2 Abakkolinso 1 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

2 Abakkolinso 1:1-24

Okulamusa n’Okwebaza

11:1 a 1Ko 1:1; Bef 1:1; Bak 1:1; 2Ti 1:1 b 1Ko 10:32 c Bik 18:12Pawulo omutume wa Kristo Yesu, olw’okusiima kwa Katonda, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso awamu n’abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna, 21:2 Bar 1:7ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

31:3 Bef 1:3; 1Pe 1:3Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, 41:4 2Ko 7:6, 7, 13atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi. 51:5 2Ko 4:10; Bak 1:24Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bw’atyo bw’atuzzaamu amaanyi. 61:6 2Ko 4:15Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu. 71:7 Bar 8:17Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.

81:8 1Ko 15:32Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde n’essuubi ery’okuba abalamu ne lituggwaamu. 91:9 Yer 17:5, 7Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu, 101:10 Bar 15:31eyatuwonya mu kufa okwo okw’entiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi ery’okutuwonyanga. 111:11 a Bar 15:30; Baf 1:19 b 2Ko 4:15Tukolere wamu nga mutusabira, bangi balyoke batwebalizeeko olw’ekirabo kye twaweebwa.

Pawulo akyusa mu ntegeka ze

121:12 a Bik 23:1 b 2Ko 2:17 c 1Ko 2:1, 4, 13Tulina okwenyumiriza ng’omwoyo gwaffe gutujulira kubanga twatambulira mu buwombeefu ne mu mazima ga Katonda, so si mu magezi ag’omubiri, naye mu kisa kya Katonda nga tuli mu nsi n’okusingira ddala gye muli. 13Kubanga tetubawandiikira lwa bintu birala wabula ku ebyo bye musomako era ku ebyo bye mumanyiiko; era nsuubira nga mulibimanyira ddala okutuusa ku nkomerero, 141:14 1Ko 1:8era nga bwe mwamanyako ekitundu nti muli kya kwenyumiriza gye tuli nga naffe bwe tuli eky’okwenyumiriza gye muli ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu. 151:15 a 1Ko 4:19 b Bar 1:11, 13; 15:29Olw’okwekakasa mu ekyo, nateekateeka okujja gye muli edda, mulyoke musanyuke omulundi ogwokubiri, 161:16 1Ko 16:5-7nga mpita gye muli okugenda e Makedoniya, ate n’amadda nga nkomawo, mulyoke munsibirire okulaga e Buyudaaya. 171:17 2Ko 10:2, 3Mulowooza nga nateekateeka bwe ntyo olwokubanga nnekyusiza? Oba nti ntekateeka ebintu nga ngoberera omubiri, nga ŋŋamba nti weewaawo ye weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?

181:18 1Ko 1:9Naye nga Katonda bw’ali omwesigwa ekigambo kyaffe gye muli tekiri weewaawo ate nti si weewaawo. 191:19 Beb 13:8Omwana wa Katonda Yesu Kristo gwe twababuulira, nze ne Sirwano1:19 Sirwano Mu Luyonaani oluusi ayitibwa Siira ne Timoseewo teyali nti weewaawo ne si weewaawo, wabula mu ye mwe muli weewaawo bulijjo. 201:20 a Bar 15:8 b 1Ko 14:16Kubanga nga bwe biri ebisuubizo ebingi ebya Katonda, era mu ye kyetuva tugamba Amiina nga tuyita mu ye, Katonda atenderezebwe mu ffe. 211:21 1Yk 2:20, 27Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda, 221:22 2Ko 5:5era ye oyo eyatussaako akabonero, n’atuwa amazima g’omwoyo mu mitima gyaffe.

231:23 a Bar 1:9; Bag 1:20 b 1Ko 4:21; 2Ko 2:1, 3; 13:2, 10Katonda oyo ye mujulirwa w’emmeeme yange, nga nabasabira ne sijja Kkolinso. 241:24 a 1Pe 5:3 b Bar 11:20; 1Ko 15:1Temusaanye kulowooza nti ffe tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe, mulyoke musanyuke, kubanga okukkiriza kwammwe kwe kubanywezezza.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

哥林多後書 1:1-24

問候

1我是奉上帝旨意作基督耶穌使徒的保羅,與提摩太弟兄寫信給在哥林多的上帝的教會以及亞該亞境內所有的聖徒。

2願我們的父上帝和主耶穌基督賜給你們恩典和平安!

上帝的安慰

3我們主耶穌基督的父上帝當受讚美!祂是仁慈的父和賜一切安慰的上帝。 4我們遭遇任何患難,祂都安慰我們,使我們能夠用祂給我們的安慰去安慰那些在各樣患難中的人。 5正如我們多受基督所受的苦楚,也靠基督多得安慰。 6我們遭受患難,是為了使你們得到安慰和拯救;我們得到安慰,也是為了使你們得到安慰,以便你們能忍受像我們所遭遇的諸般苦難。 7我們對你們堅信不移,因為知道你們既和我們同受患難,也必和我們同得安慰。

8弟兄姊妹,希望你們知道我們在亞細亞所遭遇的苦難。那時我們承受極大的壓力,超過了我們的極限,甚至連活命的指望都沒了。 9我們心裡覺得必死無疑,這使我們不倚靠自己,只倚靠使死人復活的上帝。 10祂曾救我們脫離死亡的威脅,將來還要救我們。我們深信祂必繼續救我們。 11你們也要用祈禱幫助我們,使恩典藉著許多人的禱告臨到我們,眾人便因此而為我們感恩。

保羅改變計劃

12我們感到自豪的是:我們本著上帝所賜的聖潔和誠實為人處世,倚靠祂的恩典,不倚靠人的聰明才智,對待你們更是這樣。這一點,我們的良心可以作證。 13-14我們不寫任何你們讀不懂、不明白的內容。你們現在對我們有幾分認識,但我盼望你們最終完全認識到:當主耶穌再來的日子,你們將以我們為榮,正如我們將以你們為榮一樣。

15我有這樣的把握,所以早就計劃去你們那裡,使你們有兩次蒙福的機會。 16我打算從你們那裡去馬其頓,再從馬其頓回到你們那裡,然後你們為我送行前往猶太17我定了這計劃,難道會反覆無常嗎?難道我是意氣用事,出爾反爾嗎? 18我在信實的上帝面前保證:我們對你們說的話絕不會忽是忽非! 19我和西拉提摩太在你們當中所傳揚的那位上帝的兒子耶穌基督絕不會忽是忽非,在祂只有「是」。 20因為上帝的一切應許在基督裡都是確實的,所以我們也是藉著基督說「阿們1·20 阿們」是「誠然如此」的意思。」,將榮耀歸於上帝。 21是上帝使我們和你們一同在基督裡信心堅固。祂差遣1·21 差遣」希臘文是「膏立」。了我們, 22在我們身上蓋了祂自己的印記,並讓聖靈住在我們心中作擔保。

23我求上帝為我作證:我沒有去哥林多,是為了寬容你們。 24我們並不是要操縱你們的信仰,而是要幫助你們,使你們喜樂,因為你們在信仰上已經站穩了。