1 Peetero 3 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Peetero 3:1-22

Abakyala ne ba bbaabwe

13:1 a 1Pe 2:18 b Bef 5:22 c 1Ko 7:16; 9:19Abakazi abafumbo, mu ngeri y’emu muwulirenga babbammwe, bwe waba nga waliwo abatagondera kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw’empisa zammwe ennungi ne bwe muba nga temuliiko kye mubagambye. 2Kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennungi nga mubassaamu ekitiibwa. 33:3 Is 3:18-23; 1Ti 2:9Okweyonja kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu: nga mu misono gy’enviiri n’egy’amajjolobera ag’ebyo ebyambalwa mu bulago ne ku matu, n’egy’ebyambalo. 43:4 Bar 7:22Naye kube kwa mu mutima munda; okweyonja okutayonooneka okw’omwoyo omuwombeefu era omuteefu, era okwo kwe kw’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda. 53:5 1Ti 5:5Kubanga n’abakazi ab’edda abatukuvu abaasuubiriranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga era nga bawulize eri ba bbaabwe. 63:6 Lub 18:12Saala bw’atyo bwe yali; yawuliranga nnyo Ibulayimu, ng’amussaamu ekitiibwa ng’amuyita mukama we. Kale obanga mwagala okuba bawala ba Saala, mubenga ba mpisa nnungi, olwo tewaabengawo kibatiisa kyonna.

73:7 Bef 5:25-33Nammwe abasajja abafumbo, mutegeere nga bakazi bammwe banafu, noolwekyo mubakwatenga n’obwegendereza. Era mubassengamu ekitiibwa nga mumanyi nga nabo Katonda alibaweera wamu nammwe, obulamu obutaggwaawo. Bwe munaakolanga bwe mutyo okusaba kwammwe tekuziyizibwenga.

Okubonyaabonyezebwa olw’Okukola Ebituufu

83:8 a Bar 12:10 b 1Pe 5:5Eky’enkomerero, mwenna mubenga n’emmeeme emu, buli omu alumirirwenga munne, era mwagalanenga ng’abooluganda ddala, mubenga ba kisa era beetoowaze. 93:9 a Bar 12:17 b 1Pe 2:23 c 1Pe 2:21 d Beb 6:14Temuwooleranga ggwanga. Abavumye, mmwe temumuvumanga. Wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke muweebwe omukisa. 10Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,

“Ayagala okufuna obulamu n’okubeera mu ddembe,

aziyizenga olulimi lwe okwogera ekibi,

n’emimwa gye

okwogera ebyobukuusa.

11Era yeewalenga okukola ebibi, akolenga ebirungi.

Anoonyenga emirembe era atambulirenga mu gyo.

123:12 Zab 34:12-16Kubanga abatuukirivu Mukama abatunuulira n’ekisa,

n’amatu ge gawuliriza bye basaba.

Kyokka aboonoonyi abatunuuliza bukambwe.”

133:13 Nge 16:7Bwe munaafubanga okukola ekituufu, ani anaabakolanga akabi? 143:14 a 1Pe 2:19, 20 b Is 8:12, 13Naye era ne bwe munaabonyaabonyezebwanga olw’obutuukirivu, mulina omukisa. “Temutya bye batya; temutekemuka.” 153:15 Bak 4:6Mutyenga Mukama waffe Kristo mu mitima gyammwe. Era bulijjo mubenga beetegefu okuddamu buli ababuuza okunnyonnyola essuubi lyammwe, 163:16 a Beb 13:18 b 1Pe 2:12, 15era muddengamu n’obuwombeefu, awamu n’eggonjebwa. Mubenga ba mutima mulungi, abo ababavuma era ababoogerako ekibi olw’empisa zammwe ennungi olw’okuba nga muli ba Kristo, balyoke baswale. 173:17 a 1Pe 2:15 b 1Pe 2:20Okubonyaabonyezebwanga olw’okukola obulungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, kusinga okubonyaabonyezebwa olw’okukola ekibi. 183:18 a 1Pe 2:21 b Bak 1:22; 1Pe 4:1 c 1Pe 4:6Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olw’ebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lw’abatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka n’abeera mulamu mu mwoyo. 193:19 1Pe 4:6Era omwoyo gwe, gwe gwagenda okubuulira Enjiri emyoyo egyali mu kkomera. 203:20 a Lub 6:3, 5, 13, 14 b Beb 11:7Egyo gy’emyoyo egy’abo edda abaagaana okuwulira Katonda ng’akyabagumiikiriza, mu kiseera Nuuwa kye yazimbiramu eryato, abantu abatono, omunaana gwokka, mwe baawonyezebwa amazzi. 213:21 a Tit 3:5 b 1Pe 1:3Amazzi ago gaali kabonero ak’okubatizibwa mulyoke mulokolebwe kaakano. Kubanga okubatizibwa tekitegeeza kunaazibwako kko lya mubiri, wabula kitegeeza kwewaayo eri Katonda nga tumaliridde okukola by’ayagala, ng’atuwadde omutima omulongoofu olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo, 223:22 a Mak 16:19 b Bar 8:38eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’afuga bamalayika n’aboobuyinza, n’abaamaanyi ab’omu ggulu.