Djela Apostolska 4 – CRO & LCB

Knijga O Kristu

Djela Apostolska 4:1-37

Petar i Ivan pred Vijećem

1Dok su Petar i Ivan još govorili narodu, priđu im svećenici, zapovjednik hramske straže i neki saduceji. 2Uznemirilo ih je što su, na Isusovu primjeru, navješćivali uskrsnuće od mrtvih. 3Uhite ih zato i, kako je već bila večer, bace u tamnicu do jutra. 4Ali mnogi koji su ih čuli kako propovijedaju Riječ povjerovali su i broj vjernika uvećao se na otprilike pet tisuća, ne brojeći žene i djecu.

5Sutradan se u Jeruzalemu sastanu poglavari, starješine i pismoznanci. 6Bio je ondje veliki svećenik Ana s Kaifom, Ivanom, Aleksandrom i drugima iz velikosvećeničke loze. 7Dozovu pred sebe apostole i upitaju ih: “Kakvom silom i u čije ime ste to učinili?”

8Petar im, pun Svetoga Duha, reče: “Narodni poglavari i starješine! 9Odgovaramo li mi to zbog dobroga djela koje smo učinili bolesnu čovjeku? Želite li znati kako je iscijeljen? 10Znajte i vi, i cijeli izraelski narod, da taj čovjek stoji pred vama zdrav jer je iscijeljen po imenu Isusa Krista iz Nazareta, kojega ste vi raspeli, ali ga je Bog uskrisio od mrtvih! 11Jer Isus je taj ‘kamen’ koji ste vi ‘graditelji’ odbacili, a koji je ‘postao ugaonim kamenom’.4:11 Psalam 118:22.

12Ni po kome drugome nema spasenja! Nema drugoga imena pod nebom po kojemu se ljudi mogu spasiti.”

13Članove Vijeća zaprepastila je Petrova i Ivanova neustrašivost jer su mogli jasno vidjeti da su neizobraženi i neuki ljudi. Znali su da su bili sa Isusom, 14ali kako je iscijeljeni čovjek stajao pred njima, nisu im mogli proturječiti. 15Zato narede Petru i Ivanu da iziđu iz vijećnice te počnu raspravljati:

16“Što da radimo s tim ljudima? Ne možemo zanijekati da su učinili čudesni znak—za to znaju svi u Jeruzalemu. 17Ali možda možemo spriječiti da se to još više ne razglasi. Zabranimo im da ikomu opet govore o Isusovu imenu.” 18Pozovu zato apostole i zapovjede im da nipošto ne govore o Isusovu imenu i ne poučavaju o njemu.

19Ali Petar i Ivan im odgovore: “Zar smatrate da je pred Bogom pravo da slušamo vas, a ne njega? 20Ne možemo a da ne govorimo o onomu što smo čuli i vidjeli.”

21Vijećnici im opet zaprijete ali ih na koncu puste zato što nisu znali kako ih kazniti a da se narod ne pobuni. Jer svi su slavili Boga zbog toga što se dogodilo: 22čudesno je iscijeljen čovjek koji je bio hrom više od četrdeset godina.

Vjernici mole za hrabrost

23Čim su ih oslobodili, Petar i Ivan jave se drugim vjernicima i ispričaju im što su im rekli veliki svećenici i starješine. 24Kad su to čuli, svi podignu glas i jednodušno se pomole Bogu: “Gospodine, ti si stvorio nebo, zemlju, more i sve što je u njima! 25Po Svetome Duhu kroz svojega slugu Davida odavno si rekao:

‘Zašto se narodi bune?

Zašto puci snuju ispraznosti?

26Zemaljski se kraljevi spremaju na bitku protiv Gospodina i

protiv njegova Mesije.’4:25-26 Psalam 2:1-2.

27To se dogodilo u ovomu gradu! Herod Antipa, Poncije Pilat, zajedno s narodima, urotili su se s izraelskim narodom protiv tvojega svetog Sluge Isusa, tvojega Pomazanika. 28Učinili su ono što si predodredio svojom snagom i voljom. 29Gospodine, čuj njihove prijetnje i daj svojim slugama hrabrosti da navješćuju tvoju Riječ! 30Pruži svoju moćnu ruku da se događaju iscjeljenja, čudesa i znamenje u imenu tvojega svetog Sluge Isusa.”

31Kad su se tako pomolili, potrese se zgrada u kojoj su bili. Svi se napune Svetoga Duha te su smjelo navješćivali Božju riječ.

Vjernici dijele imovinu

32Mnoštvo vjernika bilo je jednoga srca i duše: nitko nije ono što je imao zadržavao za sebe, nego su sve međusobno dijelili. 33A apostoli su s velikom silom svjedočili o uskrsnuću Gospodina Isusa. Velika je milost bila nad njima. 34Nitko od njih nije oskudijevao jer su oni koji su posjedovali zemljišta i kuće prodavali svoju imovinu 35i novac donosili apostolima da njime raspolažu. Oni su ga dijelili svakomu prema potrebama.

36Tako je Josip kojega su apostoli zvali Barnaba (što znači: “Sin utjehe”), levit, rodom s Cipra, 37imao njivu. Prodao ju je i donio novac apostolima da njime raspolažu.

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 4:1-37

Peetero ne Yokaana mu Lukiiko lw’Abayudaaya Olukulu

14:1 a Luk 22:4 b Mat 3:7Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali, 24:2 Bik 17:18nga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu. 34:3 Bik 5:18Ne bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera. 44:4 Bik 2:41Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gw’abasajja bokka abakkiriza ne guba ng’enkumi ttaano!

54:5 Luk 23:13Enkeera, abafuzi n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. 64:6 Mat 26:3; Luk 3:2Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu. 7Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”

84:8 nny 5; Luk 23:13Awo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Abafuzi, n’abakulembeze b’abantu, 94:9 Bik 3:6obanga tubuuzibwa nsonga ey’omusajja eyawonyezeddwa, 104:10 Bik 2:24mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.

114:11 Zab 118:22; Is 28:16; Mat 21:42“ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana,

lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’

124:12 Mat 1:21; Bik 10:43; 1Ti 2:5Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”

134:13 a Luk 22:8 b Mat 11:25Awo ab’Olukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n’okutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ng’abasajja abo baabeeranga ne Yesu. 14Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ng’ayimiridde nabo, n’eky’okubaddamu ne kibabula. 154:15 Mat 5:22Ne babalagira okugira nga babeera wabweru Olukiiko lubakubaganyeko ebirowoozo. 164:16 a Yk 11:47 b Bik 3:6-10Ab’olukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero eky’amaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde. 17Naye engeri gye tunaaziyizaamu ebigambo byabwe okwongera okusaasaana kwe kubalabula n’amaanyi baleme kuddayo kwogera na muntu yenna ku linnya lya Yesu.”

184:18 Bik 5:40Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu. 194:19 Bik 5:29Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda. 20Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, n’ebigambo bye twawulira.”

214:21 a Bik 5:26 b Mat 9:8Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyabaawo. 22Omusajja eyawonyezebwa yali assussa mu myaka amakumi ana.

Okusaba kw’Abakkiriza

23Awo Peetero ne Yokaana bwe baateebwa ne baddayo eri bannaabwe ne bababuulira byonna bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bye baabagamba. 24Bonna bwe baabiwulira ne bayimusiza wamu amaloboozi gaabwe n’omwoyo gumu eri Katonda ne basaba nti, “Ayi Mukama, Omutonzi w’eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebibirimu, 254:25 Bik 1:16ggwe Kitaffe wayogerera ku bwa Mwoyo Mutukuvu mu kamwa k’omuweereza wo, Dawudi bwe yagamba nti:

“ ‘Lwaki Abaamawanga banyiigidde,

n’abantu ne balowooza ebitaliimu?

264:26 Zab 2:1, 2; Dan 9:25; Luk 4:18; Bik 10:38; Beb 1:9Bakabaka b’ensi

n’abakulembeze,

beegatta okulwanyisa Mukama

n’okulwanyisa Kristo we.’

274:27 a Mat 14:1 b Mat 27:2; Luk 23:12 c nny 30Kubanga baakuŋŋaanira mu kibuga. Kerode ne Pontiyo Piraato, awamu n’Abamawanga, n’Abayisirayiri, beegatta okulwanyisa Omuweereza wo Omutukuvu Yesu gwe wafukako amafuta, 284:28 Bik 2:23ne bakola ebyo omukono gwo n’okuteesa kwo bye kwateekateeka edda okubaawo. 294:29 nny 13, 31; Bik 9:27; 14:3; Baf 1:14Ne kaakano, Ayi Mukama, wulira okutiisatiisa kwabwe; owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo, 304:30 a Yk 4:48 b nny 27golola omukono gwo owonye, n’obubonero n’ebyamagero bikolebwenga mu linnya ly’Omuweereza wo Omutukuvu Yesu.”

314:31 a Bik 2:2 b nny 29Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.

Abakkiriza Okugabanira Awamu Ebyabwe

324:32 Bik 2:44Abakkiriza bonna baalina omwoyo gumu n’omutima gumu; nga tewali agamba nti kino kye nnina kyange ku bwange, wazira nga bonna bagabanira wamu. 334:33 a Luk 24:48 b Bik 1:22Awo abatume ne babuulira nnyo n’amaanyi mangi ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna ne bajjula ekisa kingi. 344:34 Mat 19:21; Bik 2:45Mu bo temwali baali mu kwetaaga, kubanga abo abaalina ettaka oba amayumba, baabitundanga, ensimbi ezivudde mu bye batunze 354:35 a nny 37; Bik 5:2 b Bik 2:45; 6:1ne bazireeta ku bigere by’abatume bagabireko buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwalinga.

364:36 Bik 9:27; 1Ko 9:6Awo Yusufu, Omuleevi abatume gwe baatuuma Balunabba (amakulu gaalyo nti atereeza emitima gy’abantu) eyazaalibwa e Kupulo, 374:37 nny 35; Bik 5:2n’atunda ennimiro ye, ensimbi ezaavaamu n’azireeta ku bigere by’abatume.