’eby’omuwendo ebirala ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu mu lubiri wadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.

14Awo nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja abo bagambye ki era bavudde wa?”

Keezeekiya n’addamu nti, “Bavudde mu nsi ey’ewala mu Babulooni.”

15Nnabbi n’amubuuza nti, “Balabye ki mu lubiri lwo?”

N’addamu nti, “Balabye buli kintu mu lubiri lwange, tewali na kimu ku by’omu mawanika gange kye nabakwese.”

16Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ky’agamba: 1720:17 2Bk 24:13; 25:13; 2By 36:10; Yer 27:22; 52:17-23Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bw’ayogera Mukama. 1820:18 2Bk 24:15; 2By 33:11; Dan 1:3“Era abamu ku bazzukulu bo, ab’omubiri gwo n’omusaayi gwo, abaliba bakuzaaliddwa balitwalibwa mu busibe, era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni.”

19Keezeekiya n’addamu nti, “Ekigambo kya Mukama ekyo ky’oyogedde kirungi.” Yalowooza mu mutima gwe nti, “Kasita, emirembe n’obutebenkevu binaabeerangawo mu mirembe gyange.”

2020:20 Nek 3:16Ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya n’ebyobuzira bye byonna, ne bwe yakola ekidiba n’omudumu omunene ebyaleetanga amazzi mu kibuga, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo eky’ebyomumirembe bya bassekabaka ba Yuda? 21Keezeekiya n’afa, mutabani we Manase n’amusikira okuba kabaka.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

列王紀下 20:1-21

希西迦的病危與康復

1那些天,希西迦病危,亞摩斯的兒子以賽亞先知前來對他說:「耶和華說,『你要交待後事,因為你要死了,你的病不能康復。』」 2希西迦把臉轉向牆,向耶和華禱告,說: 3「耶和華啊,求你顧念我怎樣全心、忠誠地事奉你,做你視為善的事。」希西迦痛哭起來。 4當時,以賽亞還沒有走出中院,耶和華對他說: 5「回去告訴我子民的首領希西迦,『你祖先大衛的上帝耶和華說,我已聽見你的禱告,看見了你的眼淚。我要醫治你,三天後你就可以上耶和華的殿。 6我要使你的壽命增加十五年,我要從亞述王手中拯救你和這城。為我自己和我僕人大衛的緣故,我要保護這城。』」

7以賽亞說:「拿一塊無花果餅貼在王的瘡上,他就會痊癒。」

8希西迦以賽亞:「有什麼兆頭證明耶和華要醫治我,三天後我可以上耶和華的殿呢?」 9以賽亞說:「耶和華要給你一個兆頭,證明祂言出必行。你要日影前進十度還是後退十度呢?」 10希西迦說:「日影前進十度容易,讓日影後退十度吧。」 11以賽亞先知向耶和華祈求,耶和華就使亞哈斯日晷上的日影後退了十度。

巴比倫的使者來訪

12那時,巴拉但的兒子巴比倫米羅達·巴拉但聽說希西迦病了,便派人送去書信和禮物。 13希西迦接見使者,讓他們觀看國庫裡的金銀、香料、珍貴膏油、所有兵器和一切寶物。希西迦把宮中及國內的一切都給他們看。

14以賽亞先知來見希西迦王,問他:「這些人說了些什麼?他們從哪裡來?」希西迦答道:「他們來自遙遠的巴比倫。」 15以賽亞問:「他們在你宮裡看到了什麼?」希西迦答道:「他們看到了我宮中的一切。我把國庫裡的一切都給他們看了。」

16以賽亞希西迦說:「你聽著,耶和華說, 17『終有一天,你宮中的一切和你祖先積攢到現在的一切,必一件不留地被擄到巴比倫。這是耶和華說的。 18你的子孫當中必有人被擄去,在巴比倫王的宮中做太監。』」 19希西迦以賽亞說:「耶和華藉你說的話很好。」因為他想:「至少我有生之年將平安穩妥。」

20希西迦其他的事蹟和成就,包括怎樣建造水池和挖溝引水入城,都記在猶大的列王史上。 21希西迦與祖先同眠後,他兒子瑪拿西繼位。