馬太福音 6 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

馬太福音 6:1-34

論賙濟窮人

1「你們要小心,行善的時候不可張揚,故意叫人看見,否則就不能得你們天父的賞賜了。

2「因此,賙濟窮人的時候,不要大吹大擂,像那些偽君子在會堂和街市上所行的一樣,以博取人們的讚賞。我實在告訴你們,他們得到的賞賜僅此而已。 3你們賙濟窮人的時候,右手所做的別叫左手知道, 4要不聲不響地去做。這樣,鑒察隱祕事的天父必賞賜你們。

論禱告

5「你們禱告時,不要像偽君子那樣。他們喜歡站在會堂裡和十字路口上公開禱告,故意讓人看見。我實在告訴你們,他們得到的賞賜不過是人的讚賞。 6你們禱告的時候,要進入內室,關上門,向你們肉眼看不見的父祈禱,鑒察隱祕事的父必賞賜你們。

7「你們禱告時不可像外族人那樣喋喋不休,他們以為長篇大論,就必蒙上帝垂聽。 8不可像他們那樣,因為在你們禱告以前,你們的父已經知道你們的需要了。

9「你們應當這樣禱告,

『我們天上的父,

願人們都尊崇你的聖名,

10願你的國度降臨,

願你的旨意在地上成就,就像在天上成就一樣。

11求你今天賜給我們日用的飲食。

12饒恕我們的罪,

就像我們饒恕了得罪我們的人。

13不要讓我們遇見誘惑,

救我們脫離那惡者。

因為國度、權柄、榮耀都是你的,直到永遠。阿們!』

14「如果你們饒恕別人的過犯,你們的天父也必饒恕你們的過犯。 15如果你們不饒恕別人的過犯,你們的天父也不會饒恕你們的過犯。

論禁食

16「你們禁食的時候,不要像偽君子那樣愁眉苦臉,因為他們故意蓬頭垢面,好讓別人知道他們在禁食。我實在告訴你們,他們得到的賞賜不過是人的讚賞。 17你禁食的時候要梳頭洗臉, 18不叫人們看出你在禁食,只讓你肉眼看不見的父知道,鑒察隱祕事的父必賞賜你。

論積財

19「不要為自己在世上積攢財寶,世上有蟲子咬,會生銹,又有賊闖進來偷。 20你們要把財寶積攢在天上,天上沒有蟲子咬,不會生銹,也沒有賊闖進來偷。 21要知道,你的財寶在哪裡,你的心也在哪裡。

22「眼睛是身上的燈。如果你的眼睛明亮,全身都光明; 23要是你的眼睛昏花6·23 昏花」或作「邪惡」。,全身就黑暗。如果你裡面的光黑暗了,那黑暗是多麼大啊!

24「一個人不能服侍兩位主人,因為他不是恨這位、愛那位,就是重這位、輕那位。你們不能又事奉上帝,又崇拜金錢。

不要憂慮衣食

25「所以我告訴你們,不要為生活憂慮,如吃什麼、喝什麼,也不要為身體憂慮,如穿什麼。難道生命不比飲食重要嗎?身體不比穿著重要嗎?

26「你們看天上的飛鳥,牠們不種,不收,也不在倉裡積存糧食,你們的天父尚且養活牠們,難道你們還不如飛鳥貴重嗎? 27你們誰能用憂慮使自己多活片刻呢?

28「何必為穿著憂慮呢?你們看看野地的百合花是如何生長的,它們既不勞苦,也不紡織。 29但我告訴你們,就連所羅門王最顯赫時的穿戴還不如一朵百合花! 30你們的信心太小了!野地裡的草今天還在,明天就丟在爐中化為灰燼,上帝還這樣裝扮它們,何況你們呢? 31所以,你們不要憂慮『吃什麼?喝什麼?穿什麼?』 32因為這些都是外族人的追求,你們的天父知道你們的需要。

33「你們要先尋求上帝的國和祂的義,這一切都會賜給你們。 34所以,不要為明天憂慮,因為明天自有明天的憂慮,一天的難處一天擔就夠了。

Luganda Contemporary Bible

Matayo 6:1-34

Okuwa Abaavu

16:1 Mat 23:5“Mwegendereze, ebikolwa byammwe eby’obutuukirivu obutabikoleranga mu lujjudde lw’abantu nga mwagala babasiime, kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.”

2“Bw’obanga ogabira omwavu ekintu teweeraganga nga bannanfuusi bwe bakola ne basooka okufuuwa eŋŋombe mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, nga bagenda okugabira abaavu, abantu babalabe babawe ekitiibwa. Ddala ddala mbagamba nti Abo, eyo y’empeera yaabwe. 3Naye ggwe bw’obanga ogabira omuntu yenna ekintu omukono gwo ogwa kkono guleme kumanya ogwa ddyo kye gukola. 46:4 nny 6, 18; Bak 3:23, 24Kale Kitaawo amanyi ebyama byonna alikuwa empeera.”

Okusaba

56:5 Mak 11:25; Luk 18:10-14“Era bwe mubanga musaba mwekuume obutaba nga bannanfuusi abaagala okweraga nga bwe bali bannaddiini, ne basabira mu makuŋŋaaniro ne ku nguudo mu lujjudde, abantu babalabe. Abo, eyo y’empeera yokka gye balifuna. 66:6 2Bk 4:33Naye ggwe bw’obanga osaba, oyingiranga mu nnyumba yo, ne weggalira mu kisenge kyo n’osabira eyo mu kyama. Kitaawo ategeera ebyama byo byonna alikuwa by’omusabye. 76:7 a Mub 5:2 b 1Bk 18:26-29Era bwe musabanga temuddiŋŋananga mu bigambo oba okwogera ebigambo enkumu ng’abatamanyi Katonda bwe bakola nga balowooza nti Bwe banaddiŋŋana mu bigambo emirundi n’emirundi okusaba kwabwe lwe kunaddibwamu. 86:8 nny 32Kale temubafaanananga, kubanga Kitammwe amanyidde ddala byonna bye mwetaaga ne bwe muba nga temunnamusaba.”

9Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti,

Kitaffe ali mu ggulu,

Erinnya Lyo litukuzibwe.

106:10 a Mat 3:2 b Mat 26:39Obwakabaka bwo bujje.

By’oyagala bikolebwe mu nsi,

nga bwe bikolebwa mu ggulu.

116:11 Nge 30:8Otuwenga emmere yaffe eya buli lunaku.

126:12 Mat 18:21-35Tusonyiwe ebyonoono byaffe

nga naffe bwe tusonyiwa abatwonoona.

136:13 a Yak 1:13 b Mat 5:37Totuganya kukemebwa

naye tulokole eri omubi.6:13 Kyavumbulibwa luvannyuma mu mizingo egy’oluvannyuma. Kubanga obwakabaka, n’obuyinza, n’ekitiibwa, bibyo, emirembe n’emirembe. Amiina

146:14 Mat 18:21-35; Mak 11:25, 26; Bef 4:32; Bak 3:13“Kubanga bwe munaasonyiwanga ababasobezza, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga. 156:15 Mat 18:35Naye bwe mutaasonyiwenga bannammwe, nammwe Kitammwe ali mu ggulu taabasonyiwenga.”

Okusiiba

166:16 Is 58:5“Bwe musiibanga, temukiraganga nga bannanfuusi bwe bakola. Kubanga batunuza ennaku balyoke balabike mu bantu nti basiiba, mbategeeza ng’abo, eyo y’empeera yokka gye bagenda okufuna. 17Naye ggwe bw’osiibanga olongoosanga enviiri zo n’onaaba ne mu maaso, 186:18 nny 4, 6abantu baleme kutegeera nti osiiba, okuggyako Kitaawo ali mu ggulu era alaba mu kyama alikuwa empeera.”

Obugagga obw’Amazima

196:19 a Nge 23:4; Beb 13:5 b Yak 5:2, 3“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe bayinza okubibbira. 206:20 a Mat 19:21; Luk 12:33; 18:22; 1Ti 6:19 b Luk 12:33Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, n’ababbi gye batayinza kuyingira kububba. 216:21 Luk 12:34Kubanga obugagga bwo gye buli n’omutima gwo gye gunaabeeranga.”

22“Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo, noolwekyo eriiso bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekitangaala ng’eky’omusana. 23Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabeeranga n’ekizikiza, noolwekyo ekizikiza ekyo kiba kikwafu nnyo!”

246:24 Luk 16:13“Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.6:24 Mamona engeri ey’okwagalamu ennyo eby’obugagga n’okwagala n’oyagala okubifuula katonda wo

Temweraliikiriranga

256:25 nny 27, 28, 31, 34; Luk 10:41; 12:11, 22; Baf 4:6; 1Pe 5:7“Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, n’omubiri gusinga ebyambalo. 266:26 a Yob 38:41; Zab 147:9 b Mat 10:29-31Mulabire ku nnyonyi ez’omu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu tterekero, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo? 276:27 Zab 39:5Ani ku mmwe, bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu?”

28“Naye lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mulabire ku malanga ag’oku ttale! Tegaliiko kye geekolera, 296:29 1Bk 10:4-7naye ne Kabaka Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. 306:30 Mat 8:26; 14:31; 16:8Naye obanga Katonda ayambaza obulungi bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko ogw’ekiseera obuseera, ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, talisingawo nnyo okubambaza? Nga mulina okukkiriza okutono! 31Noolwekyo temweraliikiririranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki? Oba nti, Tunaanywa ki? Oba nti, Tunaayambala ki?’ 326:32 nny 8Ebyo byonna bannamawanga bye bayaayaanira. Naye Kitammwe ali mu ggulu amanyi ng’ebyo byonna mubyetaaga. 336:33 Mat 19:29; Mak 10:29-30Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako. 34Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olw’enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala.”