Hebrejima 13 – CRO & LCB

Knijga O Kristu

Hebrejima 13:1-25

Završne napomene

1Neka vaša bratska ljubav ne umine. 2Ne zanemarujte gostoljubivost jer su neki, i ne znajući, ugostili anđele! 3Ne zaboravljajte uznike u zatvoru. Suosjećajte s njima kao da ste i sami ondje. Suosjećajte sa zlostavljanima kao da njihove nevolje trpite na vlastitom tijelu.

4Poštujte svoj brak i budite jedni drugima vjerni u braku. Bog će sigurno osuditi sve bludnike i preljubnike.

5Klonite se pohlepe za novcem, budite zadovoljni onim što imate. Jer Bog je rekao:

“Nikada te neću napustiti ni iznevjeriti!”13:5 Ponovljeni zakon 31:6, 8.

6Zato s pouzdanjem možemo reći:

“Gospodin je moj pomagač

i zato se ne bojim.

Što mi mogu učiniti obični smrtnici?”13:6 Psalam 118:6-7.

7Sjećajte se svojih starješina koji su vam govorili Božju riječ. Razmišljajući o tome kako su živjeli i umrli, pouzdajte se u Boga kao i oni. 8Isus Krist isti je jučer, danas i dovijeka će biti isti.

9Ne dajte se zavesti raznim tuđim učenjima! Izvor vaše duhovne snage je Božja milost, a ne obredna pravila o hrani, koja ne koriste onima koji ih obdržavaju. 10Mi imamo oltar s kojega ne mogu jesti poslužitelji zemaljskoga Šatora.

11Po židovskome Zakonu veliki svećenik u Svetinju prinosi životinjsku krv kao žrtvu za grijehe, ali životinjska tijela spaljuju se izvan tabora. 12Zato je i Isus trpio izvan gradskih vrata, da posveti svoj narod svojom krvlju. 13Iziđimo stoga k njemu, izvan tabora, i nosimo njegovu sramotu. 14Jer mi ovdje nemamo trajnoga grada. Iščekujemo svoj vječni grad u nebu.

15S Isusovom pomoći prinosimo neprekidno svoju žrtvu hvale Bogu slaveći usnama njegovo ime! 16Ne zaboravljajte činiti dobro i dijeliti s onima koji su u potrebi jer su takve žrtve drage Bogu!

17Slušajte svoje starješine i činite kako vam kažu. Njihova je zadaća da bdiju nad vašim dušama i za to će odgovarati Bogu. Trudite se da to mogu obavljati radosno, a ne uzdišući, jer to ni za vas nije dobro.

18Molite se za nas. Savjest nam je čista i u svemu se želimo ponašati kako dolikuje. 19Usrdno vas molim, molite se da se što prije vratim k vama.

20Neka vas Bog mira, koji je zbog krvi vječnoga saveza uskrisio od mrtvih velikoga Pastira, našega Gospodina Isusa Krista, 21osposobi da činite svako dobro djelo i da vršite njegovu volju. Neka on čini u nama što je njemu drago, po Isusu Kristu kojemu slava u vijeke vjekova. Amen.

22Molim vas, draga braćo, poslušajte riječi ohrabrenja koje sam vam ukratko napisao!

23Znajte da je brat Timotej izišao iz zatvora. Ako ubrzo dođe, posjetit ću vas skupa s njime.

24Pozdravite sve starješine i sve svete. Pozdravljaju vas braća iz Italije.

25Neka Božja milost bude sa svima vama. Amen.

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 13:1-25

113:1 Bar 12:10; 1Pe 1:22Mweyongere okwagalananga ng’abooluganda. 213:2 a Mat 25:35 b Lub 18:1-33Temwerabiranga kusembeza bagenyi, kubanga waliwo abaasembeza bamalayika nga tebagenderedde. 313:3 Mat 25:36; Bak 4:18Mujjukirenga abasibe abali mu kkomera, nga muli nga abaasibirwa awamu n’abo. Munakuwaliranga wamu nabo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe muli mu mubiri.

413:4 1Ko 6:9Obufumbo mubussangamu ekitiibwa n’ebirayiro byabwo, kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga. 513:5 a Baf 4:11 b Ma 31:6, 8; Yos 1:5Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti,

“Sirikuleka

era sirikwabulira n’akatono.”

6Kyetuva twogera n’obuvumu nti,

“Mukama ye mubeezi wange, siityenga,

omuntu ayinza kunkola ki?”

713:7 a nny 17, 24 b Beb 6:12Mujjukirenga abakulembeze bammwe abaababuulira ekigambo kya Katonda, nga mutunuulira empisa zaabwe nga mugobereranga okukkiriza. 813:8 Beb 1:12Yesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bw’ali era bw’aliba emirembe n’emirembe. 913:9 a Bef 4:14 b Bak 2:7 c Bak 2:16Temusendebwasendebwanga kuyigiriza okw’engeri ennyingi ezitamanyiddwa. Kubanga kirungi omutima okunywezebwa ekisa, so si mu byokulya ebitagasa abo ababirya. 1013:10 1Ko 9:13; 10:18Tulina ekyoto, abaweereza mu weema ey’Okukuŋŋaanirangamu kye batalina buyinza kuliirangako.

1113:11 Kuv 29:14; Lv 16:27Kabona Asinga Obukulu yatwalanga omusaayi gw’ebisolo, olw’ebibi, mu kifo ekitukuvu era n’ennyama yaabyo n’eyokerwa ebweru w’olusiisira. 1213:12 Yk 19:17Noolwekyo ne Yesu kyeyava abonaabonera era n’afiira ebweru w’ekibuga alyoke atutukuze n’omusaayi gwe ye. 1313:13 Beb 11:26Kale naffe tufulume tulage gy’ali ebweru w’olusiisira nga twetisse ekivume kye. 1413:14 Baf 3:20Kubanga wano ku nsi tetulinaawo kibuga kya lubeerera, wabula tulindirira ekyo ekijja.

1513:15 a 1Pe 2:5 b Kos 14:2Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka ey’okutendereza Katonda, kye kirabo eky’emimwa, nga twatula erinnya lye. 1613:16 a Bar 12:13 b Baf 4:18Temwerabiranga kukola bulungi n’okugabananga; kubanga ssaddaaka eziri ng’ezo Katonda zimusanyusa. 1713:17 Is 62:6; Bik 20:28Muwulirenga abakulembeze bammwe era mubagonderenga, kubanga obuweereza bwabwe kwe kulabirira emyoyo gyammwe, balyoke bakikole n’essanyu nga tebeemulugunya. Kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe.

1813:18 a 1Bs 5:25 b Bik 23:1Mutusabirenga, kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo mulungi, era twagala okukolanga obulungi mu buli kimu. 1913:19 Fir 22Era okusinga ennyo mbeegayirira munsabire ndyoke nkomewo mangu gye muli.

2013:20 a Bar 15:33 b Is 55:3 c Bik 2:24 d Yk 10:11Kale, Katonda ow’emirembe eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba w’endiga omukulu ow’endagaano etaggwaawo gye yanyweza n’omusaayi gwe, 2113:21 a Baf 2:13 b 1Yk 3:22 c Bar 11:36abawe buli kirungi kyonna kye mwetaaga okubasobozesa okukola by’ayagala, era atukozese ebisiimibwa mu maaso ge ng’ayita mu Yesu Kristo. Aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

2213:22 1Pe 5:12Kaakano mbakuutira abooluganda, mugumiikirizenga ebibabuulirirwa, kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono.

2313:23 Bik 16:1Mbategeeza nti muganda waffe Timoseewo yateebwa, bw’alijja amangu, ndijja naye eyo okubalaba.

2413:24 nny 7, 17Mulamuse abakulembeze bammwe era n’abakkiriza bonna.

Ab’omu Italiya babalamusizza.

25Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.