約伯記 27 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約伯記 27:1-23

1約伯接著說:

2「我憑不給我公道的永恆上帝,

憑使我靈魂陷入痛苦的全能者起誓,

3只要我一息尚存,

鼻中還有上帝之氣,

4我的嘴唇決不說惡語,

舌頭決不講謊話。

5我決不承認你們有理,

我至死堅信自己無辜。

6我堅守自己的公義,決不放棄,

我有生之年都問心無愧。

7「願我仇敵的下場和惡人一樣,

願我對頭的結局和罪人相同。

8因為不敬虔的人將被剷除,上帝將奪去他的性命。

那時,他還有何指望?

9患難臨到他時,

上帝豈會垂聽他的呼求?

10他豈會以全能者為樂,

時時求告上帝?

11「我要教導你們有關上帝的能力,

我不會隱瞞全能者的作為。

12其實你們也曾親眼目睹,

為何還講這些虛妄之言?

13「以下是上帝給惡人定的結局,

全能者賜給殘暴之徒的歸宿。

14他的兒女再多也難逃殺戮,

他的子孫永遠吃不飽。

15他倖存的後人被瘟疫吞噬,

生還的寡婦也不哀哭。

16儘管他堆積的銀子多如塵沙,

儲存的衣服高若土堆,

17但義人將穿他儲存的衣服,

清白的人將分他堆積的銀子。

18他建的房子像蛾繭,

像守望者搭的草棚。

19他睡前還是富翁,

醒來後財富已空。

20恐懼如洪水般淹沒他,

暴風在夜間把他捲去。

21東風把他颳走,

吹得無影無蹤。

22狂風27·22 狂風」希伯來文指代不清,也可譯作「祂」,指上帝,23節同。毫不留情地擊打他,

他拼命地逃離風的威力。

23狂風向他拍掌,

呼嘯著吹走他。

Luganda Contemporary Bible

Yobu 27:1-23

127:1 Yob 29:1Yobu n’ayongera okwogera kwe bw’ati nti,

227:2 a Yob 34:5 b Yob 9:18“Nga Katonda bw’ali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima,

oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa,

327:3 Yob 32:8; 33:4gye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze,

omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange,

427:4 Yob 6:28emimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu,

era olulimi lwange terujja kwogera bulimba.

527:5 Yob 2:9; 13:15Sirikkiriza nti muli batuufu;

okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange.

627:6 Yob 2:3Nzija kwongera okunywerera ku butuukirivu bwange obutabuleka;

omutima gwange tegunsalira musango nga nkyali mulamu.

7“Abalabe bange babeere ng’abakozi b’ebibi,

n’abo abangolokokerako babeere ng’abatali batuukirivu!

827:8 a Yob 8:13 b Yob 11:20; Luk 12:20Kubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda ly’aba nalyo ng’asaliddwako,

nga Katonda amuggyeko obulamu?

927:9 Yob 35:12; Nge 1:28; Is 1:15; Yer 14:12; Mi 3:4Katonda awulira okukaaba kwe

ng’ennaku emujjidde?

1027:10 Yob 22:26Alifuna essanyu mu oyo Ayinzabyonna?

Aliyita Katonda ebbanga lyonna?

11Nzija kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda;

ebikwata ku oyo Ayinzabyonna sijja kubikweka.

12Weekalirize bino byonna bye mwerabiddeko,

lwaki kaakano okwogera ebyo ebitalina makulu?

Empeera y’abakozi b’ebibi

1327:13 Yob 15:20; 20:29“Eno y’empeera Katonda gy’awa abakozi b’ebibi,

omugabo omuntu omujoozi gw’afuna okuva eri oyo Ayinzabyonna:

1427:14 a Ma 28:41; Yob 15:22; Kos 9:13 b Yob 20:10Abaana be ne bwe baba bangi batya, enkomerero yaabwe kitala;

ezzadde lye teririfuna byakulya bibamala.

1527:15 Zab 78:64Abo abaliwona kawumpuli, balifa ne baziikibwa,

ne bannamwandu baabwe tebalibakaabira.

1627:16 Zek 9:3Wadde ng’atereka effeeza ng’enfuufu,

n’engoye ng’entuumo y’ebbumba,

1727:17 Nge 28:8; Mub 2:26ebyo bye yeeterekera omutuukirivu y’alibyambala,

era abo abatalina musango be baligabana effeeza ye.

1827:18 a Yob 8:14 b Is 1:8Ennyumba gy’azimba eribeera ng’ey’ekiwojjolo;

ng’akasiisira akazimbiddwa omukuumi.

1927:19 Yob 7:8Agenda okwebaka nga mugagga, naye ekyo tekiddemu kubaawo,

kubanga alizuukuka nga byonna biweddewo.

2027:20 a Yob 15:21 b Yob 20:8Entiisa erimuzingako ng’amataba;

kibuyaga amutwala ekiro mu kyama.

2127:21 Yob 7:10; 21:18Embuyaga ey’ebuvanjuba emutwalira ddala n’agenda;

emuggya mu kifo kye n’amaanyi.

2227:22 a Yer 13:14; Ez 5:11; 24:14 b Yob 11:20Emukuba awatali kusaasira,

ng’adduka ave mu maanyi gaayo.

2327:23 Yob 18:18Erimukubira engalo zaayo,

n’emusiiya okuva mu kifo kye.”