1 Ebyomumirembe 18 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 18:1-17

Obuwanguzi bwa Dawudi

1Awo oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, era n’awamba ne Gaasi n’ebyalo ebyali bikyetoolodde okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. 218:2 Kbl 21:29Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, ne bafuuka baddu be, ne bamuwanga obusuulu. 318:3 a 1By 19:6 b Lub 2:14Ate era Dawudi yalwanagana ne Kadalezeri kabaka w’e Zoba okutuukira ddala e Kamasi, bwe yali ng’anyweza okufuga kwe ku nsalo ey’Omugga Fulaati. 418:4 Lub 49:6Dawudi n’amuwambako amagaali lukumi, n’abeebagala embalaasi abasajja kasanvu, n’abasajja abeebigere emitwalo ebiri. Embalaasi endala zonna ez’amagaali n’azitema enteega, ne yeerekerawo kikumi.

518:5 2Bk 16:9; 1By 19:6Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w’e Zoba, Dawudi n’abattamu abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri. 6N’ateeka olusiisira lw’eggye lye mu Busuuli e Ddamasiko, era Abasuuli baafuuka baweereza be, ne bamutonera ebirabo. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yatabaalanga.

7Dawudi n’atwala engabo eza zaabu abaserikale ba Kadalezeri ze baasitulanga, n’azireeta e Yerusaalemi. 818:8 1Bk 7:23; 2By 4:12, 15-16Mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri n’aggyayo ebikomo bingi nnyo, era ebyo Sulemaani bye yakolamu ennyanja ey’ekikomo, n’empagi, n’ebintu eby’ebikomo ebirala. 9Awo kabaka Toowu ow’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri, kabaka w’e Zoba 10n’atuma mutabani we Kadolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri, kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toowu. Kadolaamu yaleeta zaabu, n’effeeza, n’ebikomo, nga bya ngeri za ngyawulo.

1118:11 a Kbl 24:18 b Kbl 24:20Ebintu byonna ebyaleetebwa, kabaka Dawudi yabiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu gye yawamba ku mawanga amalala nga Edomu ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti, ne Amaleki. 1218:12 1Bk 11:15Ye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya yattira abasajja ba Edomu omutwalo gumu mu kanaana mu Kiwonvu eky’Omunnyo. 13Era yateeka olusiisira lw’abaserikale mu Edomu, era aba Edomu bonna ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi mu bifo byonna gye yatabaalanga.

1418:14 a 1By 29:26 b 1By 11:1Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, mu bwenkanya ne mu butuukirivu abantu be bonna.

1518:15 2Sa 5:6-8; 1By 11:6Yowaabu mutabani wa Seruyiya ye yali omuduumizi w’eggye;

Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza;

1618:16 a 2Sa 8:17; 1By 6:8 b 1By 24:6Zadooki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona;

Savusa ye yali muwandiisi;

1718:17 1Sa 30:14; 2Sa 8:18; 15:18Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yakuliranga Abakeresi n’Abaperesi;

ate batabani ba Dawudi baali bakungu bakulu ddala era nga babeera ku lusegere lwa kabaka.