伝道者の書 6 – JCB & LCB

Japanese Contemporary Bible

伝道者の書 6:1-12

6

1-2至るところに、悲しい不幸が見られます。ある人は神から巨万の富と名誉を与えられ、欲しいものは何でも手に入る身分でありながら、人生を楽しむだけの健康に恵まれていません。そのため早死にして、全財産を他人の手に渡すことになってしまいます。これは実に悲しむべきことで、やりきれない思いがします。

3一方でもし、百人の息子と娘に恵まれ、長寿を得ながら、わずかばかりの遺産もなく、満足な葬式さえ出せなかったとしたら、この人は生まれて来なかったほうがよかったかもしれません。 4たとえその誕生が喜ばれず、闇から闇に葬られ、名前さえつけてもらえず、 5その存在さえ知られないとしても、死産の子のほうがみじめな老人になるよりずっとましです。 6何千年生きたとしても、満足することがなければ、生きていることに何の価値があるのでしょう。

7-8知恵ある者も愚か者も、

食べ物を得るために人生を費やすが、

もうこれで十分だということはない。

そういう意味では、どちらも同じです。しかし、貧しくても知恵ある人は、ずっと良い生活をしています。 9手の中の一羽の鳥は、やぶの中の二羽より価値があります。あこがれているものを夢見ているだけであればむなしいことで、風を追いかけるようなものです。

10あらゆるものには定めがあります。それぞれの将来は、ずっと以前からわかっているのです。だから、自分の運命について神と議論しても無駄です。

11しゃべればしゃべるだけ、口にすることばの意味が薄れてきます。だから、全然しゃべらないほうがましなのです。

12短くむなしい人生を、どのように過ごすのが最善なのかはだれにもわかりません。死んだ先のことまで考えると、何が最善かを知ることはできません。将来のことがわかる人は一人もいないのです。

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 6:1-12

Obutaliimu bw’Obugagga n’Ettiibwatiibwa

1Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu. 26:2 a Zab 17:14; Mub 5:19 b Mub 5:13Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!

36:3 a Yob 3:16; Mub 4:3 b Yob 3:3Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala. 4Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya. 5Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo: 6omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?

76:7 Nge 16:26; 27:20Buli muntu ateganira mumwa gwe,

naye tasobola kukkuta by’alina.

86:8 Mub 2:15Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru?

Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala,

agasibwa ki?

96:9 Mub 1:14Amaaso kye galaba

kisinga olufulube lw’ebirowoozo.

Era na kino nakyo butaliimu,

na kugoberera mpewo.

10Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,

n’omuntu kyali kyamanyibwa,

tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi,

n’amusobola.

11Ebigambo gye bikoma obungi,

gye bikoma n’obutabaamu makulu;

kale ekyo kigasa kitya omuntu?

126:12 a Yob 10:20 b Yob 14:2; Zab 39:6; Yak 4:14Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?