1 Abakkolinso 3 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 3:1-23

Okwawukana mu Kkanisa

13:1 a 1Ko 2:15 b Bar 7:14; 1Ko 2:14 c Beb 5:13Nange abooluganda ssaasobola kwogera nammwe ng’ab’omwoyo, naye nayogera nammwe ng’ab’omubiri era ng’abaana abawere mu Kristo. 23:2 a Beb 5:12-14; 1Pe 2:2 b Yk 16:12Nabanywesa mata so si mmere enkalubo, kubanga mwali temunnagisobola. Naye era ne kaakano temunnagisobola, 33:3 1Ko 1:11; Bag 5:20kubanga mukyafugibwa mubiri. Naye obanga mukyalimu obuggya n’ennyombo, temufugibwa mubiri era temutambula ng’abalina empisa z’abantu obuntu? 43:4 1Ko 1:12Kubanga omuntu yenna bw’agamba nti, “Nze ndi wa Pawulo,” n’omulala nti, “Nze ndi wa Apolo,” olwo temuba ng’abantu obuntu?

5Kale Apolo ye ani? Ne Pawulo ye ani? Baweereza buweereza ababakkirizisa, nga Mukama bwe yawa buli omu. 63:6 Bik 18:4-11Nze nasiga, Apolo n’afukirira, kyokka Katonda ye yakuza. 7Kale bwe kityo oyo asiga n’oyo afukirira si be bakulu wabula Katonda akuza. 83:8 Zab 62:12Oyo asiga kaakano n’oyo afukirira bali bumu, era buli omu aliweebwa empeera ye okusinziira ku mulimu gw’aliba akoze. 93:9 a 2Ko 6:1 b Is 61:3 c Bef 2:20-22; 1Pe 2:5Kubanga ffe tuli bakozi abakolera awamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.

103:10 a Bar 12:3 b Bar 15:20Okusinziira ku kisa kya Katonda ekya mpeebwa, ng’omuzimbi ow’amagezi, nazimba omusingi, kaakano omulala aguzimbako. Naye buli aguzimbako yeegenderezenga bw’aguzimbako. 113:11 Is 28:16; Bef 2:20Kubanga tewali n’omu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo. 12Naye Omuntu bw’aguzimbisaako ezaabu, effeeza, n’amayinja ag’omuwendo n’emiti, n’essubi, oba ebisasiro; 133:13 a 1Ko 4:5 b 2Bs 1:7-10omulimu gwa buli omu gulirabibwa, kubanga omuliro guligwolesa ku lunaku olwo, era omuliro ogwo gwe gulyoreka omulimu gwa buli omu nga bwe guli. 14Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera. 153:15 Yud 23Naye omulimu gw’omuntu yenna bwe gulyokebwa omuliro, alifiirwa, kyokka ye yennyini alirokolebwa, naye ng’ayita mu muliro.

163:16 1Ko 6:19; 2Ko 6:16Temumanyi nti mmwe muli yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? 17Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.

183:18 Is 5:21; 1Ko 8:2Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi. 193:19 a 1Ko 1:20, 27 b Yob 5:13Kubanga amagezi ag’ensi eno, bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.” 203:20 Zab 94:11Era kyawandiikibwa nti, “Mukama amanyi ng’ebirowoozo by’abagezi temuli nsa.” 213:21 a 1Ko 4:6 b Bar 8:32Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu yeenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe, 223:22 a 1Ko 1:12 b Bar 8:38oba Pawulo oba Apolo oba Keefa oba nsi, oba bulamu, oba kufa, oba bintu ebya kaakano, oba ebijja, byonna byammwe, 233:23 1Ko 15:23; 2Ko 10:7; Bag 3:29nammwe muli ba Kristo, ne Kristo wa Katonda.