1 Ebyomumirembe 2 – LCB & OL

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 2:1-55

Abaana ba Isirayiri

1Bano be baali batabani ba Isirayiri:

Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni, 2ne Ddaani, ne Yusufu, ne Benyamini, ne Nafutaali, ne Gaadi ne Aseri.

32:3 a Lub 29:35; 38:2-10 b Lub 38:5 c Lub 38:2 d Kbl 26:19Batabani ba Yuda baali

Eri, ne Onani ne Seera, era nnyabwe ye yali Basusuwa Omukanani.

Eri, eyali mutabani wa Yuda omukulu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, era Mukama n’amutta.

42:4 a Lub 11:31 b Lub 38:11-30 c Lub 38:29Tamali muka mwana wa Yuda, n’azaalira Yuda Pereezi, ne Zeera.

Batabani ba Yuda bonna awamu baali bataano.

52:5 a Lub 46:12 b Kbl 26:21Batabani ba Perezi baali

Kezulooni ne Kamuli.

6Batabani ba Zeera baali

Zimuli, ne Esani, ne Kemani, ne Kalukoli, ne Dala, bonna awamu bataano.

72:7 a Yos 7:1 b Yos 6:18Mutabani wa Kalumi ye yali

Akali, eyaleetera Isirayiri emitawaana kubanga yayonoona mu ebyo ebyawongebwa.

8Mutabani wa Esani ye yali

Azaliya.

92:9 Kbl 26:21Batabani ba Kezulooni baali

Yerameeri, ne Laamu ne Kerubayi.

102:10 a Luk 3:32-33 b Kuv 6:23 c Kbl 1:7Laamu n’azaala Amminadaabu,

Amminadaabu n’aba kitaawe n’azaala Nakusoni, eyali omukulu w’ekika kya Yuda.

11Nakusoni n’azaala Saluma,

ne Saluma n’azaala Bowaazi,

122:12 a Lus 2:1 b Lus 4:17Bowaazi ye n’azaala Obedi ate Obedi n’azaala Yese.

132:13 a Lus 4:17 b 1Sa 16:6Yese n’azaala

Eriyaabu, eyali mutabani we omukulu; Abinadaabu nga ye wookubiri,

Simeeyi nga ye wookusatu, 14Nesaneeri nga ye wookuna,

Laddayi nga ye wookutaano, 15Ozemu n’aba ow’omukaaga,

Dawudi nga ye wa musanvu.

162:16 a 1Sa 26:6 b 2Sa 2:18 c 2Sa 2:13Bannyinaabwe be baali Zeruyiya ne Abbigayiri.

Batabani ba Zeruyiya baali basatu nga be ba Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri.

172:17 2Sa 17:25Abbigayiri yali nnyina wa Amasa, ne Amasa n’azaala Yeseri Omuyisimayiri.

18Kalebu mutabani wa Kezulooni n’azaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi.

Yeseri, ne Sobabu, ne Aludoni be baali abaana ba Azuba.

192:19 nny 42, 50Azuba bwe yafa, Kalebu n’awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.

202:20 Kuv 31:2Kuuli n’azaala Uli, Uli n’azaala Bezaleeri.

212:21 Kbl 27:1Oluvannyuma Kezulooni, ne yeebaka ne muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi, gwe yali afumbiddwa nga wa myaka nkaaga, n’amuzaalira Segubu.

22Segubu n’azaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi.

232:23 a Kbl 32:41; Ma 3:14; Yos 13:30 b Kbl 32:42Naye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi n’ebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga.

Abo bonna be baali abazzukulu ba Makiri, kitaawe wa Gireyaadi.

242:24 1By 4:5Kezulooni ng’amaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, n’amuzaalira Asukuli, n’azaala Tekowa.

25Yerumeeri mutabani wa Kezulooni omukulu yalina batabani be bataano nga be ba

Laamu, mutabani we omukulu, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu ne Akiya. 26Wabula Yerumeeri yalina omukyala omulala ng’erinnya lye ye Atala, era oyo yali nnyina Onamu.

27Batabani ba Laamu mutabani omukulu owa Yerameeri baali

Maazi, ne Yamuni ne Ekeri.

28Batabani ba Onamu be baali

Sammayi ne Yada,

ate batabani ba Sammayi nga be ba

Nadabu ne Abisuli.

29Abisuli yalina omukyala erinnya lye Abikayiri, era n’amuzaalira Abani ne Molidi.

30Batabani ba Nadabu be baali

Seredi ne Appayimu, naye Seredi n’afa nga tazadde mwana.

31Mutabani wa Appayimu yali

Isi, ate nga Isi ye kitaawe wa Akulayi.

32Batabani ba Yada muganda we Sammayi be baali

Yeseri ne Yonasaani, naye Yeseri n’afa nga tazadde mwana.

33Batabani ba Yonasaani be baali

Peresi ne Zaza.

Abo bonna be baali bazzukulu ba Yerameeri.

34Sesani ye yalina baana ba buwala bokka,

ng’alina n’omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala. 35Sesani n’awaayo omu ku bawala be okufuumbirwa omuddu we Yala, era omuwala n’azaala Attayi.

362:36 1By 11:41Attayi n’azaala Nasani,

ne Nasani n’azaala Zabadi.

37Zabadi n’azaala Efulali,

ne Efulali n’azaala Obedi.

38Obedi n’azaala Yeeku,

ne Yeeku n’azaala Azaliya.

39Azaliya n’azaala Kerezi,

ne Kerezi n’azaala Ereyaasa.

40Ereyaasa n’azaala Sisumaayi,

ne Sisumaayi n’azaala Sallumu.

41Sallumu n’azaala Yekamiya,

ne Yekamiya n’azaala Erisaama.

422:42 nny 19Omwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri,

ye yali Mesa, ate Mesa n’azaala Zifu.

Zifu n’azaala Malesa, Malesa n’azaala Kebbulooni.

43Batabani ba Kebbulooni baali

Koola, ne Tappua, ne Lekemu, ne Sema.

44Sema n’azaala Lakamu,

ne Lakamu n’azaala Yolukeyaamu.

Lekemu n’azaala Sammayi.

452:45 a Yos 15:55 b Yos 15:58Mutabani wa Sammayi n’azaala Manoni,

ne Mawoni n’azaala Besuzuli.

46Efa omukazi omulala owa Kalebu yamuzaalira

Kalani, ne Moza ne Gazezi.

Ate Kalani n’azaala omulenzi gwe yatuuma Gazezi.

47Batabani ba Yadayi baali

Legemu, ne Yosamu, ne Gesani, ne Pereti, ne Efa ne Saafu.

48Ate era Kalebu yalina omukazi omulala, Maaka eyamuzaalira

Seberi ne Tirukaana.

492:49 a Yos 15:31 b Yos 15:16Mukazi we oyo yazaalayo n’omwana omulala erinnya lye Saafu, eyazaala Madumanna.

Seva n’azaala Makubena ne Gibea.

Muwala wa Kalebu ye yali Akusa.

502:50 a 1By 4:4 b nny 19Abo be baali bazzukulu ba Kalebu.

Batabani ba Kuuli baali Efulaasa omuggulanda,

Sobali n’azaala Kiriyasuyalimu, 51Saluma n’azaala Besirekemu, ne Kalefu n’azaala Besugaderi.

52Sabali eyazaala Kiriyasuyalimu, yalina abaana abalala nga be ba

Kalowe, ne kimu kyakubiri eky’Abamenukosi, 532:53 2Sa 23:38n’ebika ebya Kiriyasuyalimu nga be ba Abayisuli, n’Abapusi, n’Abasumasi, n’Abamisulayi. Muno mwe mwasibuka Abazolasi n’Abayesutawooli.

542:54 Ezr 2:22; Nek 7:26; 12:28Batabani ba Saluma baali

Besirekemu, n’Abanetufa, Atulosubesuyowabu, ne kimu kyakubiri eky’Abamanakasi, Abazooli, 552:55 a Lub 15:19; Bal 1:16; 4:11 b Yos 19:35 c 2Bk 10:15, 23; Yer 35:2-19n’ebika by’abawandiisi b’amateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be b’Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu.

O Livro

1 Crónicas 2:1-55

A descendência de Israel

(Gn 35.22-26)

1Os filhos de Israel foram: Rúben, Simeão, Levi, Judá, Issacar, Zebulão, 2Dan, José, Benjamim, Naftali, Gad e Aser.

A descendência de Judá

(Rt 4.18-19)

3Judá teve três filhos da filha de Suá, a cananeia:

Er, Onã e Sela. Mas Er, o mais velho, fez o que era mau aos olhos do Senhor, pelo que lhe tirou a vida.

4Então a viúva de Er, Tamar, e o seu sogro Judá foram pais de dois gémeos: Perez e Zera. Portanto, os filhos de Judá acabaram por ser cinco.

5Os filhos de Perez foram:

Hezrom e Hamul.

6Os filhos de Zera foram:

Zimri, Etã, Hemã, Calcol e Dara.

7Acã, filho de Carmi, foi o homem que roubou a Deus, trazendo grande perturbação ao povo de Israel. 8Etã teve um filho: Azarias.

9Os filhos de Hezrom foram:

Jerameel, Rão e Quelubai.

A descendência de Rão

(Rt 4.19-22)

10Rão foi pai de Aminadabe e este foi pai de Nassom, líder de Israel.

11Nassom gerou Salmom, o qual foi pai de Boaz.

12Este foi pai de Obede e Obede de Jessé.

13Jessé teve como primogénito Eliabe e depois Abinadabe, Simeia, 14Netanel, Radai, 15Ozem e David.

16Teve também duas irmãs que se chamavam Zeruía e Abigail.

Zeruía teve os seguintes filhos: Abisai, Joabe e Asael.

17Abigail, que casou com Jéter, originário da terra de Ismael, teve um filho chamado Amasa.

18Calebe, filho de Hezrom, teve duas mulheres: Azuba e Jeriote. Os filhos de Azuba foram:

Jeser, Sobabe, Ardom.

19Após a morte de Azuba, Calebe casou-se com Efrata, que lhe deu um filho: Hur.

20Hur teve um filho a quem chamou Uri e o filho deste último foi Bezalel.

21Hezrom casou-se com a filha de Maquir, tendo ele a idade de 60 anos, e ela deu-lhe um filho que tinha o nome de Segube. Maquir foi também o pai de Gileade.

22Segube foi pai de Jair, que governou sobre vinte e três povoações na terra de Gileade.

23Gesur e Aram tomaram-lhe essas localidades e ainda Quenate, mais as sessenta povoações ao redor.

24Depois que Hezrom morreu em Calebe-Efrata, Abias, mulher de Hezrom, deu-lhe Acheúr, fundador de Tecoa.

25São estes os filhos de Jerameel, o filho mais velho de Hezrom:

Rão, o primogénito, Buna, Orem, Ozem, Aías. 26Atara, a segunda mulher de Jerameel, foi mãe de Onã.

27Os filhos de Rão foram: Maaz, Jamim e Equer.

28Os filhos de Onã: Samai e Jada.

Samai teve: Nadabe e Abisur. 29Os filhos de Abisur e de sua mulher Abiail foram:

Abã e Molide.

30Os filhos de Nadabe foram:

Selede e Apaim. Selede faleceu sem ter filhos.

31Apaim teve um filho chamado Isi;

Sesã foi filho de Isi; e Alai foi filho de Sesã.

32Jada, irmão de Samai, teve dois filhos:

Jeter e Jónatas. Jeter faleceu sem filhos.

33Jónatas teve dois filhos chamados Pelete e Zaza.

34-36Sesã não teve filhos, ainda que tivesse tido várias filhas. Uma delas tornou-se mulher de Jará, o seu servo egípcio. Tiveram um filho a quem chamaram Atai.

O filho deste último chamou-se Natã, o qual gerou Zabade.

37Este gerou Eflal, que por sua vez foi pai de Obede.

38O filho de Obede chamou-se Jeú e Jeú foi pai de Azarias.

39Azarias gerou Helez; o filho de Helez chamou-se Elasá.

40Elasá foi pai de Sismai; Sismai foi pai de Salum.

41Salum foi pai de Jecamias e Jecamias de Elisama.

A descendência de Calebe

42O filho mais velho de Calebe, irmão de Jerameel, foi Messa; este foi pai de Zife, o qual gerou Maressa, o pai de Hebrom.

43Foram os seguintes os descendentes de Hebrom:

Coré, Tapua, Requem e Sema.

44Sema foi pai de Raão e avô de Jorqueão.

Requem foi pai de Samai.

45Samai teve um filho chamado Maom, o qual foi pai de Bete-Zur.

46Efá, a concubina de Calebe, gerou-lhe Harã, Moza e Gazez;

Harã teve um filho chamado Gazez.

47Os descendentes de Jadai foram:

Regem, Jotão, Gesã, Pelete, Efá e Saafe.

48Outra das concubinas de Calebe, Maacá, gerou-lhe Seber, Tiraná, 49Saafe, que foi pai de Madmana, e Seva, pai de Macbena e de Gibeá.

Calebe teve também uma filha que se chamou Acsa.

50Os filhos de Hur, que foi o filho mais velho de Calebe e Efrata, foram:

Sobal, que foi pai de Quiriate-Jearim; 51Salma, pai de Belém, e Harefe, pai de Bete-Gader.

52Os filhos de Sobal incluíram Quiriate-Jearim e Haroé, o antepassado de metade da tribo de Manaate. 53As famílias de Quiriate-Jearim foram os itreus, os puteus, os sumateus e os misraeus, de quem descendem os zorateus e os estaoleus.

54Os descendentes de Salma foram o seu filho Belém, os netofatitas, Atarote-Bete-Joabe, metade dos manaatitas e os zoritas. 55Incluíam igualmente as famílias dos escribas que viviam em Jabez, os tiratitas, os simeatitas e os sucatitas; todos estes são queneus que descenderam de Hamate, o pai da família de Recabe.