King James Version

Psalm 134

1Behold, bless ye the Lord, all ye servants of the Lord, which by night stand in the house of the Lord.

Lift up your hands in the sanctuary, and bless the Lord.

The Lord that made heaven and earth bless thee out of Zion.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 134

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama,
    abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.
Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu,
    mutendereze Mukama.

Mukama eyakola eggulu n’ensi
    akuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.