אגרת פולוס השנייה אל-הקורנתים 12 – HHH & LCB

Habrit Hakhadasha/Haderekh

אגרת פולוס השנייה אל-הקורנתים 12:1-21

1התפארות זאת טיפשית כל־כך, אך הרשו לי להמשיך. ברצוני לספר לכם על חזיונות והתגלויות שהיו לי מאת האדון.

2‏-3אני מכיר מאמין אחד שנלקח לשמים לפני ארבע־עשרה שנים. אני יודע שהאיש הזה (אם בגוף ממש או שבנפרד מגופו רק האלוהים יודע). 4נלקח לשמים ושמע דברים כה מדהימים, עד כי לא ניתן לבטאם, ואסור לחזור עליהם. 5חוויה כזאת ראויה להתגאות בה, אך איני מתכוון לעשות כן. אתגאה רק בחולשותיי. 6לא חסר לי במה להתגאות, ואף לא אנהג כשוטה אם אתגאה, אך איני רוצה שאיש יחשבני ליותר ממה שראה במעשי ובדיבורי.

7על־מנת שלא אתמלא יהירות בגלל הדברים הנפלאים שראיתי, ניתנה לי קוץ בבשרי, שליח מאת השטן להטרידני ולעקוץ את גאוותי. 8שלוש פעמים התחננתי לאלוהים שייקח אותו ממני, 9ברם בכל פעם האדון אמר לי: ”לא. אך אני אתך, ואינך זקוק ליותר. גבורתי נשלמת בחולשתך.“ עתה אני שמח להתגאות בחולשתי; במקום שאפגין את כוחי ויכולתי, אני שמח להיות דוגמה חיה לגבורת המשיח. 10הואיל ואני יודע שחולשתי מפארת את המשיח, אני שמח ב”קוץ“ הזה שבבשרי, בעלבונות, בצרות, ברדיפות ובמצוקות. שכן בהיותי חלש, אז אני חזק – ככל שאני חלש יותר כך אני תלוי יותר במשיח.

11אני מתנהג כשוטה, אך אתם גרמתם לכך. אתם הייתם צריכים להתגאות בי, כי למרות שאני כאין וכאפס, איני נופל במאומה מהשליחים ”הנפלאים“. 12כבר הוכחתי לכם שאכן אלוהים עצמו שלחני אליכם, שהרי בסבלנות רבה חוללתי ביניכם נסים, נפלאות ואותות גבורה. 13מדוע אתם מרגישים נחותים מהקהילות האחרות? האם משום שלא הנחתי לכם לתמוך בי כספית? אנא, סלחו לי על העוול הנורא הזה!

14עתה אני בא לבקרכם בפעם השלישית, וגם הפעם לא יעלה לכם הדבר פרוטה. איני מעוניין בכספכם, אלא בכם! אחרי הכול, הילדים אינם צריכים לכלכל את הוריהם אלא להיפך, על ההורים לכלכל את ילדיהם. 15אני מוכן בשמחה לתת לכם את עצמי ואת כל אשר לי למען טובתכם הרוחנית, אם כי נראה שככל שאני אוהב אתכם יותר, אתם אוהבים אותי פחות.

16אחדים מכם אומרים: ”אמנם נראה שביקוריו לא עלו לנו דבר, אך הפולוס הזה איש ערמומי ואין ספק ששיחק בנו. הוא ודאי הרוויח מאתנו כסף איכשהו!“

17אך כיצד? האם ניצל אתכם אחד מהאנשים אשר שלחתי אליכם?

18כשהאצתי בטיטוס לבקרכם ושלחתי עמו אח נוסף, האם הם רימו או ניצלו אתכם? ודאי שלא. הרי אנחנו פועלים מתוך אותם המניעים ומתנהגים באותה דרך.

19החושבים אתם שאנו מנסים להצטדק לפניכם? אם כן, אתם טועים! לנוכח אלוהים אני אומר לכם שהדברים נאמרו למענכם, ידידים יקרים, כדי לעזור לכם להיבנות באופן רוחני. 20אני חושש שמא בבואי אליכם לא ימצא־חן בעיני מה שאראה, והצעדים שאאלץ לנקוט לא ימצאו חן בעיניכם. אני חושש שמא אמצא בקרבכם מריבה, קנאה, רוגז אנוכיות, רכלנות, הוצאת־דיבה, יהירות ומבוכה. 21אכן, אני חושש שמא בשובי אליכם ישפילני אלוהים לפניכם, ואתאבל על רבים מכם אשר חטאו זה מכבר ולא חזרו בתשובה על מעשיהם הבלתי־מוסריים, על זנות וזימה.

Luganda Contemporary Bible

2 Abakkolinso 12:1-21

Okwolesebwa ate n’eriggwa mu bulamu bwa Pawulo

112:1 a 2Ko 11:16, 30 b nny 7Kiŋŋwanidde okwenyumiriza, newaakubadde nga tekugasa. Naye ka njogere ku kwolesebwa n’okubikkulirwa kwa Mukama waffe. 212:2 a Bik 8:39 b Bef 4:10 c 2Ko 11:11Waliwo omusajja wa Kristo gwe mmanyi, emyaka kkumi n’ena egiyise yatwalibwa mu ggulu eryokusatu. Naye oba yatwalibwa ng’ali mu mubiri, oba nga tali mu mubiri, nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi. 3Era mmanyi ng’omuntu oyo, oba mu mubiri oba ng’aggiddwa mu mubiri nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi, 412:4 Luk 23:43; Kub 2:7nga yatwalibwa mu nnimiro lwa Katonda n’awulira ebintu bingi eby’ekyewuunyo omuntu by’atakkirizibwa kwatula. 5Ku bw’omuntu oyo nzija kwenyumiriza naye ku bwange siryenyumiriza, okuggyako mu bunafu bwange. 612:6 2Ko 11:16Naye ne bwe nandiyagadde okwenyumiriza, sandibadde musirusiru kubanga nandibadde njogera mazima, naye saagala muntu yenna andowoozeeko nti ndi wa waggulu nnyo okusinga we yandintadde ng’asinziira ku ebyo by’andabamu oba by’ampulirako, 712:7 Kbl 33:55okusingira ddala okubikkulirwa kwe nafuna. Noolwekyo olw’obutagulumizibwa nnyo, kyenava nfumitibwa eriggwa mu mubiri, ye mubaka wa Setaani, ankube nneme okugulumizibwa ennyo.

812:8 Mat 26:39, 44Emirundi esatu egy’enjawulo nga nsaba Mukama amponye eriggwa eryo. 912:9 Baf 4:13Buli mulundi ng’aŋŋamba nti, “Ekisa kyange kikumala, kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” Noolwekyo kyennaavanga nneegulumiza n’essanyu lingi olw’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke galabisibwe. 1012:10 a 2Ko 6:4 b Bar 5:3; 2Bs 1:4 c 2Ko 13:4Kyenva nsanyukira mu bunafu, mu kuvumibwa, mu bizibu, mu kuyigganyizibwa, mu binzitoowerera, ku lwa Kristo, kubanga buli bwe mba omunafu, olwo nga ndi wa maanyi.

Pawulo alumirwa Abakkolinso

1112:11 a 2Ko 11:1 b 2Ko 11:5 c 1Ko 15:9, 10Naye mwampaliriza okufuuka omusirusiru. Noolwekyo mmwe musaana okunjogerako kubanga abatume abakulu abawagulu tebalina na kimu kye bansinza, newaakubadde nga nze siri kintu. 1212:12 Yk 4:48Eky’amazima obubonero obw’omutume bwakolerwa mu mmwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero ne mu byewuunyo, ne mu bikolwa eby’amaanyi. 1312:13 a 1Ko 9:12, 18 b 2Ko 11:7Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingira, wabula nze kennyini obutabazitoowereranga. Munsonyiwe ekyonoono ekyo.

1412:14 a 2Ko 13:1 b 1Ko 4:14, 15 c Nge 19:14Laba guno mulundi gwa kusatu nga nneeteeseteese okujja gye muli, era sijja kubazitoowerera, kubanga ebyammwe si bye njagala, wabula njagala mmwe. N’ekirala, mmwe muli baana bange; abaana si be baterekera bazadde baabwe eby’obugagga, wabula abazadde be baterekera abaana baabwe. 1512:15 Baf 2:17; 1Bs 2:8Naye nzija kusanyuka nnyo okwewaayo gye muli, nze ne byonna bye nnina olw’emyoyo gyammwe, newaakubadde nga nze gye nkoma okubaagala ennyo, ate mmwe okwagala kwammwe gye ndi gye kukoma okukendeera. 1612:16 2Ko 11:9Naye mukkirize nti ssabazitoowerera; naye ne ngerengetanya ne mbatega mu lukwe. 17Mu abo be nabatumira, ani gwe nakozesa okubafunamu amagoba? 1812:18 a 2Ko 8:6, 16 b 2Ko 8:18Nakuutira Tito okujja, ne ntuma n’owooluganda omulala awamu naye; Tito yeeyabafunako amagoba? Tetwatambulira mu mwoyo gumu? Tetwatambulira mu kisinde kimu?

Okutya kwa Pawulo n’okweraliikirira

1912:19 a Bar 9:1 b 2Ko 10:8Obw’edda mwalowooza nga mwetoowaza mu maaso ga Katonda. Naye abaagalwa ebintu byonna tubyogerera mu Kristo olw’okubazimba. 2012:20 a 2Ko 2:1-4 b 1Ko 4:21 c 1Ko 1:11; 3:3 d Bag 5:20 e Bar 1:29 f 1Ko 14:33Kubanga kye ntya oboolyawo kwe kubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; oboolyawo nga waliwo okuyomba, n’obuggya, n’obusungu, n’okwawukana, n’okugeyaŋŋana, n’olugambo, n’okwekuluntaza, n’okutabukatabuka; 2112:21 a 2Ko 2:1, 4 b 2Ko 13:2bwe ndijja nate, Katonda wange aleme kuntoowaza mu maaso gammwe, ne nkaabira abo bonna abaayonoona edda, ne bateenenya obutali bulongoofu, n’obwenzi, n’obugwagwa bye baakola.