雅各書 1 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

雅各書 1:1-27

1我是作上帝和主耶穌基督奴僕的雅各,問候散居各地的十二支派的人。

信心和忍耐

2我的弟兄姊妹,當你們遭遇各種磨煉的時候,都要認為是喜樂的事。 3要知道你們的信心經過考驗會產生堅忍。 4你們要堅忍到底,使你們纯全、完備、毫無缺欠。

5如果你們誰缺少智慧,就當求慷慨施恩、不責備人的上帝,上帝必賜給他智慧。 6-8但他要憑信心毫不疑惑地祈求,因為疑惑的人三心二意,行事為人沒有定見,就像海上隨風翻騰的波濤,這種人從主那裡什麼也得不到。

9卑微的弟兄高升,應當快樂。 10富有的弟兄降卑,也要快樂,因為他會像花草一樣衰殘。 11驕陽升起,草就乾枯,花也凋謝,美麗就消失了。富有的人在忙忙碌碌中也會如此衰殘。

12在試煉中能夠忍耐到底的人有福了,因為他若經得起考驗,就會得到主應許賜給愛祂之人的生命冠冕。 13當人受到誘惑時,不可說:「是上帝在誘惑我。」因為上帝不受邪惡的誘惑,也不誘惑人。 14其實每個受到誘惑的人都是受自己的私慾慫恿和誘惑。 15私慾懷了胎,便生出罪,罪一旦長成,便帶來死亡。

16我親愛的弟兄姊妹,不要上當受騙。 17一切良善的施予和完美的恩賜都是從天上,從眾光之父那裡來的。祂不像轉動的影子變幻無常。 18祂按照自己的旨意,藉著真道重生了我們,使我們在祂所造的萬物之中好像初熟的果實。

聽道與行道

19我親愛的弟兄姊妹,請記住:每個人都要快快地聽,慢慢地說,慢慢地動怒。 20因為人的憤怒不能成就上帝的公義。 21所以你們要除去所有的污穢和一切的惡習,謙卑地領受那已經栽種在你們心裡、能救你們靈魂的真道。

22你們要行道,不要只是聽道,自己欺騙自己。 23因為人聽道而不行道,就像照鏡子一樣, 24看過後就走了,隨即忘記了自己的容貌。 25但詳細查考那使人得自由的全備律法並且持之以恆的人,不是聽了就忘,而是身體力行,這樣的人必在他所行的事上蒙福。

26如果有人自以為虔誠,卻不勒住自己的舌頭,就等於是自己欺騙自己,他的所謂虔誠也毫無價值。 27在父上帝看來,純潔無暇的虔誠是指照顧患難中的孤兒寡婦,並且不讓自己被世俗玷污。

Luganda Contemporary Bible

Yakobo 1:1-27

Amagezi n’okukkiriza

11:1 a Bik 15:13 b Tit 1:1 c Bik 26:7 d Ma 32:26; Yk 7:35; 1Pe 1:1Nze Yakobo, omuddu wa Katonda ne Mukama waffe Yesu Kristo, mpandiikira ebika ekkumi n’ebibiri ebyasaasaana, nga mbalamusa.

21:2 Mat 5:12; 1Pe 1:6Baganda bange, mulowoozenga byonna okuba essanyu, bwe mukemebwanga mu ngeri ezitali zimu 3nga mumanyi ng’okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. 4Omulimu gw’okugumiikiriza bwe gutuukirira, ne mulyoka mufuuka abatuukiridde era abakulidde ddala mu mwoyo, nga temulina kibabulako. 51:5 a 1Bk 3:9, 10; Nge 2:3-6 b Mat 7:7Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa. 61:6 Mak 11:24Kyokka amusabenga mu kukkiriza, nga tabuusabuusa, kubanga oyo abuusabuusa ali ng’ejjengo ery’oku nnyanja erisundibwa empewo. 7Omuntu ng’oyo bw’atasaba na kukkiriza tasuubira Mukama kumuwaayo kintu kyonna. 81:8 Yak 4:8Kubanga omuntu ow’emyoyo ebiri, buli gy’adda tanywererayo.

Obwavu n’obugagga

9Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa. 101:10 1Ko 7:31; 1Pe 1:24N’omugagga tasaana anyiige ng’ebintu bye bimukendezebbwaako, kubanga naye aliggwaawo ng’ekimuli eky’omuddo bwe kiggweerera. 111:11 a Zab 102:4, 11 b Is 40:6-8Kubanga enjuba bw’evaayo n’eyaka n’ebbugumu lyayo eringi, omuddo gukala n’ekimuli kyagwo ne kiwotoka ne kigwa, n’obulungi bw’endabika yaakyo ne buggwaawo; n’omugagga bw’atyo bw’aliggwaawo, ng’ali mu mirimu gye.

121:12 a 1Ko 9:25 b Yak 2:5Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.

13Omuntu yenna bw’akemebwanga, tagambanga nti, “Katonda ye yankemye,” kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu n’omu. 14Naye buli muntu akemebwa ng’okwegomba kwe okubi, bwe kuli, n’asendebwasendebwa. 151:15 a Yob 15:35; Zab 7:14 b Bar 6:23Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, n’ekibi bwe kikula ne kizaala okufa.

161:16 a 1Ko 6:9 b nny 19Noolwekyo, abooluganda abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga. 171:17 a Yk 3:27 b Kbl 23:19; Mal 3:6Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala. 181:18 a Yk 1:13 b Bef 1:12; Kub 14:4Yalondawo ku bubwe yekka okutuzaala, ng’ayita mu kigambo eky’amazima, tulyoke tubeere ng’abaana be ababereberye mu lulyo lwe oluggya.

Okuwuliriza n’okukola

191:19 Nge 10:19Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga. 20Kubanga obusungu bw’omuntu tebumuweesa butuukirivu bwa Katonda. 211:21 a Bef 4:22 b Bef 1:13Kale mulekenga emize gyonna, n’ekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize n’obuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe.

22Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba. 23Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye n’atakigondera, afaanana ng’omuntu eyeeraba mu ndabirwamu; 24bw’ava mu ndabirwamu, amangwago ne yeerabira nga bw’afaananye. 251:25 a Yak 2:12 b Yk 13:17Naye oyo atunula enkaliriza mu tteeka ettuufu erituukiridde erireetera abantu eddembe, n’alinyikiririramu tajja kukoma ku kulijjukiranga kyokka, naye ajjanga kukola bye ligamba, era anaaweebwanga omukisa mu buli ky’akola.

261:26 Zab 34:13; 1Pe 3:10Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye n’atafuga lulimi lwe, aba yeerimba, n’eddiini ye teriiko ky’egasa. 271:27 a Mat 25:36 b Is 1:17, 23 c Bar 12:2Eddiini entuufu etaliiko bbala mu maaso ga Katonda Kitaffe, y’eyo ey’omuntu alabirira bamulekwa ne bannamwandu era nga yeekuuma ensi gy’alimu ereme kumuletako bbala.