1 Samwiri 31 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 31:1-13

Okufa kwa Sawulo

131:1 1Sa 28:4; 1By 10:1-12Mu kiseera kyekimu Abafirisuuti baali balwana ne Isirayiri. Abasajja ba Isirayiri ne badduka Abafirisuuti, bangi ku bo ne battibwa ku Lusozi Girubowa. 2Abafirisuuti ne banyiikira okugoberera Sawulo ne batabani be, era ne batta Yonasaani, ne Abinadaabu ne Malukisuwa. 331:3 2Sa 1:6Olutalo Sawulo ne lumuba bubi, abalasi ab’obusaale ne bamuzingiza era ne bamuleetako ekiwundu kinene.

431:4 a Bal 9:54; 2Sa 1:6, 10 b 1Sa 14:6Awo Sawulo n’agamba eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onfumite, abatali bakomole abo baleme okunkwata ne bambonyaabonya n’okunswaza ne banswaza.” Naye eyasitulanga ebyokulwanyisa bye n’atya era n’agaana okukikola.

Sawulo kyeyava asowola ekitala kye ne yetta. 5Awo eyasitulanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba nga Sawulo afudde, n’asowola ekitala kye naye ne yetta. 6Sawulo bw’atyo, ne batabani be abasatu, n’eyasitulanga ebyokulwanyisa bye ne basajja be bonna ne bafa ku lunaku olwo lwe lumu.

7Awo Abayisirayiri abaali emitala w’ekiwonvu n’abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba ng’eggye lya Isirayiri lidduse nga ne Sawulo ne batabani be abasatu bafudde, ne balekulira ebibuga byabwe ne badduka. Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.

8Enkeera, Abafirisuuti bwe baagenda okwambula emirambo, baasanga Sawulo ne batabani be abasatu bafiiridde ku lusozi Girubowa. 931:9 a 2Sa 1:20 b Bal 16:24Ne batemako omutwe gwe ne bamwambulamu ebyokulwanyisa bye, ne batuma ababaka mu nsi yonna ey’Abafirisuuti okulangirira mu ssabo lyabwe, n’eri abantu baabwe. 1031:10 a Bal 2:12-13; 1Sa 7:3 b Yos 17:11; 2Sa 21:12Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu ssabo lya Baasutoleesi, n’ekiwudduwuddu kye ne bakiwanika ku bbugwe ow’e Besusani.

1131:11 1Sa 11:1Naye abatuuze b’e Yabesugireyaadi bwe baawulira Abafirisuuti kye baali bakoze Sawulo, 1231:12 2Sa 2:4-7; 2By 16:14; Am 6:10abasajja abazira bonna ne bagolokoka, ne batambula ekiro kyonna ne bagenda e Besusani. Ne bawanulayo omulambo gwa Sawulo, n’egya batabani be ku bbugwe ow’e Besusani, ne bagitwala e Yabesi ne bagyokera eyo. 1331:13 2Sa 21:12-14N’oluvannyuma ne baddira amagumba gaabwe ne bagaziika wansi w’omumyulimu e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記上 31:1-13

掃羅之死

1非利士人與以色列人交戰,以色列人敗逃,許多人在基利波山被殺。 2非利士人窮追掃羅及其眾子,殺了掃羅的兒子約拿單亞比拿達麥基舒亞3掃羅周圍戰事激烈,他被弓箭手發現、射成重傷, 4就對為他拿兵器的人說:「拔出你的刀來刺死我吧,免得那些未受割禮的人來刺殺和凌辱我。」但拿兵器的人非常害怕,不敢動手,掃羅就自己伏刀自盡了。 5侍從看見掃羅已死,也伏刀自盡了。 6這樣,掃羅和他三個兒子,以及為他拿兵器的人和他的軍隊都死了。 7平原一帶和約旦河對面的以色列人見以色列軍敗逃、掃羅及其眾子已死,都棄城而逃。於是,非利士人佔據了那些城邑。

8次日,非利士人來剝陣亡者的衣物,發現掃羅和他的三個兒子橫屍基利波山, 9就割下了掃羅的頭顱,剝下他的盔甲,並派人走遍非利士全境,在他們偶像的廟裡及民眾中通告消息。 10非利士人把掃羅的盔甲放在亞斯她錄神廟裡,把他的屍體釘在伯·珊城牆上。 11基列·雅比人聽說非利士人對掃羅的所作所為, 12他們所有的勇士就連夜趕到伯·珊,從牆上取下掃羅和他兒子們的屍體,帶到雅比火化, 13把骨灰葬在雅比的垂絲柳樹下,又為他們禁食了七天。