예레미야 16 – KLB & LCB

Korean Living Bible

예레미야 16:1-21

예고된 재난

1여호와께서 다시 나에게 말씀하셨다.

2“너는 이런 곳에서 결혼하거나 자 녀를 두지 말아라.

3이 땅에서 난 자녀들과 그들을 낳은 부모들에 대하여 내가 말하겠다.

4그들은 무서운 병으로 죽을 것이며 그들을 위해 슬퍼하거나 그들을 매장해 주는 자가 없으므로 그들의 시체가 들의 거름더미 같을 것이다. 그들은 전쟁과 기근으로 망하고 그 시체는 공중의 새와 들짐승의 밥이 될 것이다.

5“너는 초상집에 들어가지 말며 가서 울거나 조의를 표하지 말아라. 내가 이 백성에게서 평화를 빼앗고 나의 사랑과 자비를 거두었다.

6높은 자나 낮은 자가 다 이 땅에서 죽고 그들을 매장하거나 그들을 위해 우는 자가 없을 것이며 슬퍼서 자기 살을 베거나 머리를 미는 자들도 없을 것이다.

7또 상주들을 위로하기 위해서 그들에게 음식을 권하거나 부모를 잃은 자들에게 위로의 잔을 권할 자들이 없을 것이다.

8“너는 잔칫집에 들어가서 그들과 함께 앉아 먹거나 마시지 말아라.

9이스라엘의 하나님 전능한 나 여호와가 말한다. 네가 살아 있는 동안 내가 이 땅에서 기뻐하고 즐거워하는 소리와 신랑 신부의 소리가 들리지 않게 하겠다.

10“네가 이 모든 것을 백성들에게 말할 때 그들이 너에게 ‘여호와께서는 어째서 우리에게 이런 큰 재앙을 선포하시는가? 우리가 잘못한 것이 무엇이며 우리가 우리 하나님 여호와께 범죄한 것이 무엇인가?’ 하고 묻거든

11너는 그들에게 이렇게 대답하라: 여호와께서 말씀하셨다. ‘너희 조상들이 나를 떠나서 다른 신들을 좇아 그들에게 절하고 섬기며 나를 버리고 내 법을 지키지 않았다.

12그런데 너희는 너희 조상들보다도 더 많은 악을 행하였다. 너희가 모두 너희 마음의 악한 고집대로 행하고 나에게 순종하지 않았으므로

13내가 너희를 이 땅에서 너희와 너희 조상들이 전에 알지 못하던 땅으로 추방해 버릴 것이다. 너희는 거기서 밤낮 다른 신들을 섬기게 될 것이며 나는 너희에게 은혜를 베풀지 않을 것이다.’ ”

이스라엘의 회복

14-15여호와께서 말씀하셨다. “그러나 다시 는 ‘이스라엘 백성을 이집트에서 인도해 내신 살아 계신 하나님’ 이란 말로 맹세하지 않고 ‘이스라엘 백성을 북쪽 땅과 쫓겨간 모든 나라에서 인도해 내신 살아 계신 하나님’ 이란 말로 맹세하게 될 날이 올 것이다. 내가 그들을 그 조상들에게 준 그들의 땅으로 다시 돌아오게 하겠다.”

16여호와께서 다시 말씀하셨다. “보라, 내가 많은 어부들을 불러다가 이 백성들을 낚아내게 하며 많은 사냥꾼들을 불러다가 모든 산과 굴과 바위 틈에서 그들을 사냥하게 하겠다.

17나는 그들이 행하는 일을 다 지켜 보고 있으므로 그들이 나를 피해 숨을 수 없고 그들의 죄도 내 앞에서 숨겨질 수가 없다.

18내가 그들의 죄와 악에 대하여 배로 갚아 주겠다. 이것은 그들이 시체와 같은 생명 없는 우상으로 내 땅을 더럽히고 그 땅에 더럽고 추한 것으로 가득 채웠기 때문이다.”

19여호와여, 주는 나의 힘이 되시고 나의 요새가 되시며 환난 날에 피난처가 되십니다. 세계 각처에서 여러 민족이 주께 나아와 이렇게 말할 것입니다. “우리 조상들이 우리에게 물려 준 것은 거짓되고 쓸모없는 헛된 우상뿐이었습니다.

20사람이 어떻게 신이 아닌 것을 자기 신으로 삼을 수 있겠습니까?”

21그러나 여호와께서 말씀하셨다. “내가 16:21 또는 ‘이번에’단번에 나의 능력을 보여 내가 여호와라는 것을 그들이 알도록 하겠다.”

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 16:1-21

Olunaku olw’Akabi

1Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, 216:2 1Ko 7:26-27“Towasa, kuzaalira balenzi na bawala mu kifo kino. 316:3 Yer 6:21Kubanga kino Mukama ky’agamba ku balenzi n’abawala abazaalibwa mu nsi eno era ne ku bakazi ba nnyaabwe ne ku basajja ba kitaabwe. 416:4 a Yer 25:33 b Zab 83:10; Yer 9:22 c Zab 79:1-3; Yer 15:3; 34:20Balifa endwadde ez’akabi. Tebalibakungubagira wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisaaniko ebisuuliddwa ku ttaka. Balizikirira na kitala era balifa njala; n’emirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.”

5Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Toyingira mu nnyumba we balya emmere y’olumbe, togenda kukungubaga wadde okubasaasira kubanga nziggyewo omukisa gwange n’okwagala kwange era n’okusaasira kwange ku bantu bano,” bw’ayogera Mukama. 616:6 a Ez 9:5-6 b Lv 19:28 c Yer 41:5; 47:5Bonna ab’ekitiibwa n’abakopi baakufiira mu nsi eno. Tebajja kuziikibwa wadde okukungubagirwa era tewali ajja kwesala misale wadde okumwa omutwe ku lwabwe. 716:7 Ez 24:17; Kos 9:4Tewaliba n’omu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba n’omu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza.

816:8 Mub 7:2-4; Yer 15:17Era toyingiranga mu nnyumba muli kinyumu n’otuula okulya n’okunywa. 916:9 a Is 24:8; Ez 26:13; Kos 2:11 b Kub 18:23Kubanga kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’agamba nti, “Nga weerabirako n’amaaso go, mu nnaku z’obulamu bwo, ndikomya eddoboozi ery’essanyu era n’ery’okwesiima ery’abagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino.

1016:10 Ma 29:24; Yer 5:19“Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’ 1116:11 Ma 29:25-26; 1Bk 9:9; Zab 106:35-43; Yer 22:9Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange. 1216:12 a Yer 7:26 b Mub 9:3; Yer 13:10Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera. 1316:13 a Ma 28:36; Yer 5:19 b Ma 4:28 c Yer 15:5Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’

1416:14 Ma 15:15; Yer 23:7-8“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’ 1516:15 a Is 11:11; Yer 23:8 b Yer 24:6naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.

1616:16 a Am 4:2; Kbk 1:14-15 b Am 9:3; Mi 7:2 c 1Sa 26:20“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi. 1716:17 a 1Ko 4:5; Beb 4:13 b Nge 15:3Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa. 1816:18 a Is 40:2; Kub 18:6 b Kbl 35:34; Yer 2:7Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”

1916:19 a Is 2:2; Yer 3:17 b Zab 4:2Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,

ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,

bannaggwanga balijja gy’oli,

okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,

“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,

ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.

2016:20 Zab 115:4-7; Is 37:19; Yer 2:11Abantu beekolera bakatonda baabwe?

Ye, naye si Katonda!

21“Noolwekyo ndibayigiriza,

ku mulundi guno;

ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange.

Olwo balyoke bamanye nti

erinnya lyange nze Mukama.”