へブル人への手紙 8 – JCB & LCB

Japanese Contemporary Bible

へブル人への手紙 8:1-13

8

キリストがささげるいけにえ

1以上述べてきたことを要約すると、次のようになります。私たちの大祭司はキリストであり、現在、天において神の右の座についておられます。 2このお方は、人間の手によらず、主によって建てられた天の神殿で祭司の仕事をしておられます。

3大祭司の務めは、供え物といけにえとをささげることです。ですからキリストも、その務めをなさいます。 4この方のいけにえは、地上の祭司たちがささげるいけにえよりはるかにまさっています。〔しかし、もしキリストが今なお地上におられるとしたら、決して祭司にはなられなかったでしょう。この地上には、ユダヤ人の古いいけにえの制度を守る祭司がいるからです。〕

5地上の祭司が奉仕をする神殿は、天にある本物の神殿をまねて造ったものにすぎません。幕屋(イスラエルの民が荒野で神を礼拝した聖所)を建てようとしたモーセは、シナイ山で神から指示を受け、天にある幕屋の型に寸分たがわないものを造るようにと命じられたのです。 6しかし今、キリストは天における祭司として、古い契約に従っている祭司たちより、はるかに重要な任務をゆだねられています。キリストが私たちに伝えてくださる神の新しい契約には、さらにすばらしい約束が含まれているのです。

7古い契約はもはや無効になりました。もし効力があれば、別の新しい契約を立てる必要はなかったでしょう。 8しかし神は、古い契約の欠陥を指摘して、次のように言われました。「わたしが、イスラエルやユダの民と新しい契約を結ぶ日が来る。 9この契約は、彼らの先祖の手を引いて、エジプトの地から導き出した日に与えた古い契約とは異なるものである。彼らはそれを守らなかったので、わたしは無効にしなければならなかった。 10ここにわたしは、イスラエルの民と新しい契約を結ぶ。わたしはこの律法を彼らの心に刻む。そうすれば、何も言わなくても、彼らに、わたしの思いがはっきりわかるようになる。心の中に律法があるので、彼らは喜んで従うようになるだろう。こうして、わたしは彼らの神となり、彼らはわたしの民となる。 11その日にはだれも、友人や隣人、兄弟に向かって、『あなたも、主を知りなさい』と言う必要がなくなる。なぜなら、どんな人でも、わたしを知るようになるからだ。 12わたしは彼らの悪い行いに対してあわれみを示し、その罪を二度と思い出さない。」エレミヤ31・31-34

規則にすぎない古い制度

13神は、古い契約に代わる新しい契約について語っておられるのです。古いものは過去のものとなり、消え去っていきます。

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 8:1-13

Kabona Omukulu ow’Endagaano Empya

18:1 Beb 2:17Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogw’entebe ya Katonda ey’obwakabaka mu ggulu, 28:2 Beb 9:11, 24omuweereza w’ebitukuvu, era ow’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’amazima, etaazimbibwa bantu wabula Mukama.

38:3 a Beb 5:1 b Beb 9:14Kubanga Kabona Asinga Obukulu yenna alondebwa olw’omulimu ogw’okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka, bwe kityo n’oyo kyamugwanira okuba n’ekintu ky’awaayo. 48:4 Beb 5:1Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng’amateeka bwe galagira. 58:5 a Beb 9:23 b Bak 2:17; Beb 10:1 c Beb 11:7; 12:25 d Kuv 25:40Kye bakola kifaananako bufaananyi era kisiikirize ky’ebyo ebikolebwa mu ggulu. Musa kyeyava alabulwa, bwe yali ng’anaatera okumaliriza weema, Mukama n’amugamba nti, “Bw’oba ng’ozimba, goberera entegeka yonna eyakulagirwa ku lusozi.” 68:6 a Luk 22:20 b Beb 7:22Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n’endagaano gy’alimu ng’omutabaganya y’esinga obulungi, n’ebisuubizo kw’enyweredde, bye bisinga obulungi.

78:7 Beb 7:11, 18Singa endagaano eyasooka teyaliiko kyakunenyezebwa, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri. 88:8 Yer 31:31Kubanga bw’abanenya ayogera nti,

“Laba ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,

“ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri,

awamu n’ennyumba ya Yuda.

98:9 Kuv 19:5, 6Endagaano eno empya terifaanana n’eri gye nalagaana ne bajjajjaabwe

lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y’e Misiri.

Olw’okubanga tebaagoberera ndagaano yange,

nange ssaabassaako mwoyo,”

bw’ayogera Mukama.

108:10 a 2Ko 3:3; Beb 10:16 b Zek 8:8“Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri,

oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.

Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe

era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe,

nange nnaabeeranga Katonda waabwe,

nabo banaabeeranga bantu bange.

118:11 Is 54:13; Yk 6:45Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ng’agamba nti,

‘Manya Mukama,’

Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu

bonna balimmanya.

128:12 a Beb 10:17 b Bar 11:27Era ndibasaasira,

n’ebibi byabwe siribijjukira nate.”

138:13 2Ko 5:17Katonda bw’ayogera ku ndagaano empya, olwo ng’andibizza ey’edda; n’eyo gy’adibizza n’okukaddiwa n’ekaddiwa, eriggwaawo.