시편 29 – KLB & LCB

Korean Living Bible

시편 29:1-11

여호와를 찬양하라

(다윗의 시)

129:1 또는 ‘권능있는 자들아’하늘의 존재들아,

너희는 여호와의

능력과 영광을 찬양하라.

2여호와의 이름에 합당한 영광을

그에게 돌리고

거룩한 옷을 입고

그에게 경배하라.

3여호와의 소리가

바다 위에서 들린다.

영광의 하나님이

천둥을 치시니

그 음성이 망망한 바다 위에

메아리치는구나.

4여호와의 소리가 힘이 있고

여호와의 소리가 위엄이 있다.

5그 소리가 백향목을 꺾고

레바논의 큰 나무들까지

꺾어 부수는구나.

6여호와께서

레바논의 산들을 흔들어

송아지처럼 뛰게 하시며

29:6 히 ‘시룐’헬몬산을

들송아지같이 뛰게 하신다.

7여호와의 소리가

번갯불과 함께 울려 퍼진다.

8그 소리가

사막을 진동시키고

가데스 광야를 뒤흔드는구나.

9여호와의 소리가

29:9 또는 ‘암사슴으로 낙태케 하시고’상수리나무를 비틀고

숲을 벌거숭이로 만드시니

성전에 있는 모든 사람들이

“여호와께 영광” 이라 하는구나.

10여호와께서 홍수를 다스리시며

왕으로서 영원히 통치하시리라.

11여호와께서 자기 백성에게

힘을 주시고,

그들에게 평안의 복을 주시리라.

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 29:1-11

Zabbuli 29

Zabbuli ya Dawudi.

129:1 a 1By 16:28 b Zab 96:7-9Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.

Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.

229:2 2By 20:21Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;

musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.

329:3 a Yob 37:5 b Zab 18:13Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;

Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,

n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.

429:4 Zab 68:33Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;

eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.

529:5 Bal 9:15Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;

Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.

629:6 a Zab 114:4 b Ma 3:9Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,

ne Siriyooni29:6 Siriyooni linnya eribbulwa mu bitundu bya Kalumooni. Kalumooni ye yali ensalo ey’omu bukiikakkono obw’ensi ensuubize ng’ennyana y’embogo.

7Eddoboozi lya Mukama

libwatukira mu kumyansa.

829:8 Kbl 13:26Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;

Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.

929:9 Zab 26:8Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,

n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.

Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”

1029:10 a Lub 6:17 b Zab 10:16Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka.

Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.

1129:11 a Zab 28:8 b Zab 37:11Mukama awa abantu be amaanyi;

Mukama awa abantu be emirembe.