列王記Ⅰ 4 – JCB & LCB

Japanese Contemporary Bible

列王記Ⅰ 4:1-34

4

ソロモンの統治

1-6以下は、ソロモン王の閣僚名簿です。ツァドクの子アザルヤは祭司。シシャの子のエリホレフとアヒヤは書記。アヒルデの子ヨシャパテは記録作成と古文書保管の長官。エホヤダの子ベナヤは軍の最高司令官。ツァドクとエブヤタルは祭司。ナタンの子アザルヤは国務長官。ナタンの子ザブデは宮廷付き祭司で、王の相談役。アヒシャルは宮内長官。アブダの子アドニラムは労務長官。

7そのほか、ソロモンの宮廷には、各部族から一人ずつ選ばれた十二人の行政官がいて、各人が一年に一か月ずつ、王家のために交替で食糧の調達に当たりました。

8-19その十二人の名は次のとおりです。エフライムの山地を受け持つのはベン・フル。マカツ、シャアルビム、ベテ・シェメシュ、エロン・ベテ・ハナンを受け持つベン・デケル。ソコとヘフェルの全地とを含むアルボテを受け持つベン・ヘセデ。ソロモン王の娘タファテの夫で、ドルの高地を受け持つベン・アビナダブ。タナク、メギド、イズレエルの下手にあるツァレタンに近いベテ・シェアンの全土、ベテ・シェアンからアベル・メホラを越えてヨクモアムまでの全地域を受け持つ、アヒルデの子のバアナ。ギルアデにある、マナセの子ヤイルの村落を含むラモテ・ギルアデと、青銅の門のある城壁に囲まれた六十の町を含むバシャンのアルゴブ地方を受け持つベン・ゲベル。マハナイムを受け持つイドの子アヒナダブ。これもソロモン王の娘バセマテの夫で、ナフタリを受け持つアヒマアツ。アシェルとベアロテを受け持つフシャイの子バアナ。イッサカルを受け持つパルアハの子ヨシャパテ。ベニヤミンを受け持つエラの子シムイ。エモリ人のシホン王とバシャンのオグ王との領地を含む、ギルアデを受け持つ、ウリの子ゲベル。この上に長官がいて、彼らとその働きを監督していました。

20そのころ、イスラエルとユダは人口も増え、裕福な国となっていました。 21ソロモン王は、ユーフラテス川からペリシテ人の地、さらにエジプトの国境までの地を支配していました。そこに住む人々は、ソロモン王に貢ぎ物を納め、王が生きている間ずっと服従しました。

22王宮の一日分の食糧は、小麦粉三十コル(六千九百リットル)、大麦粉六十コル(一万三千八百リットル)、 23牛舎で太らせた牛十頭、放牧地で太らせた牛二十頭、羊百頭でした。そのほか、時に応じて、雄鹿、かもしか、子鹿、肥えた鳥などが調理されました。

24ソロモン王の支配は、ティフサフからガザに至る、ユーフラテス川の西の国々全部に及びました。しかも、この地方全体が平和でした。 25王の治世中、ユダとイスラエルの全国民は平和に暮らし、どの家庭も庭つきの家に住みました。 26王は、戦車を引く馬四万頭と、騎兵一万二千人を手に入れました。 27毎月、行政官たちは、王や宮廷用の食糧、 28王室の馬用の大麦とわらを用意しました。

29神はソロモン王に、豊かな知恵と理解力、さらに、どんなことにも興味を示す心をお与えになりました。 30事実、王の知恵は、どんな学者よりもまさっていたのです。 31王は、昔から知られるどんな知者よりも知恵があったので、その名声は周囲のすべての国々に広がりました。 32王は三千の格言と、一千五首の歌を作りました。 33また、動物、鳥、蛇、魚ばかりか、レバノン杉から石垣の割れ目に生えるヒソプに至るまで植物に通じる博学者でした。 34そのため多くの国々の王が、ソロモン王の助言を聞こうと使者を送って来ました。

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 4:1-34

Abakungu ba Sulemaani

1Kabaka Sulemaani n’aba kabaka wa Isirayiri yonna.

24:2 1By 6:10Era bano be baali abakungu be:

Azaliya4:2 Azaliya yali mutabani wa Akimaazi, ate Akimaazi nga mutabani wa Zadooki (2Sa 15:27, 36 ne 1By 6:8-10). Noolwekyo Azaliya muzzukulu wa Zadooki. Mu kiseera ekyo Akimaazi yali amaze okufa. Azaliya ye yali Kabona Asinga Obukulu mu biro bya Sulemaani muzzukulu wa Zadooki, yali kabona,

34:3 2Sa 8:16Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, baali bawandiisi,

Yekosafaati mutabani wa Akirudi, yali mujjukiza,

44:4 a 1Bk 2:35 b 1Bk 2:27Benaya mutabani wa Yekoyaada, yali muduumizi w’eggye omukulu,

Zadooki ne Abiyasaali baali bakabona,

5Azaliya mutabani wa Nasani, yali mukulu w’abaami,

Zabudi mutabani wa Nasani, yali kabona ate nga ye muwi wa magezi wa kabaka omukulu,

6Akisaali, yali ssabakaaki wa kabaka;

ne Adoniraamu mutabani wa Abuda, yali mukulu w’abaddu.

7Sulemaani yalina abakungu kkumi na babiri abaakuliranga Isirayiri yonna, era baavunaanyizibwanga ebyokulya bya kabaka n’ab’omu nnyumba ye. Buli omu kyamugwaniranga okusolooza ebyokulya okumala omwezi gumu buli mwaka.

84:8 Yos 24:33Era gano ge mannya gaabwe:

Benikuli, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu;

94:9 a Bal 1:35 b Yos 21:16Benidekeri, mu Makazi, mu Saalubimu, mu Besusemesi, ne mu Eroni Besukanani;

104:10 a Yos 15:35 b Yos 12:17Benikesedi, mu Alubbosi, Soko n’ensi yonna ey’e Kefera yali yiye;

114:11 Yos 11:2Beniyabinadabu eyali awasizza Tafasi muwala wa Sulemaani, mu kifo kyonna ekigulumivu eky’e Doli;

124:12 a Yos 17:11; Bal 5:19 b Yos 3:16 c 1Bk 19:16 d 1By 6:68Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, ne mu Besuseyani yonna ekiriraanye Zalesani wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola okuyita ku Yokumyamu;

134:13 a Kbl 32:41 b Ma 3:4Benigeberi, mu Lamosugireyaadi, ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase mu Gireyaadi byali bibye, era n’essaza Alugobu eriri mu Basani n’ebibuga byayo enkaaga ebyalina bbugwe ne wankaaki ow’ekikomo;

144:14 Yos 13:26Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu;

154:15 2Sa 15:27Akimaazi eyali awasizza Basemesi muwala wa Sulemaani, mu Nafutaali,

164:16 2Sa 15:32Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi;

17Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali;

184:18 1Bk 1:8Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini;

194:19 Ma 3:8-10Geberi mutabani wa Uli, mu Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w’Abamoli, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. Ye yali omwami yekka akulira essaza.

204:20 Lub 22:17; 32:12; 1Bk 3:8Abantu ba Yuda ne Isirayiri baali bangi nga bali ng’omusenyu ku lubalama lw’ennyanja, era baalyanga, ne banywanga nga basanyuka. 214:21 a 2By 9:26; Zab 72:11 b Yos 1:4; Zab 72:8 c Lub 15:18 d Zab 68:29Sulemaani n’afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ez’obulamu bwe4:21 Ensalo z’obwakabaka bwa Sulemaani zaakoma yonna Katonda gye yali asuubizza Ibulayimu (Lub 15:18-21; Ma 1:7; 11:24; Yos 1:4)..

22Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero by’obutta obulungi kilo mukaaga n’obutundu mukaaga, n’ebigero eby’obutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu n’obutundu bubiri; 23ente eza ssava kkumi, n’ente ezaavanga mu ddundiro amakumi abiri, wamu n’endiga kikumi, n’enjaza, n’empeewo, n’ennangaazi, n’enkoko ze baalondangamu. 244:24 a Zab 72:11 b 1By 22:9Yafuganga ensi yonna eri emitala w’Omugga Fulaati, okuva e Tifusa4:24 Tifusa kyali kibuga kikulu nga kisangibwa ku lubalama lw’Omugga Fulaati, nga kiri ku nsalo ey’omu bukiikakkono bw’obuvanjuba obw’obwakabaka. Gaaza ne Bufirisuuti okumpi n’ennyanja ya Meditereniyaani ye yali ensalo ey’omu bukiikaddyo bw’obuvanjuba obw’obwakabaka. okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola. 254:25 a Bal 20:1 b Yer 23:6 c Mi 4:4; Zek 3:10Mu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ng’alina ennimiro ye ey’emizabbibu n’ey’emitiini.

264:26 1Bk 10:26; 2By 1:14Sulemaani yalina ebisibo by’embalaasi ezisika amagaali enkumi nnya, n’abasajja abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri.

274:27 nny 7Abaami ba masaza, buli mwezi baalabiriranga Kabaka Sulemaani wamu n’abaatuulanga ku mmeeza ye, nga bamuweereza ebyokulya. 28Era baaleetanga sayiri n’essubi olw’embalaasi ez’embiro n’embalaasi endala, buli muntu ng’omulimu gwe bwe gwali gwe yalagirwa.

Amagezi ga Sulemaani

294:29 1Bk 3:12Katonda n’awa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo n’obugunjufu bungi, ng’omusenyu oguli ku mabbali g’ennyanja. 304:30 a Lub 25:6 b Bik 7:22Amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo okukira ag’abasajja bonna ab’ebuvanjuba4:30 Ekitundu eky’Obuvanjuba kitegeeza amawanga g’Abawalabu abaabeeranga mu buvanjuba bwa Bufirisuuti, ate n’okusinga ago ag’e Misiri. 314:31 1Bk 3:12; 1By 2:6; 6:33; 15:19; Zab 89Yali mugezi okukira abantu bonna, era n’okukira Esani Omwezulaki, ne Kemani, ne Kalukoli ne Daluda batabani ba Makoli, era erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde. 324:32 a Nge 1:1; Mub 12:9 b Lu 1:1Yagera engero enkumi ssatu, n’ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano. 33Yayogera ku bulamu bwe bimera, okuva ku muvule gwa Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe. Ate era yayogera ne ku nsolo n’ennyonyi, n’ebyewalula n’ebyennyanja. 344:34 1Bk 10:1; 2By 9:23Era abantu bangi okuva mu mawanga gonna ne bajjanga okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, nga batumiddwa bakabaka okuva mu nsi yonna, abaali bawulidde ku magezi ge.