ハバクク書 2 – JCB & LCB

Japanese Contemporary Bible

ハバクク書 2:1-20

2

1今、私は見張り台に立ち、

神が私の訴えにどう答えるか待っていましょう。

主の答え

2すると主はこう言いました。

「板に、わたしの答えを書き記せ。

だれでもひと目で読んで

ほかの者にすぐ伝えることができるように、

大きな字で、はっきり書きなさい。

3だが、わたしが計画しているこのことは、

今すぐには起こらない。

ゆっくりと、着実に、確かに、

幻が実現する時が近づいている。

遅いように思えても、失望してはならない。

これらのことは必ず起こる。

忍耐していなさい。

ただの一日も遅れることはない。

4今から言うことをよく聞いておけ。

このカルデヤ人たちがそうするように、

悪者は自分だけを信頼して失敗する。

だが正しい人は、わたしを信頼して生きる。

5そのうえ、このおごり高ぶったカルデヤ人は、

自分たちのぶどう酒によって裏切られる。

ぶどう酒は人を欺くものだからだ。

彼らは貪欲で、多くの国をかき集めてきたが、

まるで死や地獄のように、決して満足しない。

6捕らえられた者たちが彼らをあざける時が

こようとしている。

『強盗ども。とうとう年貢の納め時だ。

人を虐げ、ゆすり取った当然の報いを受けろ』と。」

7「突然、おまえに借りのある者たちが怒って刃向かい、

おまえの持ち物を奪い取る。

その時、おまえはなすすべもなく立ち尽くし、

震える。

8おまえは多くの国を破滅させた。

今度はおまえが破滅する番だ。

人殺しめ。

おまえは田舎とすべての町を無法状態にした。

9邪悪な手段で富を得ながら、

危険を逃れて生きようとしているおまえは災いだ。

10殺人を犯すことで自分の名を辱め、

いのちさえ失っている。

11まさに、自分の家の壁の石がおまえを訴え、

天井の梁がそれに同調している。

12殺人と強奪で得た金で町を築くおまえは災いだ。

13主に逆らう国々の利益は

彼らの手の中で灰になると、主は定めていなかったか。

彼らがどんなに精を出しても、すべてが水の泡だ。

14(海が水で満たされているように、

全地が主の栄光を知ることで満たされる時がくる。)

15酔っぱらいをこづくように、

近隣の国々をよろめかせ、

その裸と恥を眺めて楽しんでいるおまえは災いだ。

16やがておまえの全盛期は終わり、辱められる。

神のさばきの杯を飲み干すがいい。

よろめいて倒れよ。

17おまえはレバノンの森を切り倒した。

今度はおまえが切り倒される。

おまえは罠で捕らえた野獣を恐ろしい目に会わせた。

今度はおまえが恐ろしい目に会う。

至るところの町々で、殺人と暴虐を行ったからだ。

18人間が造った偶像を拝んで、何の得があったのか。

そんな物が助けになるなど、全く愚かなうそだ。

自分で造った物を信頼していたとは、

なんと愚かな者か。

19いのちのない木の偶像に、

起きて自分たちを救えと命じる者、物言わぬ石に、

何をすべきか教えてほしいと呼びかける者は災いだ。

偶像は、神の代わりに語ることができるのか。

金銀で覆われているが、その中にいのちは全くない。

20しかし主は、ご自分の聖なる神殿にいる。

全地はその御前に静まれ。」

Luganda Contemporary Bible

Kaabakuuku 2:1-20

Obulamu eri Abatuukirivu

12:1 a Is 21:8 b Zab 48:13 c Zab 85:8 d Zab 5:3Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera

ntunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu

nnindirire ky’aliŋŋamba,

era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kw’abantu.

22:2 Kub 1:19Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti,

“Wandiika okwolesebwa okwo ku bipande.

Kuwandiike bulungi

ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.

32:3 a Dan 8:17; 10:14 b Zab 27:14 c Ez 12:25; Beb 10:37-38Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.

Kwogera ku by’enkomerero

ate si kwa bulimba.

Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire,

kujja kutuukirira, tekugya kulwa.

42:4 Bar 1:17*; Bag 3:11*; Beb 10:37-38*“Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa,

naye omutuukirivu aliba mulamu olw’obwesigwa bwe.”

Akabi eri Aboonoonyi

52:5 a Nge 20:1 b Nge 27:20; 30:15-16Weewaawo, omwenge mulimba

guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako.

Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa.

Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta,

amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako

ne gugafuula abasibe.

62:6 a Is 14:4 b Am 2:8“Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti,

“ ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye!

Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’

72:7 Nge 29:1Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde,

era tebalizuukuka ne bakweraliikiriza?

Oliba togudde mu mikono gyabwe?

82:8 a Is 33:1; Zek 2:8-9 b nny 17Kubanga onyaze amawanga mangi,

abantu abasigaddewo balikunyaga;

Oyiye omusaayi gw’abantu,

n’oyonoona ensi n’ebibuga n’abantu bonna ababibeeramu.”

92:9 Yer 22:13Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,

azimba ekisu kye waggulu,

okwekuuma obutatuukwako kabi!

102:10 a Yer 26:19 b nny 16Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi,

n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.

112:11 Yos 24:27; Luk 19:40Amayinja g’oku bbugwe galikaaba,

n’emikiikiro gy’ebibajje girikyasanguza.

122:12 Mi 3:10Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi,

atandika ekibuga n’obutali butuukirivu.

132:13 a Is 50:11 b Is 47:13Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye

nti okutegana kw’abantu nku buku za muliro,

n’amawanga geemalamu ensa olw’ebintu ebitaliimu?

142:14 a Kbl 14:21 b Is 11:9Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,

ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.

15Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza

n’akibafukira okuva mu kita n’abawa banywe okutuusa lwe batamiira

asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!

162:16 a nny 10 b Kgb 4:21 c Is 51:22Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa.

Naawe olinywa n’oswala.

Ekikompe eky’omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gy’oli,

n’ensonyi ez’obuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.

172:17 a Yer 51:35 b Yer 50:15 c nny 8Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni,

n’okutta ensolo, birikutiisa.

Osse abantu

n’ozikkiriza ensi n’ebibuga n’abantu ababibeeramu.

182:18 a Yer 5:21 b Zab 115:4-5; Yer 10:14“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.

Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba?

Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye

nga akola ebifaananyi ebitayogera!

192:19 a 1Bk 18:27 b Yer 10:4Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’

agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’

Kino kisobola okuluŋŋamya?

Kibikiddwa zaabu ne ffeeza,

so tekiriimu bulamu n’akatono.

202:20 a Zab 11:4 b Is 41:1Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu:

ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”