馬太福音 14 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

馬太福音 14:1-36

施洗者約翰之死

1分封王希律聽見耶穌的名聲, 2就對臣僕說:「這個人是施洗者約翰!他從死裡復活了,所以能夠行這些神蹟。」

3原來希律為他兄弟腓力的妻子希羅底的緣故,拘捕了約翰,把他捆綁起來關在監裡。 4因為約翰曾多次對他說:「你娶這個婦人是不對的。」 5他想殺掉約翰,但怕觸怒百姓,因為他們都認為約翰是先知。

6希律的生日那天,希羅底的女兒出來在眾人面前跳舞。希律非常高興, 7就起誓答應她無論要什麼都可以。 8她受了母親的指使,說:「請把施洗者約翰的頭放在盤子裡送給我。」 9希律感到為難,但既然在眾賓客面前起了誓,只好下令給她。 10他派人到監裡砍了約翰的頭, 11放在盤子裡送給她,她轉送給她母親。 12約翰的門徒把屍體領回安葬後,就去告訴耶穌。

13耶穌聽見這個消息,就獨自坐船退到一處偏僻的地方。眾人得知後,就從各城步行來跟隨祂。

耶穌使五千人吃飽

14耶穌上了岸,看見一大群人,心裡憐憫他們,就治好了他們當中的病人。 15黃昏時,門徒過來對耶穌說:「這裡是荒郊野外,天又晚了,請遣散眾人,好讓他們到村莊去自己買些吃的。」

16耶穌回答說:「他們不用離開,你們給他們吃的吧。」

17門徒答道:「我們這裡只有五個餅和兩條魚。」

18耶穌說:「拿來給我。」

19於是,祂叫眾人坐在草地上,然後拿起那五個餅和兩條魚,舉目望著天祝謝後,就掰開餅遞給門徒,讓他們分給眾人。 20大家都吃飽了,把剩下的零碎收拾起來,竟裝滿了十二個籃子。 21當時吃飯的,除了婦女和小孩,約有五千男人。

耶穌在水上行走

22隨後,耶穌催門徒上船,叫他們先渡到湖對岸,祂則遣散眾人。 23待眾人都離開了,祂就獨自上山去禱告,在那裡一直待到晚上。

24那時,門徒的船離岸已遠,遇到逆風,船身被波浪撞擊得搖擺不定。 25天將破曉的時候,耶穌從水面上向門徒走去。 26門徒看見有人在湖面上走,都嚇壞了,說:「是幽靈!」他們害怕得又喊又叫。

27耶穌立刻對他們說:「放心吧!是我,不要怕。」

28彼得說:「主啊!如果真的是你,就叫我從水面上走到你那裡。」

29耶穌說:「好,你來吧!」

於是,彼得就從船上下去,走在湖面上,要去耶穌那裡。 30他看到風浪很大,就害怕起來,身體開始往下沉,便大喊:「主啊,救我!」

31耶穌馬上伸手拉住他,說:「你信心太小了!為什麼懷疑呢?」

32他們上了船,風浪就平靜了。 33船上的人都敬拜祂,說:「你真是上帝的兒子。」

34他們渡到湖對岸,來到革尼撒勒35當地的人認出是耶穌,就派人去把附近所有的病人都帶到祂面前, 36求耶穌讓他們摸一摸祂衣裳的穗邊,所有摸過的病人都好了。

Luganda Contemporary Bible

Matayo 14:1-36

Yokaana Atemwako Omutwe

114:1 a Mak 8:15; Luk 3:1, 19; 13:31; 23:7, 8; Bik 4:27; 12:1 b Luk 9:7-9Mu kiseera ekyo Kabaka Kerode bwe yawulira ettutumu lya Yesu 214:2 Mat 3:1n’agamba abaweereza be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, era y’akola eby’amagero.”

314:3 a Mat 4:12; 11:2 b Luk 3:19, 20Kuba Kerode yali amaze okukwata Yokaana n’amussa mu kkomera, kubanga Yokaana yamunenya olwa Kerodiya muka Firipo muganda we, 414:4 Lv 18:16; 20:21kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okusigula muka muganda wo n’omufuula owuwo.” 514:5 Mat 11:9Kerode yali ayagala kumutta naye n’atya abantu kubanga baalowooza Yokaana okuba nnabbi.

6Olunaku lw’amazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya n’azina nnyo ku mbaga n’asanyusa nnyo Kerode. 7Awo Kerode n’asuubiza omuwala ng’alayira okumuwa kyonna ky’anaamusaba. 8Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, n’agamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.” 9Ekintu ekyo ne kinakuwaza nnyo kabaka. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso g’abagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere. 1014:10 Mat 17:12Ne bagenda mu kkomera, ne batemako Yokaana omutwe 11ne baguleetera ku lusaniya ne baguwa omuwala, naye n’agutwalira nnyina.

1214:12 Bik 8:2Abayigirizwa ba Yokaana ne banonayo omulambo gwe ne bagutwala ne baguziika, ne balyoka bagenda ne babikira Yesu. 13Yesu bwe yabiwulira ebyo, n’asaabala mu lyato, n’abaako gy’alaga abeere yekka mu kyama. Naye abantu bangi nnyo bwe baakiwulira ne bava mu bibuga bingi, ne beekooloobya, ne bamugoberera nga bayita ku lukalu. 1414:14 a Mat 9:36 b Mat 4:23Yesu bwe yava eyo n’alaba, abantu bangi n’abasaasira n’awonya abalwadde baabwe.

15Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga.”

16Naye Yesu n’abaddamu nti, “Tekyetaagisa kubasiibula, mmwe mubawe ekyokulya.”

1714:17 Mat 16:9Ne bamuddamu nti, “Ffe tetulina kyakulya kiyinza kubamala, wabula tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri.”

18N’abagamba nti, “Kale mubindetere wano.” 1914:19 1Sa 9:13; Mat 26:26; Mak 8:6; Luk 24:30; Bik 2:42; 27:35; 1Ti 4:4N’alagira ekibiina kituule wansi ku muddo, n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri, n’atunula waggulu ne yeebaza, emigaati n’agimenyaamenyamu n’agiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina. 20Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri! 21Abantu bonna abaalya baali ng’enkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana.

Yesu Atambulira ku Mazzi

22Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale eryato bagende emitala w’ennyanja, ye asigale ng’akyasiibula abantu. 2314:23 Luk 3:21Bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ng’ali eyo yekka. 24Eryato abayigirizwa mwe baali bwe lyatuuka ebuziba, omuyaga mungi ne gubafuluma mu maaso eryato ne lyesunda.

25Awo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro, Yesu n’ajja gye bali ng’atambula ku nnyanja. 2614:26 Luk 24:37Naye abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.

2714:27 a Mat 9:2; Bik 23:11 b Dan 10:12; Mat 17:7; 28:10; Luk 1:13, 30; 2:10; Bik 18:9; 23:11; Kub 1:17Awo amangwago Yesu n’abagamba nti, “Mugume, Nze nzuuno temutya.”

28Peetero n’amugamba nti, “Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gy’oli nga ntambulira ku mazzi.”

29Yesu n’amuddamu nti, “Kale jjangu.” Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu.

30Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, “Mukama wange, ndokola!”

3114:31 Mat 6:30Amangwago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata, n’amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?”

32Bwe baalinnya mu lyato omuyaga gwonna ne guggwaawo. 3314:33 Zab 2:7; Mat 4:3N’abo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!”

34Bwe baasomoka ne bagukkira ku lukalu e Genesaleeti. 35Abantu b’omu kitundu ekyo bwe baamutegeera ne batumya abalwadde bonna ne babamuleetera. 3614:36 Mat 9:20Ne bamwegayirira waakiri bakomeko bukomi ku lukugiro lw’ekyambalo kye, era buli eyakomako n’awonyezebwa.