約伯記 29 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約伯記 29:1-25

回憶昔日的幸福

1約伯接著說:

2「但願我回到從前的歲月,

回到上帝看顧我的日子。

3那時,祂的燈在我頭上照耀,

祂的光伴我走過黑暗。

4那時,我身強力壯,

上帝是我家的密友;

5全能者尚與我同在,

兒女圍繞在我身旁;

6我用奶油洗腳,

磐石為我湧出橄欖油。

7「那時,我去城門口,

到廣場就坐,

8青年看見我便迴避,

老人也起身肅立;

9王侯都停止講話,

用手掩口;

10權貴都靜默無聲,

舌頭緊貼上膛。

11聽見我的都祝福我,

看見我的都稱讚我。

12因為我拯救求助的窮人,

解救無人援助的孤兒。

13臨終的人為我祝福,

我使寡婦心裡歡唱。

14我以公義為衣穿在身上,

公正是我的外袍和帽子。

15我做瞎子的眼、

瘸子的腳;

16我做窮人的父,

為陌生人伸冤。

17我打落惡人的毒牙,

從他們口中救出受害者。

18「我想,『我必在家中安然離世,

我的年日必多如塵沙。

19我的根伸展到水邊,

枝子整夜沐浴甘露。

20我的尊榮永不褪色。

手中的弓常新不敗。』

21「人們期待聆聽我的話,

默然等候我的教導。

22我講完後,無人再發言;

我的話滋潤他們的心田。

23他們盼我如盼甘霖,

張著口如慕春雨。

24我的微笑令他們受寵若驚,

他們從不使我臉色不悅。

25我為他們選擇道路,並且做首領,

我就像君王住在軍中,

又如傷心之人的安慰者。

Luganda Contemporary Bible

Yobu 29:1-25

129:1 Yob 13:12; 27:1Yobu n’ayongera okwogera nti,

229:2 Yer 31:28“Nga nneegomba emyezi egyayita,

ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira,

329:3 Yob 11:17ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange,

n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza.

429:4 Zab 25:14; Nge 3:32Mu biro we nabeerera ow’amaanyi,

omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange,

5Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange

n’abaana bange nga bakyanneetoolodde,

629:6 a Yob 20:17 b Zab 81:16 c Ma 32:13n’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo

n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta.

729:7 Yob 31:21“Bwe nalaganga ku mulyango gw’ekibuga

ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko,

8abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali,

abakadde ne basituka ne bayimirira;

929:9 Yob 21:5abakungu ab’oku ntikko ne balekeraawo okwogera,

ne bakwata ne ku mimwa;

1029:10 Zab 137:6ab’ebitiibwa ne balekeraawo okwogera,

ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa.

11Buli kutu okwampuliranga nga kwesiima,

era n’abo abandabanga nga basiima

1229:12 a Yob 24:4 b Yob 31:17, 21 c Zab 72:12; Nge 21:13kubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi,

n’abatalina bakitaabwe abatalina abayamba.

1329:13 a Yob 31:20 b Yob 22:9Omusajja ng’afa, y’ansabira omukisa,

ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba.

1429:14 Yob 27:6; Zab 132:9; Is 59:17; 61:10; Bef 6:14Ne nnyambala obutuukirivu ng’engoye zange,

obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe.

1529:15 Kbl 10:31Nnali maaso g’abamuzibe

era ebigere by’abalema.

1629:16 Yob 24:4; Nge 29:7Nnali kitaawe w’abanaku,

ne nneyama okuwolereza besimanyiiko.

1729:17 Zab 3:7Namenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi,

ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte.

1829:18 Zab 30:6“Nalowooza nti, ‘Ndifiira mu nnyumba yange

nga mpezezza ennaku zange nga nnyingi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja.

1929:19 Yob 18:16; Yer 17:8Omulandira gwange gulituuka mu mazzi,

era n’omusulo gulibeera ku ttabi lyange okukeesa obudde.

2029:20 a Zab 18:34 b Lub 49:24Ekitiibwa kyange tekirikaddiwa mu nze,

n’omutego gwange ogw’akasaale gusigale nga tegukaddiye mu mukono gwange.’ 

21“Abantu beesunganga okumpuliriza,

nga balindirira mu kasirise amagezi gange.

2229:22 Ma 32:2Bwe namalanga okwogera, nga tewaba addayo kwogera,

ebigambo byange byagwanga mpola mpola mu matu gaabwe.

23Bannindiriranga ng’enkuba

ne banywa ebigambo byange ng’enkuba eya ttoggo.

24Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza;

ekitangaala ky’oku maaso gange kyali kya muwendo gye bali.

2529:25 a Yob 1:3; 31:37 b Yob 4:4Nabasalirangawo eky’okukola,

ne ntuula nga kabaka n’amaggye ge;

nnali ng’abo ababeesabeesa abakungubazi.”