1 Abakkolinso 11 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 11:1-34

111:1 1Ko 4:16Mundabireko nga nange bwe ndabira ku Kristo.

Okubikka ku mutwe mu kusinza

211:2 a nny 17, 22 b 1Ko 4:17 c 1Ko 15:2, 3Mbatenda nnyo Olw’okunzijjukiza mu bintu byonna era n’olw’okunyweza ebyo bye nabayigiriza. 311:3 a Bef 1:22 b Lub 3:16; Bef 5:23 c 1Ko 3:23Kyokka njagala mutegeere nti Kristo ye mutwe gwa buli muntu, n’omusajja gwe mutwe gwa mukazi we. Era Katonda ye mutwe gwa Kristo. 4Noolwekyo omusajja yenna bw’asaba oba bw’ayogera eby’obunnabbi nga taggyeko kibikka ku mutwe gwe, aba aswaza omutwe gwe. 511:5 a Bik 21:9 b Ma 21:12N’omukazi bw’asaba oba n’ayogera eby’obunnabbi nga tabisse mutwe gwe aba tawadde bba kitiibwa kubanga kyekimu n’oyo amwereddwako enviiri. 6Obanga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale enviiri ze azisalengako. Naye obanga omukazi kimuswaza enviiri ze okuzisalako oba okuzimwako, kale ateekwa omutwe gwe okugubikkangako. 711:7 Lub 1:26; Yak 3:9Omusajja tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi n’ekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye ky’ekitiibwa ky’omusajja. 811:8 Lub 2:21-23; 1Ti 2:13Kubanga omusajja teyatondebwa ng’aggibwa mu mukazi, wabula omukazi ow’olubereberye ye yaggyibwa mu musajja. 911:9 Lub 2:18Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olw’omusajja. 10Kale olw’ensonga eyo, omukazi kimusaanira okubikkanga ku mutwe gwe, okulaga nti afugibwa era ne bamalayika bakirabe. 11Kyokka mu Mukama waffe, omukazi n’omusajja, buli omu yeetaaga munne. 1211:12 Bar 11:36Kuba, newaakubadde ng’omukazi ava mu musajja, naye buli musajja azaalibwa mukazi; kyokka byonna biva eri Katonda.

13Kale nammwe bennyini mwebuuze obanga kisaana omukazi okusaba Katonda nga tabisse ku mutwe. 14Obuzaaliranwa tebubalaga ng’omusajja bw’aba n’enviiri empanvu tekimuweesa kitiibwa, 15ate ng’omukazi ye zimuweesa kitiibwa? Kubanga yaweebwa enviiri empanvu okumubikkako. 1611:16 1Ko 7:17Naye obanga waliwo ayagala okuwakanya bino, tetulinaayo nkola nga eyo, wadde mu Kkanisa za Katonda.

Ekyekiro kya Mukama waffe

1711:17 nny 2, 22Mu bino bye ŋŋenda okubalagira temuli kya kubatenda, kubanga enkuŋŋaana zammwe zivaamu bibi okusinga ebirungi. 1811:18 1Ko 1:10-12; 3:3Ekisooka bwe mukuŋŋaana ng’ekibiina, mwesalaasalamu ebitundu, era nzikiriza ng’ebimu ku ebyo bituufu. 1911:19 1Yk 2:19Naye okwesalaasalamu okwo kusaana kubeewo abatuufu balyoke bategeerekeke. 20Bwe mukuŋŋaana ekyo kye mulya si kye kyekiro kya Mukama waffe. 2111:21 2Pe 2:13; Yud 12Kubanga bwe muba mulya buli omu alya ku lulwe, talinda banne. Abamu basigala bakyali bayala, ng’abalala bo batamidde.

2211:22 a 1Ko 10:32 b Yak 2:6 c nny 2, 17Temulina wammwe gye muyinza okuliira n’okunywera? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abaavu? Mbagambe ki? Mbatende olw’ekyo? Nedda na katono, sijja kubatenda. 2311:23 a Bag 1:12 b 1Ko 15:3Kubanga Mukama yennyini kye yampa ky’ekyo kye nabayigiriza nti, Mukama waffe Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yaddira omugaati, 24ne yeebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’agamba nti, “Guno mubiri gwange, oguweebwayo ku lwammwe, mugutoole mulye, mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” 2511:25 a Luk 22:20 b 1Ko 10:16Era mu ngeri y’emu bwe baamala okulya, yaddira ekikompe n’agamba nti, “Ekikompe kino y’endagaano empya ekoleddwa Katonda nammwe, ekakasiddwa n’omusaayi gwange, mutoole munywe, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaakinywangako okunzijukiranga.” 26Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lw’alijja.

2711:27 Beb 10:29Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe. 2811:28 2Ko 13:5Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati n’okunywa ku kikompe. 29Kubanga buli alya era anywa nga tafaayo kutegeera makulu ga mubiri gwa Mukama waffe, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga. 30Mu mmwe kyemuvudde mubaamu abanafu n’abalwadde, era bangi bafudde. 3111:31 Zab 32:5; 1Yk 1:9Naye singa tusooka okwekebera, tetwandisaliddwa musango kutusinga. 3211:32 Zab 94:12; Beb 12:7-10; Kub 3:19Kyokka Mukama bw’atusalira omusango aba atukangavvula tuleme kusalirwa musango awamu n’ensi. 33Kale baganda bange, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya, buli omu alinde munne. 3411:34 a nny 21 b nny 22 c 1Ko 4:19Era singa wabaawo alumwa enjala amale okulya eka, bwe mukuŋŋaana muleme kwereetako musango. N’ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

哥林多前书 11:1-34

1你们要效法我,正如我效法基督一样。

敬拜的礼仪

2我赞赏你们,因为你们凡事都想到我,并坚守我传给你们的各种教导。

3我希望你们知道,基督是男人的头,丈夫是妻子的头,上帝是基督的头。 4男人在祷告和讲道时,若蒙着头,就是羞辱自己的头。 5但妇女在祷告和讲道时,若不蒙着头,就是羞辱自己的头,因为她就像剃光了头发一样。 6因此,如果妇女不愿意把头蒙起来,就该把头发剪掉。如果她觉得剪发或剃头是羞耻的,就应该蒙头。 7然而,男人不该蒙头,因为男人是上帝的形象和荣耀,而女人是男人的荣耀。 8因为男人并非出自女人,而女人却是出自男人。 9并且男人不是为女人而造的,女人却是为男人而造的。

10因此为了天使的缘故,女人在头上应该有服权柄的记号。 11不过在主里面,女人不可没有男人,男人不可没有女人。 12因为女人是从男人而来,男人又是女人生的,但万物都是来自上帝。

13你们自行斟酌吧,女人向上帝祷告时不蒙头合适吗? 14按着人的天性,难道你们不知道男人留长发是他的羞辱, 15女人留长发是她的荣耀吗?因为头发是用来给女人盖头的。 16如果有谁想反驳这些话,我只能说,这是我们和上帝的众教会向来遵守的规矩。

守圣餐的规矩

17现在我有话要吩咐你们,不是称赞你们,因为你们聚会不但无益,反而有害。 18首先,我听说你们在聚会的时候拉帮结派,我相信这些话有几分真实。 19你们中间必然会有分裂的事,好显出谁是经得起考验的。

20你们聚会的时候,不是在吃主的晚餐。 21因为你们进餐的时候,各人只顾吃自己的,结果有些人挨饿,有些人醉酒。 22难道你们不可以在家里吃喝吗?还是你们轻看上帝的教会,存心羞辱那些贫穷的弟兄姊妹呢?我该说什么呢?称赞你们吗?不可能!

23我把从主领受的传给了你们,就是:主耶稣被出卖的那天晚上,祂拿起一个饼来, 24向上帝祝谢后掰开,说,“这是我的身体,是为你们掰开的,你们要这样做,为的是纪念我。” 25晚餐后,祂又照样拿起杯来,说,“这杯是用我的血立的新约。你们每逢喝的时候,要这样做,为的是纪念我。” 26所以,每当你们吃这饼、喝这杯的时候,就是宣告主的死,一直到主再来。

27因此,无论是谁,若以不正确的心态吃主的饼、喝主的杯,就是得罪主的身体和主的血。 28所以,人要先自我省察,才可以吃这饼喝这杯。 29因为守圣餐的时候,若有人随便吃喝,忘记了这是主的身体,他就是自招审判。 30正因如此,你们当中有许多人身体软弱,疾病缠身,死亡的也不少。 31如果我们先自我省察,就不会遭受审判了。 32主审判我们,是对我们的管教,免得我们和世人一同被定罪。

33因此,我的弟兄姊妹,当你们吃圣餐时,要彼此等候。 34如果有人饥饿,可以在家中先吃,免得你们聚会的时候自招审判。至于其余的事,等我到了以后再安排。