約伯記 41 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約伯記 41:1-34

1「你豈能用魚鉤釣鱷魚,

用繩索綁住牠的舌頭?

2你豈能用繩子穿牠的鼻子,

用鉤子穿牠的腮骨?

3牠豈會向你連連求饒,

對你說柔和的話?

4牠豈肯與你立約,

一生做你的奴隸?

5你豈能拿牠當小鳥玩耍,

或拴起來給幼女取樂?

6漁夫們豈能把牠當貨物出售,

賣給商人?

7你豈能在牠皮上戳滿長矛,

頭上插滿魚叉?

8你動手碰碰牠,

就知道有何惡戰,絕不會再碰。

9企圖捕捉牠的都會失望,

人看到牠就會心驚膽戰。

10再兇猛的人也不敢惹牠。

這樣,誰能在我面前站立得住?

11誰給過我什麼,要我償還?

天下萬物都是我的。

12「論到牠的四肢、大力和姣美的身體,

我不能緘默不言。

13誰能剝去牠的外皮?

誰能給牠戴上轡頭?

14誰能打開牠的口?

牠的牙齒令人恐懼。

15牠的脊背覆著行行鱗甲,

牢牢地密封在一起,

16緊密無間,

連氣也透不進去。

17鱗甲彼此相連相扣,

無法分開。

18牠打噴嚏時,水光四射;

牠的眼睛發出晨光;

19口中噴出火炬,

迸出火星;

20鼻孔冒煙,

如沸騰的鍋和燃燒的蘆葦;

21呼氣可點燃煤炭,

口中噴出火焰;

22頸項強而有力,

恐懼在牠前面開路;

23身上的皺褶緊密相連,

牢牢地密封在一起;

24心堅如石,

硬如磨石。

25牠一站起來,勇士都害怕,

見牠衝來,他們慌忙退縮。

26刀劍擋不住牠,

長矛、標槍、尖戟也無能為力。

27牠視鐵如乾草,

視銅如朽木。

28利箭嚇不跑牠,

彈石在牠看來只是碎稭;

29棍棒無異於稭稈,

牠嗤笑投來的標槍。

30牠腹部有鋒利的瓦片,

在淤泥上留下道道耙痕。

31牠使深淵如鍋翻騰,

大海如油鍋滾動。

32牠游過後留下一道波光,

使深淵彷彿披上銀髮。

33地上沒有動物能與牠相比,

像牠那樣無所畏懼。

34牠藐視群雄,

在高傲的百獸中稱王。」

Luganda Contemporary Bible

Yobu 41:1-34

Amaanyi ga Lukwata

141:1 Yob 3:8; Zab 104:26; Is 27:1“Oyinza okusikayo lukwata n’eddobo,

oba okusiba olulimi lwayo n’omuguwa?

241:2 Is 37:29Oyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo,

oba okuwummula oluba lwayo n’eddobo?

3Eneekwegayirira ng’ekusaba nti, ogikwatirwe ekisa?

Eneeyogera naawe mu bigambo ebigonvu?

441:4 Kuv 21:6Eneekola naawe endagaano

ogitwale ekuweereze obulamu bwayo bwonna?

5Onoozannya nayo nga bw’ozannya n’akanyonyi,

oba okugisiba n’olukoba ng’agisibira bawala bo?

6Abasuubuzi banaagiramuza,

oba banaagibala ng’ekyamaguzi?

7Oyinza okuvuba eddiba lyayo n’olijjuza amalobo,

oba omutwe okugufumita n’amafumu agafumita ebyennyanja?

8Bw’oligissaako engalo zo ekirivaamu tolikyerabira,

toliddayo kukikola!

9Essuubi lyonna ery’okugiwangula ffu,

okugirabako obulabi kimalamu amaanyi.

1041:10 a Yob 3:8 b Yer 50:44Teri n’omu mukambwe nnyo asobola kugyaŋŋanga.

Kale, ani oyo asobola okuyimirira mu maaso gange?

1141:11 a Bar 11:35 b Kuv 19:5; Ma 10:14; Zab 24:1; 50:12; 1Ko 10:26Ani alina kye yali ampoze musasule?

Byonna ebiri wansi w’eggulu byange.

12“Ku bikwata ku mikono n’ebigere byayo siisirike,

amaanyi gaayo n’ekikula kyayo bya ssimbo.

13Ani ayinza okugiggyako eddiba lyayo ery’oku ngulu?

Ani ayinza okuyuza ekizibaawo kyayo eky’amaliba abiri?

14Ani ayinza okuggula enzigi z’akamwa kaayo?

Amannyo gaayo geetooloddwa entiisa.

15Omugongo gwe gujjudde enkalala z’engabo

ezisibiddwa okumukumu.

16Zonna zisibaganye nga tewali mpewo weeyita.

17Zakwatagana,

ziri ku zinnaazo era tezisobola kwawulibwa.

1841:18 Yob 3:9Bw’eyasimula, ebimyanso bijja,

n’amaaso gaayo gali nga enjuba ng’egwa.

19Mu kamwa kaayo muvaamu ebiriro ebyaka.

Kavaamu ensasi ez’omuliro.

20Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka

ng’ogwentamu eyeesera eri ku muliro ogw’emmuli ezaaka.

2141:21 a Is 40:7 b Zab 18:8Omukka oguva mu nnyindo zaayo

gukoleeza Amanda.

22Mu nsingo yaayo mulimu amaanyi,

n’entiisa eri mu maaso gaayo.

23Emiwula gy’ennyama yaayo gyegasse;

gikutte nnyo era tegisobola kwenyeenya.

24Ekifuba kyayo kigumu ng’olwazi,

kigumu ng’olubengo.

25Bwesituka ab’amaanyi batya.

Badduka olw’okubwatuka kwayo.

26Ekitala bwe kigituukako tekirina kye kiyinza kumukolako,

oba ffumu, oba omuwunda wadde akasaale akasongovu.

27Emenya ebyuma gy’obeera nti ekutulakutula bisasiro,

ebyo ebikomo ebimenyaamenya ng’emiti emivundu.

28Akasaale tekayinza kugiddusa,

amayinja ag’envumuulo gaba nga biti gy’eri.

29Embukuuli nayo eri ng’ebisusunku gy’eri.

Esekerera amafumu agakasukibwa.

3041:30 Is 41:15Amagalagamba g’oku lubuto lwayo gali ng’engyo z’ensuwa.

Bwe yeekulula mu bitosi ebeera ng’ekyuma ekiwuula.

31Ereetera obuziba bw’ennyanja okuba ng’entamu eyeesera.

Ennyanja n’eba ng’entamu y’omuzigo ogufumbibwa.

32Mu mazzi mw’eyise, erekamu ekkubo ery’amayengo ameeru;

ne kireeta n’ekirowoozo nti obuziba bulina envi.

3341:33 Yob 40:19Tewali kigyenkana ku nsi;

ekitonde ekitatya.

3441:34 Yob 28:8Enyooma buli kisolo.

Ye kabaka w’abo bonna ab’amalala.”