1 Ebyomumirembe 17 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 17:1-27

Okusuubiza kwa Mukama eri Dawudi

117:1 1By 15:1Awo Dawudi ng’amaze okukkalira mu nnyumba ye mu lubiri, n’agamba nnabbi Nasani nti, “Teebereza, nze mbeera mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye nga essanduuko ey’endagaano ya Mukama ebeera mu weema.”

217:2 2By 6:7Nasani n’addamu Dawudi nti, “Ky’olowooza kyonna mu mutima gwo kikole, kubanga Katonda ali wamu naawe.” 3Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,

417:4 1By 28:3“Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti si gwe ojja okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga. 5Sibeeranga mu nnyumba kasookedde nzija Isirayiri mu Misiri, okutuusa ku lunaku lwa leero. Nvudde mu weema emu ne nzira mu ndala, ne nva mu kifo ekimu ne nzira mu kirala. 6Mu bifo byonna bye ntambuddemu ne Isirayiri yenna, nnina kye nnali ŋŋambye omulamuzi wa Isirayiri, kw’abo be nalagira okukulembera abantu bange nti, “Kiki ekibalobedde, okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’ 

717:7 2Sa 6:21“Kaakano nno tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, nakuggya ku ttale ng’olunda ndiga, ne nkufuula omukulembeze ow’abantu bange Isirayiri. 8Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja abamanyiddwa mu nsi. 9Era abantu bange Isirayiri ndibawa ekifo, kibeere ekifo kyabwe eky’olubeerera, nga tebatawanyizibwa, n’abantu ababi tebalibacocca, nga bwe baakolanga olubereberye, 1017:10 Bal 2:16era nga bwe bakola kati kasookedde nnonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi eri abalabe bo bonna.

“ ‘Nkirangirira gy’oli kaakano nti Mukama alikuzimbira ennyumba: 11Ennaku zo bwe zirituuka, era n’ogenda okubeera ne bajjajjaabo, ndiyimusa ezzadde lyo okuba obusika bwo, omu ku batabani bo ddala, era ndinyweza obwakabaka bwe. 1217:12 a 1Bk 5:5 b 2By 7:18Oyo y’alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwe emirembe gyonna. 1317:13 a 2Ko 6:18 b Luk 1:32; Beb 1:5*Ndiba kitaawe, naye aliba mwana wange, era sirimukyawa, nga bwe nakyawa oyo eyakusooka. 1417:14 a 1Bk 2:12; 1By 28:5 b Zab 132:11; Yer 33:17Ye y’aliba omukulu mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe gyonna, era entebe ye ey’obwakabaka eribeerera emirembe gyonna.’ ”

15Awo Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa okwo.

Esaala ya Dawudi

16Awo Kabaka Dawudi n’agenda n’atuula mu maaso ga Mukama n’ayogera nti,

“Nze ani, Ayi Mukama Katonda, era ennyumba yange kye ki, gwe okuntuusa wano? 17Kino tekyali kitono mu maaso go, okwogera ku bigenda okuba ku nnyumba ey’omuddu wo, n’ontunuulira ng’omu ku basajja abasingirayo ddala ekitiibwa, Ayi Mukama Katonda.

18“Dawudi ayinza kwongerako ki ku ebyo okumuwa ekitiibwa bwe kityo, kubanga ggwe omanyi omuddu wo. 1917:19 a 2Sa 7:16-17; 2Bk 20:6; Is 9:7; 37:35; 55:3 b 2Sa 7:25Olw’omuddu wo Ayi Mukama Katonda, n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, era n’osuubiza ebintu ebyo byonna ebikulu bwe bityo.

2017:20 Kuv 8:10; 9:14; 15:11; Is 44:6; 46:9“Tewaliwo akufaanana, Ayi Mukama, era tewali Katonda mulala wabula ggwe, okusinziira ku bye twewuliridde n’amatu gaffe. 2117:21 Kuv 6:6Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye wanunula ggwe kennyini, ne weekolera erinnya, era n’okola ebikolwa eby’amaanyi, n’ebyewunyisa bwe wagoba amawanga okuva mu maaso g’abantu bo, be wanunula okuva mu Misiri? 2217:22 Kuv 19:5-6Abantu bo Abayisirayiri wabafuulira ddala babo emirembe gyonna, era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe.

2317:23 1Bk 8:25“Kaakano, Ayi Mukama Katonda, kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye kinywezebwe emirembe gyonna. 24Kola nga bwe wasuubiza, erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, Mukama ow’Eggye, Katonda afuga Isirayiri, ye Katonda wa Isirayiri! Era ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.

25“Ayi Katonda wange, wakibikulidde omuddu wo nti olimuzimbira ennyumba, era omuddu wo kyavudde ajja okukwebaza. 26Ggwe Ayi Mukama oli Katonda, era osuubizza omuddu wo ebirungi ebyo. 2717:27 Zab 16:11; 21:6Kaakano osiimye okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa, ebeerewo emirembe gyonna mu maaso go kubanga, ggwe Ayi Mukama Katonda ogiwadde omukisa, era egya kuba ya mukisa emirembe gyonna.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志上 17:1-27

上帝对大卫的应许

1大卫住进宫殿后,对拿单先知说:“你看,我住在香柏木建的王宫中,耶和华的约柜却在帐篷里。” 2拿单大卫说:“你有什么想法,就去做吧!因为上帝与你同在。”

3当晚,上帝对拿单说: 4“你去告诉我的仆人大卫,‘耶和华说,你不是为我建造殿宇的人。’ 5从我把以色列人带出埃及那天起直到今天,我从未住过殿宇,都住在四处迁移的帐篷里。 6在我与以色列人同行的日子,我从未责问任何我委派牧养我子民的士师,‘你为何不为我建造香柏木的殿宇呢?’

7“现在你要告诉我的仆人大卫,‘万军之耶和华说,你原本在草场牧羊,我召你来做我以色列子民的首领。 8无论你去哪里,我都与你同在,为你铲除所有仇敌。现在我要使你声名远播,与世上的伟人齐名。 9-10我必为我的以色列子民预备一个地方,栽培他们,使他们住在自己的家园,不再受惊扰,不会像从前我设立士师治理他们的时候那样受恶人压迫。我必制服你所有的仇敌,我耶和华向你宣告,我必建立你的王朝。 11你离世归到祖先那里的时候,我必使你的一位后裔继承你的王位,使他的国坚立。 12他要为我建造殿宇,我必使他王位永固。 13我要做他的父亲,他要做我的儿子。我的慈爱曾离开在你之前的扫罗王,但我的慈爱必不离开他。 14我要使他永远治理我的家和我的国。他的王位必永远稳固。’” 15拿单就把所听到的启示全部告诉大卫

大卫的祷告

16于是,大卫王走进会幕,在耶和华面前坐下,说:“耶和华上帝啊,我是谁?我的家算什么?你竟如此厚待我。 17上帝啊,不止如此,你还应许将来要恩待仆人的后裔。耶和华上帝啊,你视我为尊贵的人。 18你将尊荣加于仆人,我还能说什么?因为你了解仆人。 19耶和华啊,你按照自己的心意为仆人成就这大事,并显明出来。 20耶和华啊,我们从未听过有谁能与你相比,你是独一无二的上帝。 21世上有谁能与你的以色列子民相比?你从埃及救赎他们,让他们做你的子民,为他们驱逐外族人、行伟大奇妙的事,使自己声名远播。 22你让以色列人永远做你的子民,你耶和华做他们的上帝。

23“耶和华啊,愿你永远信守你对仆人和仆人家的应许,愿你成就自己的应许。 24这样,你的名必永远坚立,被尊崇,人们必说,‘以色列的上帝——万军之耶和华是以色列的上帝’,你仆人大卫的家必在你面前坚立。 25我的上帝啊,因为你曾启示仆人,说要为仆人建立王朝,仆人才敢这样向你祈求。 26耶和华啊,唯独你是上帝,你应许要将这福气赐给仆人。 27愿你赐福仆人的王朝,使它在你面前永远坚立。耶和华啊,你已赐下祝福,你的祝福是永远的!”