1 Abakkolinso 7 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 7:1-40

Obufumbo

17:1 nny 8, 26Kaakano ku bintu bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. 2Naye olw’ebikolwa eby’obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we; era na buli mukazi abeerenga ne bba. 37:3 Kuv 21:10; 1Pe 3:7Omusajja ateekwa okutuukirizanga eby’obufumbo byonna eri mukazi we era n’omukazi bw’atyo. 4Kubanga omukazi bw’afumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era n’omusajja bw’atyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we y’aba agulinako obuyinza. 57:5 a Kuv 19:15; 1Sa 21:4, 5 b Mat 4:10 c 1Bs 3:5Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga ery’okusabiramu n’oluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olw’obuteefuga bwammwe. 67:6 2Ko 8:8Naye kino nkyogera mu ngeri ya kukkiriziganya so si mu ngeri ya kuwa kiragiro. 77:7 a nny 8; 1Ko 9:5 b Mat 19:11, 12; Bar 12:6; 1Ko 12:4, 11Nandyagadde buli omu abeere nga nze; naye buli muntu alina ekirabo ekikye ku bubwe ekiva eri Katonda, omu mu ngeri emu n’omulala mu ngeri endala.

87:8 nny 1, 26Naye njogera eri abo abatannawasa ne bannamwandu; kirungi okusigala nga bwe bali, era nga nze bwe ndi. 97:9 1Ti 5:14Naye bwe baba tebasobola kwefuga bafumbirwe, oba bawase, kubanga okufumbiriganwa kisinga okwakiriranga okw’okwegomba.

107:10 Mal 2:14-16; Mat 5:32; 19:3-9; Mak 10:11; Luk 16:18Naye abafumbo mbawa etteeka eriva eri Mukama waffe: omukazi tanobanga ku bba. 11Singa baawukana, omukazi ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo addeyo ewa bba basonyiwagane; n’omusajja tagobanga mukazi we.

127:12 nny 6, 10; 2Ko 11:17Abalala njogera gye bali kubanga si tteeka eriva eri Mukama waffe, naye mbagamba nti owooluganda bw’abeera n’omukazi atali mukkiriza ng’ayagala okubeera naye, tamugobanga. 13Era omukazi omukkiriza alina bba atali mukkiriza naye ng’amwagala, tamuvangako. 147:14 Mal 2:15Kubanga omusajja atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa mukyala we omukkiriza, oba omukyala atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa bba omukkiriza. Kubanga bwe kitaba ekyo abaana bammwe banditwaliddwa ng’abatali balongoofu naye ku lw’ekyo abaana bammwe baba balongoofu. 157:15 Bar 14:19; 1Ko 14:33Kyokka oyo atali mukkiriza bw’ayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo omusajja omukkiriza oba omukyala taasibwenga mu ekyo, kubanga Katonda ayagala abaana be okubeera n’eddembe. 167:16 a Bar 11:14 b 1Pe 3:1Ggwe omukazi omukkiriza omanyi otya ng’olirokola balo? Oba ggwe omusajja omukkiriza omanyi otya ng’olirokola mukazi wo?

177:17 a Bar 12:3 b 1Ko 4:17; 14:33; 2Ko 8:18; 11:28Buli omu abeere mu bulamu Mukama bwe yamuwa, era Katonda mwe yamuyitira mw’abatambuliranga. Ekyo ky’ekiragiro kye mpa ekkanisa zonna. 187:18 Bik 15:1, 2Eyayitibwa ng’amaze okukomolebwa aleme kugamba nti ssinga teyakomolebwa, n’oyo eyakkiriza nga si mukomole aleme kufaayo ku kukomolebwa. 197:19 Bar 2:25-27; Bag 5:6; 6:15; Bak 3:11Kubanga okukomolebwa si kintu era obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwata amateeka ga Katonda. 207:20 nny 24Buli omu abeerenga mu kuyitibwa Katonda kwe yamuyitiramu. 21Oba nga wayitibwa ng’oli muddu ekyo kireme okuba ekikulu; naye bw’oba ng’ofunye omukisa okufuuka ow’eddembe, gukozese. 227:22 a Yk 8:32, 36; Fir 16 b Bef 6:6Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula wa ddembe, n’oyo eyali ow’eddembe yafuuka muddu wa Kristo. 237:23 1Ko 6:20Mwagulibwa na muwendo noolwekyo temufuukanga baddu ba bantu. 247:24 nny 20Kale abooluganda, buli kifo kyonna omuntu yenna ky’alimu, mwe yayitirwa abeere mu ekyo.

Abatali bafumbo ne bannamwandu

257:25 a nny 6; 2Ko 8:8 b 2Ko 4:1; 1Ti 1:13, 16Naye ku ky’abatafumbirwanga wadde okuwasa, sirina kiragiro kiva eri Mukama wabula Mukama mu kusaasira kwe yampa amagezi agayinza okwesigibwa kwe nnaasinziira okubawa ekirowoozo kyange. 267:26 nny 1, 8Kino nkirowooza nga kirungi, olw’embeera eya kaakano, nga kirungi omuntu okusigala nga bw’ali. 27Obanga oli mufumbo tosaanye kwawukana na munno. Naye obanga wayawukana n’omukazi, tonoonya wa kuwasa. 28Kyokka omusajja bw’awasa aba tayonoonye, era n’embeerera bw’afumbirwa naye aba tayonoonye. Wabula abafumbo, obufumbo bujja kubaleetera emitawaana gye nandiyagadde mwewale.

297:29 nny 31; Bar 13:11, 12Naye kino kye mbategeeza abooluganda nti ekiseera kiyimpawadde. Noolwekyo abo abalina abakazi babe ng’abatabalina. 30N’abo abakaaba babe ng’abatakaaba, n’abo abasanyuka babe ng’abatasanyuka. N’abo abagula ebintu babe ng’abatalina kintu kye bayita kyabwe. 317:31 1Yk 2:17Era n’abo abakozesa eby’oku nsi kuno bireme okubamalamu ennyo, kubanga ensi eya kaakano eggwaawo.

327:32 1Ti 5:5Naye kye mbagaliza mmwe bwe buteraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku bya Mukama, engeri gy’asanyusa Mukama. 33Naye omufumbo yeeraliikirira bya nsi, nga bw’anaasanyusa mukazi we; 347:34 Luk 2:37aba yeesazeemu, ng’atta aga n’aga. N’omukazi atali mufumbo n’embeerera bafaayo ku bintu bya Mukama, babeerenga batukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, engeri gy’anaasanyusaamu bba. 357:35 Zab 86:11Bino mbyogera olw’okubagasa, so si kubaziyiza kuwasa na kufumbirwa. Kubanga njagala musobole okuweereza Mukama nga tewali birala bibaziyiza okweweerayo ddala.

367:36 nny 28Omusajja bw’alowooza nti aba teyeeyisizza bulungi eri omuwala oyo gw’ayogereza bw’atamuwasa, bwe bafumbiriganwa, aba tayonoonye. 37Naye oyo asobola okwefuga ng’alina omutima omunywevu, n’asalawo awatali kuwalirizibwa nti omuwala tajja kumuwasa, aba asazeewo bulungi. 387:38 Beb 13:4Kale oyo awasa omuwala gw’ayogereza aba akoze bulungi, naye oyo atamuwasa y’aba asinze okukola obulungi.

397:39 a Bar 7:2, 3 b 2Ko 6:14Omukazi omufumbo abeera kitundu kya bba, bba bw’aba akyali mulamu. Naye bba bw’afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw’ayagala, kyokka omusajja oyo ateekwa kuba mu Mukama waffe yekka. 407:40 nny 25Naye nze ndowooza nti alina omukisa oyo singa taddayo kufumbirwa. Era ndowooza nga nange nnina Omwoyo wa Katonda.