1 Basessaloniika 5 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

1 Basessaloniika 5:1-28

15:1 a Bik 1:7 b 1Bs 4:9Naye ku bikwata ku by’entuuko n’ebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira. 25:2 a 1Ko 1:8 b 2Pe 3:10Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro. 3Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.

45:4 Bik 26:18; 1Yk 2:8Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi; 5Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza. 65:6 Bar 13:11Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga. 75:7 Bik 2:15; 2Pe 2:13Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro. 85:8 a Bef 6:14 b Bar 8:24 c Bef 6:17Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe. 95:9 2Bs 2:13, 14Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ng’ayita mu Mukama waffe Yesu Kristo, 105:10 2Ko 5:15eyatufiirira ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tulyoke tubeere balamu wamu naye. 11Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.

Ebiragiro Ebisembayo

125:12 1Ti 5:17; Beb 13:17Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira, 135:13 Mak 9:50mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe. 145:14 a 2Bs 3:6, 7, 11 b Bar 14:1Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna. 155:15 1Pe 3:9Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna. 165:16 Baf 4:4Musanyukenga ennaku zonna.

Musabenga

17Musabenga obutayosa. 18Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu. 195:19 Bef 4:30Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu, 205:20 1Ko 14:1-40era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi, 215:21 1Ko 14:29; 1Yk 4:1naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. 22Mwewalenga buli ngeri ya kibi.

235:23 Bar 15:33Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 245:24 1Ko 1:9Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.

255:25 Bef 6:19Abooluganda, naffe, mutusabirenga.

26Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okutukuvu.

27Mbalagira mu linnya lya Mukama waffe ebbaluwa eno mugisomere abooluganda bonna.

28Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

Korean Living Bible

데살로니가전서 5:1-28

1형제 여러분, 그 때와 시기에 대해서는 여러분에게 더 말할 필요가 없습니다.

2주님의 날이 밤중에 도둑같이 온다는 것을 여러분이 잘 알기 때문입니다.

3마치 해산할 여자에게 고통이 닥치듯 사람들이 평안하고 안전한 세상이라고 마음 놓고 있을 때 갑자기 그들에게 멸망이 닥칠 것이며 사람들은 절대로 그것을 피하지 못할 것입니다.

4형제 여러분, 그러나 여러분은 어두움 가운데 있지 않기 때문에 그 날이 여러분에게 도둑처럼 닥치지는 않을 것입니다.

5여러분은 모두 빛의 5:5 원문에는 ‘아들들’자녀들이며 낮의 자녀들입니다. 우리는 밤이나 어두움에 속하지 않았습니다.

6그러므로 우리는 다른 사람들처럼 잠자고 있을 것이 아니라 깨어 정신을 차려야 합니다.

7잠자는 사람들은 밤에 자고 술 마시는 사람들도 밤에 마시고 취합니다.

8그러나 우리는 낮에 속하였으므로 정신을 똑바로 차리고 5:8 또는 ‘믿음과 사랑의 흉배를 붙이고 구원의 소망의 투구를 쓰자’믿음과 사랑과 구원의 희망으로 완전 무장합시다.

9하나님이 우리를 택하신 것은 벌하시기 위한 것이 아니라 우리 주 예수 그리스도를 통해 우리가 구원을 얻도록 하기 위한 것입니다.

10예수님은 우리가 깨든지 자든지 자기와 함께 살게 하려고 우리를 위해 죽으셨습니다.

11그러므로 여러분은 지금까지 생활해 온 그대로 서로 격려하며 도와주십시오.

여러 가지 명령과 부탁

12형제 여러분, 주님을 섬기는 일에 여러분을 지도하고 가르치는 분들의 수고를 잊지 마십시오.

13여러분을 위해 일하는 그들을 존경하고 사랑하며 서로 화목하게 지내십시오.

14그리고 제멋대로 사는 사람들을 훈계하고 마음이 약한 사람들을 격려하며 힘이 없는 사람들을 도와주고 모든 사람들을 인내로 대하십시오.

15누구에게나 악으로 악을 갚지 말고 여러분 자신과 모든 사람을 위해 언제나 선을 추구하십시오.

16항상 기뻐하십시오.

17쉬지 말고 기도하십시오.

18모든 일에 감사하십시오. 이것은 그리스도 예수님 안에서 여러분을 위한 하나님의 뜻입니다.

19성령님의 활동을 제한하지 말며

20예언을 멸시하지 마십시오.

21모든 것을 잘 살펴 선한 것은 붙잡고

22악한 것은 흉내도 내지 마십시오.

23평화의 하나님이 여러분을 온전히 거룩하게 하시고 우리 주 예수 그리스도께서 다시 오실 때 여러분의 영과 혼과 몸을 흠 없이 완전하게 지켜 주시기를 기도합니다.

24여러분을 부르시는 분은 신실하시기 때문에 이 일을 반드시 이루어 주실 것입니다.

25형제 여러분, 우리를 위해 기도해 주십시오.

265:26 원문에는 ‘거룩하게 입맞춤으로’그리스도의 사랑으로 모든 성도들에게 문안하십시오.

27나는 이 편지를 모든 성도들에게 꼭 읽어 줄 것을 주님의 이름으로 여러분에게 부탁합니다.

28우리 주 예수 그리스도의 은혜가 여러분과 함께하기를 기도합니다.