1 Samwiri 2 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 2:1-36

Okusaba kwa Kaana

12:1 a Luk 1:46-55 b Zab 9:14; 13:5 c Zab 89:17, 24; 92:10; Is 12:2-3Awo Kaana n’asaba mu bigambo bino nti,

“Omutima gwange gusanyukira Mukama;

amaanyi gange geenyumiririza mu Mukama Katonda.

Akamwa kange kasekerera abalabe bange,

kubanga essanyu lyange liri mu bulokozi bwo.”

22:2 a Kuv 15:11; Lv 19:2 b Ma 32:30-31; 2Sa 22:2, 32Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda

tewali mulala wabula ggwe;

tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.

32:3 a Nge 8:13 b 1Sa 16:7; 1Bk 8:39 c Nge 16:2; 24:11-12Toyogera nate nga weewaanawaana

wadde okuleka akamwa ko okwogera eby’amalala,

kubanga Mukama Katonda y’amanyi byonna,

era y’apima ebikolwa.

42:4 Zab 37:15Emitego egy’ab’amaanyi gimenyebbwa

naye abanafu baweereddwa amaanyi.

52:5 Zab 113:9; Yer 15:9Abo abakkutanga, be bapakasa okufuna emmere

naye abo abeetaaga, tebakyalumwa njala.

Eyali omugumba azadde abaana musanvu,

n’oyo alina abaana abangi, asobeddwa.

62:6 a Ma 32:39 b Is 26:19Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu;

atwala emagombe ate n’azuukiza.

72:7 a Ma 8:18 b Yob 5:11; Zab 75:7Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza;

atoowaza ate n’agulumiza.

82:8 a Zab 113:7-8 b Yob 36:7 c Yob 38:4Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu;

asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu y’evvu;

n’abatuuza n’abalangira, era ne basikira entebe ey’ekitiibwa.

Kubanga emisingi gy’ensi gya Mukama Katonda, era okwo kw’atuuzizza ensi.

92:9 a Zab 91:12 b Mat 8:12 c Zab 33:16-17Anaakuumanga ebigere by’abatukuvu be,

naye ababi balisirisibwa mu kizikiza;

kubanga omuntu tawangula lw’amaanyi.

102:10 a Zab 2:9 b Zab 18:13 c Zab 96:13 d Zab 21:1 e Zab 89:24Abalabe ba Mukama Katonda balisaasaanyizibwa;

alibabwatukira ng’asinziira mu ggulu.

Mukama alisalira ensonda ez’ensi omusango;

aliwa kabaka we amaanyi,

era n’agulumiza amaanyi g’oyo gwe yafukako amafuta.

112:11 nny 18; 1Sa 3:1Awo Erukaana n’addayo ewuwe e Lama, naye omwana n’asigala ng’aweereza Mukama Katonda, ng’alabirirwa Eri.

Batabani ba Eri

122:12 Yer 2:8; 9:6Batabani ba Eri baali basajja ba mpisa mbi, nga tebatya Mukama Katonda. 132:13 Lv 7:29-34Omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omuweereza wa kabona yajjanga, ng’akutte ewuuma ey’amannyo asatu ng’ennyama ekyatokosebwa, 14n’asonseka ewuuma mu nsaka oba mu bbinika, oba mu ntamu, oba mu sefuliya, era ebyo byonna ewuuma bye yakwasanga, kabona bye yeetwaliranga. Bwe batyo bwe baakolanga Abayisirayiri bonna abajjanga okusinziza e Siiro. 15Ate amasavu bwe gaabanga tegannayokebwa, omuweereza wa kabona yajjanga n’agamba omuntu awaayo ssaddaaka nti, “Kabona muwe ku nnyama ayokye, kubanga tajja kukkiriza kutwala nnyama nfumbe ayagala mbisi yokka2:15 Etteeka lyaweebwa ng’amasavu n’ennyama ensava byali byakwokeeranga ku kyoto (Lv 3:16; 4:8-10)..”

16Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Leka bamale okwokyako amasavu, olyoke otwale yonna gy’oyagala,” omuweereza yaddangamu nti, “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bwe kitaba bwe kityo, nzija kugitwala lw’amaanyi.”

172:17 Mal 2:7-9Ekibi ky’abavubuka abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga baanyoomanga ekiweebwayo kya Mukama Katonda.

182:18 a nny 11; 1Sa 3:1 b 1Sa 3:28Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama Katonda nga mulenzi muto, eyayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta. 192:19 1Sa 1:3Nnyina n’amukolelanga ekyambalo n’akimutwaliranga, bwe yabanga ayambuse ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka. 202:20 1Sa 1:11, 27-28; Luk 2:34Eri n’awa Erukaana ne mukyala we omukisa, ng’ayogera nti, “Mukama Katonda abawe abaana okudda mu kifo ky’oyo mukazi wo ono gwe yasaba, n’amuwaayo ng’ekirabo eri Mukama.” N’oluvannyuma baddayo eka. 212:21 a Lub 21:1 b nny 26; Bal 13:24; 1Sa 3:19; Luk 2:40Mukama n’aba wa kisa eri Kaana, n’azaala abaana aboobulenzi basatu, n’aboobuwala babiri. Omuvubuka Samwiri n’akulira mu maaso ga Mukama.

222:22 Kuv 38:8Awo Eri eyali akaddiye ennyo, n’awulira ebyo byonna batabani be bye baakolanga Abayisirayiri bonna, ne bwe beetabanga n’abakyala abaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 23N’abagamba nti, “Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? Bye mpulira okuva eri abantu bano bonna nga si birungi. 24Nedda, baana bange; ebigambo bye mpulira ebisaasaana mu bantu ba Mukama si birungi n’akatono. 252:25 a Kbl 15:30; Yos 11:20 b Ma 1:17; 1Sa 3:14; Beb 10:26Omuntu bw’ayonoona eri muntu munne, Katonda2:25 oba abalamuzi ayinza okubatabaganya, naye omuntu bw’ayonoona eri Mukama, ani anaamwegayiririra?” Naye ne batawuliriza bigambo bya kitaabwe, kubanga Mukama yali asazeewo okubazikiriza.

262:26 nny 21; Luk 2:52Awo omuvubuka Samwiri ne yeeyongera okukula, n’aba muganzi eri Mukama n’eri abantu.

Ebyalangibwa ku Nnyumba ya Eri

272:27 Kuv 4:14-16; 1Bk 13:1Awo ne wabaawo omusajja wa Katonda eyajja eri Eri, n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Sseeraga bulungi eri ennyumba ya jjajjaawo mu Misiri bwe baali bafugibwa Falaawo? 282:28 a Kuv 28:1 b Lv 8:7-8Nalonda jjajjaawo okuva mu bika byonna ebya Isirayiri okuba kabona wange, okwambukanga ku kyoto kyange, okwoterezangako obubaane, n’okwambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta mu maaso gange. Era ne mpa ennyumba ya jjajjaawo ebiweebwayo byonna ebyokebwa Abayisirayiri. 292:29 a nny 12-17 b Ma 12:5; Mat 10:37Lwaki munyooma ssaddaaka yange n’ekiweebwayo kyange bye nalagira, okuweebwangayo mu yeekaalu yange? Lwaki ossaamu batabani bo ekitiibwa okunsinga, nga mweddiza ebitundu ebisinga obusava ku buli kiweebwayo abantu bange, Isirayiri, kye bawaayo?’

302:30 a Kuv 29:9 b Zab 50:23; 91:15 c Mal 2:9Mukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga. 312:31 1Sa 4:11-18; 22:16-20Laba ekiseera kijja lwe ndikumalamu amaanyi era n’ennyumba ya jjajjaawo nayo ne ngimalamu amaanyi, waleme okubaawo n’omu aliwangaala okutuuka mu bukadde, 322:32 1Bk 2:26-27; Zek 8:4olyoke olabire ennaku mu nnyumba yange. Newaakubadde Isirayiri erifuna omukisa, tewalibaawo n’omu ku b’omu nnyumba yo aliwangaala n’akaddiwa. 33Omuntu yekka ku bantu bo gwe siizikirize, gwe ndikkiriza okumpeereza ku kyoto kyange, alisigalawo kukulabya nnaku, na kukunakuwaza mu mutima, na kukukaabya maziga; era bazzukulu bo bonna banaafanga nga kyebajje bavubuke.’

342:34 a 1Sa 4:11 b 1Bk 13:3“ ‘Ekirituuka ku batabani bo, Kofuni ne Finekaasi, ke kaliba akabonero gy’oli era bombi balifa ku lunaku lumu. 352:35 a 1Sa 12:3; 1Bk 2:35 b 1Sa 16:13; 2Sa 7:11, 27; 1Bk 11:38Ndyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. Ndinywereza ddala ennyumba ye, era aliweerezanga ennaku zonna mu maaso g’oyo gwe ndifukako amafuta. 362:36 1Bk 2:27Era buli aliba asigaddewo ku b’omu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira ng’amusaba ekitundu kya ffeeza n’omugaati ng’ayogera nti, “Nkwegayiridde nnonda okuba omu ku bakabona, nsobole okufuna ekyokulya.” ’ ”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记上 2:1-36

哈娜的祷告

1哈娜祷告说:

“我的心因耶和华而欢喜,

我的力量因耶和华而倍增,

我的口向敌人夸耀,

我因耶和华的拯救而快乐。

2“耶和华圣洁无比,

独一无二,

没有磐石像我们的上帝。

3不要再骄横傲慢、口出狂言,

因为耶和华鉴察万事,

祂会按着人的行为施行审判。

4勇士的弓被折断,

软弱的变为刚强。

5素来丰衣足食的为糊口而当雇工,

本来食不果腹的却不再挨饿。

不育的妇人现在生了七个孩子,

儿女成群的妇人却子女尽失。

6耶和华掌管生死,

祂使人进入坟墓,也使人起死回生。

7贫穷富足在于祂,

卑微高贵也在于祂。

8祂从灰尘中提拔穷苦的人,

从粪堆里擢升贫贱的人,

使他们与王子同坐,

得享尊荣。

大地的根基属于耶和华,

祂在上面建立了世界。

9祂保护祂的圣民,

使恶人在黑暗中灭亡,

因为得胜不是靠人的勇力。

10跟耶和华对抗的人必被击溃,

祂必从天上用雷击打他。

祂必审判天下,

赐力量给祂所立的君王,

使祂所膏立的人大有权柄。”

11以利加拿返回了拉玛,小撒母耳却留在了示罗,在祭司以利的带领下事奉耶和华。

以利的恶子

12以利的两个儿子为人邪恶,不敬畏耶和华, 13对民众不守自己做祭司的职分。每当民众来献祭,还在煮祭肉的时候,他们的仆人便拿着三齿叉来, 14从罐里、鼎里、釜里或锅里插肉,把插上来的祭肉据为己有。他们这样对待所有到示罗来的以色列人。 15甚至在焚烧脂肪之前,祭司的仆人就来对献祭的人说:“把肉给祭司烤吧!他不要煮过的,只要生的。” 16如果献祭的人答道:“要先焚烧脂肪,之后你可以随便拿。”仆人便会说:“不,你现在就给我,不然我就要抢了。” 17在耶和华的眼中,这两个青年罪恶深重,因为他们轻视献给耶和华的祭物。

18那时年少的撒母耳穿着细麻布的以弗得,在耶和华面前事奉。 19他母亲每年都为他缝一件小外衣,在她和丈夫来献年祭时带给他。 20以利祝福以利加拿和他妻子,对他说:“愿耶和华让你妻子再给你生儿育女,代替她求来并献给耶和华的孩子。”他们就回家去了。 21耶和华眷顾哈娜,她又生了三个儿子和两个女儿。年少的撒母耳在耶和华面前渐渐长大。

22以利年事已高,他听说两个儿子对待以色列人的恶行,以及他们与在会幕门口供职的妇女行淫的事后, 23就对他们说:“你们为什么做这样的事?我从百姓口中听说了有关你们的恶行。 24我儿啊,不可这样,我听到在耶和华的子民中流传着你们的坏名声。 25人若得罪了别人,有上帝为他们调解。但人若得罪了耶和华,谁能为他调解呢?”然而,他们不肯听从父亲的话,因为耶和华决意要杀他们。

26撒母耳渐渐长大,深受耶和华和民众的喜爱。

预言以利家的遭祸

27有一个上帝的仆人来见以利,对他说:“耶和华说,‘你的祖先在埃及被法老奴役的时候,我向他们显现。 28我在以色列各支派中选出你的先祖做我的祭司,在我的祭坛上献祭烧香,穿着以弗得事奉我。我把以色列人献的火祭都赐给你先祖家。 29你们为什么蔑视献给我的祭物和供品?你为什么把你的儿子看得比我还重要,拿我以色列子民所献的上好祭物来养肥自己?’

30“所以,以色列的上帝耶和华宣告说,‘我曾经应许让你们家族永远做我的祭司。’但现在耶和华宣布,‘这绝不可能了。尊重我的,我必尊重他;藐视我的,必遭藐视。 31看啊,时候将到,我要终结你和你家族的力量,你们家族必没有一个老人。 32你必以羡慕的眼光看着我赐福以色列人,你家中却永远没有一个老人。 33我不会把你家中的人从我坛前灭绝,但留下来的人必使你哭瞎双眼、伤心欲绝。你的子孙必中年夭亡。 34你的两个儿子何弗尼非尼哈必死在同一天,这就是我言出必行的记号。 35我要为自己立一位忠心的祭司,他必照我的心意行事。我要赐福给他的后代,他必永远服侍我膏立的王。 36那时,你家存留下来的人要在他面前下拜,乞讨银子和饼,并恳求说,请给我一个祭司的职位以便糊口!’”