2 Abakkolinso 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Abakkolinso 2:1-17

12:1 2Ko 1:23Kino nakimalirira munda mu nze obutakomawo nate eyo nneme okubanakuwaza. 22:2 2Ko 7:8Kubanga bwe nnaabanakuwaza, ani anansanyusa wabula oyo gwe nnaanakuwaza? 32:3 a 2Ko 7:8, 12 b 2Ko 12:21 c 2Ko 8:22; Bag 5:10Kyennava mbawandiikira ebyo byennyini bwe ndijja nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza, nga nnesiga nti essanyu lyange lye lyammwe mwenna. 42:4 2Ko 7:8, 12Nabawandiikira wakati mu kubonaabona okungi n’okunyolwa mu mutima, era nga nkaaba amaziga mangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala okungi ennyo kwe nnina gye muli.

52:5 1Ko 5:1, 2Bwe wabaawo eyanakuwaza munne, teyanakuwaza nze, si kulwa nga mbazitoowerera mwenna. 62:6 1Ko 5:4, 5Omuntu ng’oyo ekibonerezo ekyamuweebwa abangi kimumala; 72:7 Bag 6:1; Bef 4:32kyekiva kisaana mmwe okumusonyiwa n’okumuzzaamu amaanyi si kulwa ng’ennaku emuyitirirako n’emuyinga obungi. 8Noolwekyo mbakuutira okwongera okumukakasa nti mumwagala. 92:9 2Ko 10:6Kyennava mbawandiikira ndyoke ntegeere obanga muli bawulize mu nsonga zonna. 10Bwe musonyiwa omuntu mu nsonga yonna, nange mmunsonyiwa, kubanga bwe mba nga nsonyiye, nsonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo. 112:11 a Mat 4:10 b Luk 22:31; 2Ko 4:4; 1Pe 5:8, 9Setaani alemenga okutuwangula, kubanga tumanyi enkwe ze.

Pawulo mu Tulowa

122:12 a Bik 16:8 b Bar 1:1 c Bik 14:27Bwe natuuka mu Tulowa olw’enjiri ya Kristo, Mukama n’anzigulirawo oluggi, 132:13 a 2Ko 7:5 b 2Ko 7:6, 13; 12:18saawumula mu mutima gwange, bwe ssaalaba owooluganda Tito. Bwe namala okubasiibula ne ndaga e Makedoniya.

Obuwanguzi mu Kristo

142:14 a Bar 6:17 b Bef 5:2; Baf 4:18Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, n’akawoowo ak’okumanya, ke tubunyisa wonna. 152:15 1Ko 1:18Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa. 162:16 a Luk 2:34 b 2Ko 3:5, 6Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola? 172:17 a 2Ko 4:2 b 1Ko 5:8 c 2Ko 1:12Tetuli ng’abangi abakozesa ekigambo kya Katonda olw’okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe twogera nga tetuliimu bukuusa. Naye twogera okuva eri Katonda era mu maaso ga Katonda, kubanga twogerera mu Kristo nga tetwekomoma.