1 Ebyomumirembe 16 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 16:1-43

116:1 1By 15:1Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda. 216:2 Kuv 39:43Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama, 3era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.

416:4 1By 15:2Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri. 5Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa. 6Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.

Zabbuli ya Dawudi ey’Okwebaza

716:7 2Sa 23:1Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:

816:8 a nny 34; Zab 136:1 b 2Bk 19:19Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye,

mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.

916:9 Kuv 15:1Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza

mwogere ku byamagero bye byonna.

10Erinnya lye ligulumizibwe,

n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke.

1116:11 1By 28:9; 2By 7:14; Zab 24:6; 119:2, 58Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;

munoonye amaaso ge ennaku zonna.

1216:12 a Zab 77:11 b Zab 78:43Mujjukire ebyewuunyo by’akoze,

n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira,

13mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be,

mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.

1416:14 Is 26:9Ye Mukama Katonda waffe;

okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna.

15Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,

n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,

1616:16 Lub 12:7; 15:18; 17:2; 22:16-18; 26:3; 28:13; 35:11gye yakola ne Ibulayimu,

era n’agirayiza Isaaka.

1716:17 Lub 35:9-12N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo,

n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera,

1816:18 Lub 13:14-17ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”

1916:19 Lub 34:30; Ma 7:7Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono,

era omutono ddala, nga batambuze mu yo,

20baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala,

n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.

2116:21 Lub 12:17; 20:3; Kuv 7:15-18Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza;

weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:

2216:22 Lub 20:7ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,

so bannabbi bange temubakolanga akabi.”

23Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna;

mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.

24Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,

n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.

2516:25 a Zab 48:1 b Zab 76:7; 89:7 c Ma 32:39Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa;

era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.

2616:26 Lv 19:4; Zab 102:25Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi,

naye Mukama ye yakola eggulu.

27Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge,

amaanyi n’essanyu biri wamu naye.

2816:28 Zab 29:1-2Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna,

mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.

2916:29 Zab 29:1-2Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;

muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge;

musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.

3016:30 Zab 114:7Mukankane mu maaso ge ensi yonna,

weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa.

3116:31 a Is 44:23; 49:13 b Zab 93:1Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze;

boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!”

3216:32 Zab 98:7Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna,

n’ennimiro zijaguze, n’okujjula kwazo!

3316:33 a Is 55:12 b Zab 96:10; 98:9Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba,

ginaayimbira Mukama n’essanyu,

kubanga akomawo okusalira ensi omusango.

3416:34 a nny 8 b Nak 1:7 c 2By 5:13; 7:3; Ezr 3:11; Zab 136:1-26; Yer 33:11Weebaze Mukama kubanga mulungi;

era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

3516:35 Mi 7:7Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;

tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga,

twebaze erinnya lyo ettukuvu,

era tujagulize mu ttendo lyo.”

3616:36 Ma 27:15; 1Bk 8:15; Zab 72:18-19Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri

ow’emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”

3716:37 2By 8:14Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku. 3816:38 a 1By 13:13 b 1By 26:10Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.

3916:39 a 2Sa 8:17; 1By 15:11 b 1Bk 3:4; 2By 1:3Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni 4016:40 Kuv 29:38; Kbl 28:1-8okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri. 4116:41 1By 6:33; 25:1-6; 2By 5:13Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo. 4216:42 2By 7:6Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.

43Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.