民数記 3 – JCB & LCB

Japanese Contemporary Bible

民数記 3:1-51

3

レビ人の立場と、その働き

1シナイ山で神がモーセに語った当時、 2アロンには息子が四人いました。長男ナダブ、次男アビフ、三男エルアザル、四男イタマルです。 3四人とも祭司でした。幕屋で仕えるために選ばれ、任命されたのです。 4ところが、ナダブとアビフはシナイの荒野にいた時、幕屋で規定に反して香をたいたために死んでしまいました。二人には跡継ぎの子がいなかったので、アロンを助けて祭司の仕事をするのは、エルアザルとイタマルだけになりました。

5その後、主はモーセに命じました。 6「レビ族を集め、アロンの仕事を手伝わせなさい。 7-9彼らはアロンのもとで、全国民に代わって幕屋の仕事をするのだ。主に幕屋の祭具の管理や修理をする。 10祭司の仕事をするのはアロンとその子らだけで、ほかに近づく者はみな死ぬこととなる。」

11-12さらに、主は命じました。「レビ人を、イスラエル人の長男全員の身代わりとする。 13だから、レビ人はわたしのものとなる。エジプト人の長男をすべて殺した日、イスラエル人の長男を家畜の子も含め、一人残らずわたしのものとしたように、彼らの長男はみなわたしのものだ。すべてのものを造ったのは、神であるわたしである。」

14-15主はまた、シナイの荒野でモーセに命じました。「レビ人で生後一か月以上の男の数を、氏族ごとに調べなさい。」 16-24モーセはそのとおりにしました。

レビ族は、ゲルション族、ケハテ族、メラリ族の三氏族。

そのうち、ゲルション族はリブニ族とシムイ族から成り、族長はラエルの子エルヤサフ。幕屋の西側に宿営し、人数は七、五〇〇人。 25-30このゲルション族は幕屋を管理します。その覆い、入口の垂れ幕(カーテン)、さらに庭の柵の垂れ幕、天幕と祭壇を囲む庭の入口の垂れ幕、それに、天幕を結び合わせる綱の管理です。

次に、ケハテ族は、アムラム族、イツハル族、ヘブロン族、ウジエル族から成り、族長はウジエルの子エリツァファン。幕屋の南側に宿営し、人数は八、六〇〇人。 31-35このケハテ族の仕事は、契約の箱(十戒を記した石板を納めた箱)、テーブル、燭台、祭壇と幕屋の中で使ういろいろな祭具、覆いなどの管理と修理です。この仕事は、アロンの子エルアザルが責任者として、レビ人の家長たちを監督しました。

最後に、メラリ族は、マフリ族とムシ族から成り、族長はアビハイルの子ツリエル。幕屋の北側に宿営し、人数は六、二〇〇人。 36-37このメラリ族の仕事は、幕屋の骨組みに必要な柱、土台、付属の部品類と、庭の回りの柱、その土台、釘、綱などの管理です。

38モーセとアロンとその子らは、いつも幕屋の東側に天幕を張りました。彼らはイスラエルの人々に代わって、幕屋で仕事をするのです。祭司でもレビ人でもない者が一歩でも幕屋に近づいたら、その者は殺されます。

39主の命令によって、モーセとアロンが登録した生後一か月以上のレビ族の男の数は、二万二、〇〇〇人でした。

40その後また、主はモーセに命じました。「イスラエル人で生後一か月以上の長男の数を調べなさい。 41イスラエル人の長男の代わりに、レビ人をわたしのものとする。同じように、家畜の初子の代わりに、レビ人の家畜をわたしのものとする。」

42モーセは主に命じられたとおり、イスラエル人の長男の数を調べました。 43その結果、二万二、二七三人いることがわかりました。

44そこで、主はモーセに告げて言いました。 45「イスラエル人の長男全員の代わりにレビ人を、家畜の初子の代わりにレビ人の家畜を、わたしにささげなさい。レビ人はわたしのものだ。わたしは主である。 46イスラエル人の長男の数が二七三人超過しているので、その分は金銭でささげなさい。 47-48一人につき五シェケル(一シェケルは十一・四グラム)をアロンとその子らが取りなさい。」

49モーセは二七三人から代金を徴収しました。〔他の者は、レビ人が身代わりになったので、金を払う必要はありません。〕 50全部で一、三六五シェケルを、 51モーセはアロンとその子らに渡しました。

Luganda Contemporary Bible

Okubala 3:1-51

Batabani ba Alooni

13:1 Kuv 6:27Luno lwe lulyo lwa Alooni n’olwa Musa mu biseera Mukama mwe yayogerera ne Musa ku Lusozi Sinaayi.

23:2 Kuv 6:23; Kbl 26:60Gano ge mannya ga batabani ba Alooni: Nadabu, omubereberye, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali. 33:3 Kuv 28:41Ago ge mannya ga batabani ba Alooni, abaafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni okuba bakabona, era abaayawulibwa okuweereza mu mulimu gw’obwakabona. 43:4 a Lv 10:2 b Lv 10:1 c 1By 24:1Naye nno Nadabu ne Abiku baatondokera mu maaso ga Mukama ne bafa, kubanga baayokya ekiweebwayo eri Mukama Katonda n’omuliro ogutakkirizibwa nga bali mu ddungu ly’e Sinaayi. Tebaalina baana; bwe batyo, Eriyazaali ne Isamaali ne basigala nga be bokka abaaweerezanga nga bakabona ebbanga lyonna kitaabwe Alooni lye yamala nga mulamu.

Omuwendo gw’Abaleevi n’Emirimu gyabwe

5Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 63:6 a Ma 10:8; 31:9; 1By 15:2 b Kbl 8:6-22; 18:1-7; 2By 29:11“Leeta ab’omu kika kya Leevi3:6 Kika kya Leevi baawukanira ddala ku bakabona, abaali bazzukulu ba Alooni. Abaleevi baayambanga bakabona. obakwase Alooni kabona bamuweerezenga. 73:7 Lv 8:35; Kbl 1:50Banaamukoleranga emirimu era ne baweereza n’ekibiina kyonna awali Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya Mukama. 8Banaalabiriranga ebintu byonna eby’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gy’omu Weema ya Mukama nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri. 93:9 Kbl 8:19; 18:6Abaleevi onoobawanga eri Alooni ne batabani be; baweereddwa ddala Alooni nga baggyibwa mu baana ba Isirayiri. 103:10 a Kuv 29:9 b Kbl 1:51Onoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna n’asembera awatukuvu, anaafanga.”

11Mukama Katonda n’ayongera okugamba Musa nti, 123:12 a Mal 2:4 b nny 41; Kbl 8:16, 18 c Kuv 13:2“Laba, neetwalidde Abaleevi nga mbaggya mu baana ba Isirayiri mu kifo ky’abaana ababereberye abazaalibwa abakazi mu baana ba Isirayiri. Abaleevi banaabanga bange, 133:13 Kuv 13:12kubanga byonna ebizaalibwa ebibereberye byange. Bwe natta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri neeyawulira ebibereberye byonna mu Isirayiri okubeeranga ebyange, abantu n’ebisolo. Nze Mukama Katonda.”

14Awo Mukama Katonda n’agamba Musa mu ddungu ly’e Sinaayi nti, 153:15 a nny 39 b Kbl 26:62“Bala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu bika byabwe3:15 Abaleevi tebaawandikibwanga kulwana mu magye, era kyebaava batabalibwa oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri egy’obukulu. Ekya babazanga, kwe kumanya abaana baabwe ababereberye (3:40-43).. Bala buli mwana mulenzi ow’omwezi ogumu n’okusingawo.” 16Bw’atyo Musa n’ababala nga Mukama Katonda bwe yamulagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.

173:17 a Lub 46:11 b Kuv 6:16Gano ge mannya ga batabani ba Leevi:

Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali.

183:18 Kuv 6:17Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe bwe zaali:

Libuni ne Simeeyi.

193:19 Kuv 6:18Bano be batabani ba Kokasi ng’empya zaabwe bwe zaali:

Amulaamu, ne Izukali ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.

203:20 a Lub 46:11 b Kuv 6:19Bano be batabani ba Merali ng’empya zaabwe bwe zaali:

Makuli ne Musi.

Ebyo bye bika by’Abaleevi ng’empya za bakitaabwe bwe zaali.

213:21 Kuv 6:17Mu Gerusoni mwe mwava oluggya lwa Abalibuni n’oluggya lwa Abasimeeyi; ezo nga z’empya za Abagerusoni.

22Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano (7,500).

23Ab’omu Gerusoni nga baakusiisiranga ku ludda olw’ebugwanjuba emmanju wa Weema ya Mukama.

24Omukulembeze w’empya za Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laeri.

253:25 a Kuv 25:9 b Kuv 26:14 c Kuv 26:36; Kbl 4:25Abagerusoni be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirira ebigibikkako n’eggigi ery’omu mulyango oguyingira mu Weema, 263:26 a Kuv 27:9 b Kuv 35:18n’entimbe ez’omu luggya, n’entimbe ez’omu mizigo egiggulira ku luggya okwebungulula Weema n’ekyoto. Era banaalabiriranga n’emiguwa awamu n’ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu egyo.

273:27 1By 26:23Mu Kokasi mwe mwava oluggya lwa Abamulaamu, n’oluggya lwa Abayizukaali, n’oluggya lwa Abakebbulooni, n’oluggya lwa Abawuziyeeri; ezo z’empya za Abakokasi.

28Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga3:28 ebiwandiiko ebirala bigamba kanaana mu bisatu (8,600).

Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu.

293:29 Kbl 1:53Ab’omu Kokasi nga baakusiisiranga ku ludda olw’obukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.

30Omukulembeze w’empya za Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri.

313:31 a Kuv 25:10-22 b Kuv 25:23 c Kuv 25:31 d Kuv 27:1; 30:1 e Kuv 26:33 f Kbl 4:15Abakokasi be baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira Essanduuko ey’Endagaano, n’emmeeza, n’ekikondo ky’ettaala, n’ebyoto, n’ebintu eby’omu watukuvu ebikozesebwa mu kuweereza, n’eggigi; n’emirimu gyonna egyekuusa ku buweereza obwo.

32Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona ye yalondebwa okuba omukulu w’abakulembeze ba Abaleevi, era n’okulabirira abo abaaweerezanga mu watukuvu.

333:33 Kuv 6:19Mu Merali mwe mwava oluggya lwa Abamakuli n’oluggya lwa Abamusi; ezo nga ze mpya za Abamerali.

34Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri (6,200).

353:35 Kbl 1:53; 2:25Omukulembeze w’empya za Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri;

Abamerali nga baakusiisiranga ku bukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.

363:36 Kbl 4:32Be baavunaanyizibwanga emikiikiro, n’empagi, n’ebikondo, n’ebikwata ku Weema ya Mukama byonna n’ebyekuusa ku mirimu gyayo. 37Okwo baagattangako empagi zonna ezeebunguludde oluggya n’entobo zaazo, n’enkondo za Weema n’emiguwa.

383:38 a Kbl 2:3 b Kbl 1:53 c nny 7; Kbl 18:5 d Kbl 18:10; 1:51Musa ne Alooni ne batabani baabwe baasiisiranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa Weema ya Mukama, okwolekera enjuba gy’eva mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.

Baavunaanyizibwanga okulabirira awatukuvu ku lw’abaana ba Isirayiri.

Omuntu omulala yenna eyasembereranga awatukuvu, ng’ateekwa kufa.

393:39 Kbl 26:62Omuwendo gwonna ogw’Abaleevi abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali, nga mwe muli abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).

Okubala Abasajja Ababereberye

403:40 nny 15Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bala abaana ba Isirayiri bonna aboobulenzi ababereberye okuva ku mwana ow’omwezi ogumu n’okusingawo okole olukalala lw’amannya gaabwe gonna. 413:41 nny 12Era ojja kunfunira Abaleevi mu kifo ky’ababereberye ab’abaana ba Isirayiri, era onfunire n’ente ez’Abaleevi mu kifo ky’ente ez’abaana ba Isirayiri embereberye. Nze Mukama Katonda.”

42Awo Musa n’abala abaana ba Isirayiri ababereberye nga Mukama Katonda bwe yamulagira. 433:43 nny 39Okugatta awamu abaana aboobulenzi ababereberye bonna okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa, nga n’amannya gaabwe gawandiikiddwa ku lukalala, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri mu nsanvu mu basatu.

44Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 45“Nfunira Abaleevi badde mu kifo ky’abaana ba Isirayiri ababereberye, n’ente z’Abaleevi zidde mu kifo ky’ente z’abaana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. Nze Mukama Katonda. 463:46 Kuv 13:13; Kbl 18:15Okununula ababereberye ab’abaana ba Isirayiri ebikumi ebibiri mu ensanvu mu abasatu abasukkirira ku muwendo gw’Abaleevi abasajja, 473:47 a Lv 27:6 b Kuv 30:13 c Lv 27:25onoddiranga gulaamu amakumi ataano mu ttaano ku buli omu, ng’ogeraageranyiza ku gulaamu kkumi n’emu ey’awatukuvu nga bw’eri, ye sekeri3:47 sekeri sekeri emu ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu ey’obuzito ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu. 48Ensimbi ez’okununula abaana ba Isirayiri abasukkiriramu oziwanga Alooni ne batabani be.”

49Bw’atyo Musa n’asolooza ensimbi ez’okwenunula ku abo abaasukkirira ku muwendo gw’abo abaanunulibwa Abaleevi. 503:50 nny 46-48Yasolooza ku babereberye ab’abaana ba Isirayiri effeeza ey’obuzito obwa kilo kkumi na ttaano n’ekitundu, ng’engeraageranya ya sekeri y’awatukuvu bw’eri. 51Musa n’addira ensimbi ez’okwenunula n’aziwa Alooni ne batabani be, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.