エゼキエル書 13 – JCB & LCB

Japanese Contemporary Bible

エゼキエル書 13:1-23

13

さばきを受ける偽預言者

1それから、次のようなことばがありました。

2-3「人の子よ、イスラエルの偽預言者どもに預言しなさい。彼らは自分勝手に幻を考え出し、わたしが何も語らないのに、わたしからのお告げだと主張している。そのような者はのろわれるべきだ。 4ああ、イスラエルよ。あなたの預言者どもは、まるで廃墟にいるきつねのように城壁再建の役には立たない。 5ああ、悪い預言者ども。敵の攻撃に備えて城壁を補強し、主によってイスラエルを強化するために、おまえたちは何をしたのか。 6かえって、『これは神からのお告げです』と言って、偽りを語っている。わたしはおまえたちなど遣わさなかった。それなのに、自分たちの預言が実現することを期待している。 7見たこともないのに幻を見たと言ったり、わたしが何も語らないのに、『このお告げは神からのものです』と言ったりしたことを否定できるのか。」

8それゆえ、神である主は語ります。「わたしはこれらの幻と偽りのゆえに、おまえたちを滅ぼそう。 9わたしはおまえたちに向かい、イスラエルの指導者の中から切り捨てる。おまえたちの名を消し去る。おまえたちは二度と祖国を見ることがない。その時、おまえたちは、わたしが主であることを知る。 10まことに、この悪者どもは、『神は平安を下さる』と言って、わたしの民を惑わしている。彼らに平安を与えることなど、わたしの計画には全く入っていない。わたしの民はもろい壁を建てているのに、偽預言者どもはそれをほめそやし、しっくいで上塗りをしている。

11その者たちに、『その壁は倒れるぞ』と警告せよ。大雨が土台を浸食し、大粒の雹と激しい風が壁を打ち倒す。 12壁が倒れると、人々は、『なぜ初めから、それではだめだと注意してくれなかったのだ。なぜ、上塗りをして欠陥を覆うようなことをしたのだ』と叫ぶ。 13壁は必ず倒れるのだ。」そう主は言います。「わたしは怒りの嵐と洪水と雹とによって、壁をなぎ倒す。 14しっくいで上塗りした壁を打ち壊す。壁はおまえたちの上に倒れて、おまえたちを押しつぶす。その時、おまえたちは、わたしが主であることを知る。 15こうして、わたしの怒りは消える。それで、壁をほめそやした者どもについてわたしは、『壁も、それを建てた者たちも消え去った』と言おう。 16彼らはまさしく偽預言者だった。ほんとうは平安がないのに、エルサレムには平安がある、と言っていたのだ。」神である主がこう語るのです。

17-18「人の子よ。主からお告げを与えられているかのように装っている女預言者どもに、神である主はこう言うと語れ。『人々の手首に魔術のお札を結び、魔術のベールをかぶらせ、わたしの民のたましいを破滅させている女たちはのろわれよ。この女たちは、自分に利益がないと知ると、すぐに援助の手を引っ込める。 19ほんの一つかみの大麦のために、あるいは、ほんの一切れのパンのために、わたしの民をわたしから去らせようとするのか。おまえたちは、死んではならない者を死に追いやったのだ。わたしの民を欺き、生きていてはならない者にいのちを約束している。そうするのが、彼女たちの好む手口だ。』」

20主は語ります。「おまえたちがわたしの国民のたましいを魔術にかけているので、おまえたちを押し倒す。わたしは魔術のひもを引きちぎり、かごの鳥を放つように、わたしの民を解放する。 21魔術のベールも引き裂き、おまえたちの手からわたしの民を救い出す。もう彼らは、おまえたちの餌食ではない。その時、おまえたちも、わたしが主であることを知る。 22おまえたちの偽りは、わたしの意に反して、正しい人を落胆させた。それどころか、罪の生活を続ける者たちにいのちの約束をして、その悪者どもを力づけるようなことまでしたのだ。 23だが、もうそんなことは許されない。見たこともない幻を見たと言ったり、魔術をしたりすることもできなくなる。わたしがおまえたちを滅ぼして、わたしの民をおまえたちの手から救い出すからだ。こうしておまえたちも、わたしが主であることを知る。」

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 13:1-23

Bannabbi Aboobulimba Basalirwa Omusango

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira ng’agamba nti, 213:2 nny 17; Yer 23:16; 37:19“Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri bannabbi ba Isirayiri aboogera obunnabbi kaakano. Tegeeza abo aboogera obunnabbi bwe bayiiyizza nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama. 313:3 a Kgb 2:14 b Yer 23:25-32Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe ate nga tebalina kye balabye. 4Isirayiri, bannabbi bo bali ng’ebibe ebitambulatambula mu bifulukwa. 513:5 a Is 58:12; Ez 22:30 b Ez 7:19Temwambuse kuddaabiriza bbugwe n’okuziba ebituli ebirimu ku lw’ennyumba ya Isirayiri, esobole okuyimirira nga ngumu mu lutalo ku lunaku lwa Mukama Katonda. 613:6 Yer 28:15; Ez 22:28Okwolesebwa kwabwe kukyamu, n’okubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. Mukama ne bw’aba tabatumye boogera nti, “bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde. 7Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera n’okubikkulirwa okw’obulimba, bwe mwogedde nti, “Mukama bw’ati bw’ayogera,” newaakubadde nga mba soogedde?

8“ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, olw’ebigambo byo ebikyamu n’olw’okwolesebwa kwo okw’obulimba, ndi mulabe wo. 913:9 a Yer 17:13 b Ez 20:38Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okw’obulimba. Tebalituula mu kibiina eky’abantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala z’ennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze Mukama Katonda.

1013:10 a Yer 50:6 b Ez 7:25; 22:28“ ‘Olw’okuba nga babuzaabuza abantu bange nga boogera nti, “Mirembe,” ate nga tewali mirembe, ate bwe bazimba bbugwe omunafu, ne basiigako langi okubikka bye batazimbye bulungi, 1113:11 Ez 38:22kyonoova ogamba abo ababikkirira ne langi nti bbugwe aligwa. Enkuba eritonnya nnyo, era ndisindika omuzira, n’embuyaga ez’amaanyi zirikunta. 12Bbugwe bw’aligwa, abantu tebalikubuuza nti, “Langi gye wasiigako eruwa?”

1313:13 a Kub 11:19; 16:21 b Kuv 9:25; Is 30:30“ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mu kiruyi kyange ndisindika kibuyaga ow’amaanyi, ne mu busungu bwange ndisindika omuzira, ne mu bukambwe obungi enkuba ennyingi ennyo eritonnya okukizikiriza. 1413:14 a Mi 1:6 b Yer 6:15Ndimenya bbugwe gwe mwasiiga langi musaasaanye ku ttaka, n’omusingi gwe gusigale nga gwasaamiridde. Bw’aligwa, alikugwiira n’ozikirizibwa, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda. 15Ndimalira ekiruyi kyange ku bbugwe ne ku abo abaakisiiga langi, nga ŋŋamba nti, “Bbugwe agenze, era abaamusiiga langi nabo balugenze, 1613:16 Is 57:21; Yer 6:14abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera eby’obunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa ow’emirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.” ’

1713:17 a Kub 2:20 b nny 2“Kaakano omwana w’omuntu, amaaso go gateeke ku bawala b’abantu bo aboogera eby’obunnabbi bye bayiiyizza. Bawe obunnabbi, oyogere nti, 18‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo eby’obulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ez’enjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bw’abantu bange, naye ne weesigaliza obubwo? 1913:19 a Ez 20:39; 22:26 b Nge 28:21Onswazizza mu bantu bange olw’embatu entono eza sayiri n’olw’obukunkumuka bw’emigaati, bw’osse abantu abatateekwa kuttibwa, ate n’oleka abatateekwa kuba balamu, ng’obalimba nabo ne bawuliriza eby’obulimba.

20“ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndi mulabe w’obulogo bwo, bw’okozesa okuteega abantu ng’ateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ng’ebinyonyi n’obasiba. 2113:21 Zab 91:3Ndiyuza ebyambalo byo ebyokwebikkirira, ne mponya abantu bange mu mikono gyo, ne bataddayo kugwa mu mutego gwa buyinza bwo, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda. 2213:22 Yer 23:14; Ez 33:14-16Kubanga wanakuwaza abatuukirivu n’obulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olw’okuleetera abakozi b’ebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, n’owonya obulamu bwabwe, 2313:23 a nny 6; Ez 12:24 b Mi 3:6ky’oliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze Mukama Katonda.’ ”