1 Ebyomumirembe 20 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 20:1-8

Labba Kiwambibwa

120:1 a Ma 3:11; 2Sa 12:26 b Am 1:13-15Awo mu biro, bakabaka mwe bagenderanga okulwana, Yowaabu n’akulembera eggye, n’azisa ensi y’abaana ba Amoni, ate era n’azingiza Labba. Naye Dawudi ye n’asigala mu Yerusaalemi, Yowaabu ye n’alumba Labba, n’akizikiriza. 2Awo Dawudi n’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agitikka ku mutwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga ekyo. 320:3 Ma 29:11Yatwala abantu abaali mu kibuga ekyo n’abawa emirimu nga bakozesa n’emisumeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi. Bw’atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni, oluvannyuma ye n’eggye lye lyonna ne baddayo e Yerusaalemi.

420:4 a Yos 10:33 b Lub 14:5Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebyo ne wabalukawo entalo n’Abafirisuuti e Gezeri. Mu kiseera ekyo Sibbekayi Omukusasi n’atta Sippayi omu ku bazzukulu b’agasajja aganene ddala, era ne bawangula Abafirisuuti.

520:5 1Sa 17:7Mu lutalo olulala n’Abafirisuuti, Erukanani mutabani wa Yayiri n’atta Lakani muganda wa Goliyaasi Omugitti, eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.

6Mu lutalo olulala olwali e Gaasi, waaliwo omusajja omuwanvu ennyo eyali omu ku bazzukulu b’agasajja aganene, ng’alina engalo mukaaga ku buli mukono, n’obugere mukaaga ku buli kigere. 7Yasoomooza nnyo Isirayiri, era Yonasaani mutabani wa Simeeyi, muganda wa Dawudi n’amutta.

8Abo bonna baali bazzukulu ba lisajja Laafa ow’e Gaasi, era bonna ne bagwa mu mikono gya Dawudi n’abasajja be.