申命記 13 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

申命記 13:1-18

不可拜假神

1「如果你們中間出現了先知或解夢的人,要顯神蹟奇事給你們看, 2勸你們隨從、供奉素不認識的神明,即使他們顯的神蹟奇事應驗了, 3你們也不可聽從他們。因為這是你們的上帝耶和華在試驗你們,要看看你們是否全心全意地愛祂。 4你們要跟從你們的上帝耶和華,敬畏祂,遵守祂的誡命,聽從祂的話,事奉祂,倚靠祂。 5必須處死那些先知或解夢的人,因為他們慫恿你們背叛你們的上帝耶和華、偏離祂吩咐你們當走的道路。你們的上帝耶和華曾帶你們離開埃及,救你們脫離奴役。你們必須清除你們當中的邪惡。

6「如果你們的兄弟、兒女、愛妻或摯友引誘你們去拜你們和你們祖先都不認識的神明, 7引誘你們去拜你們周圍各族的神明,或在附近或遠在天邊, 8你們不可遷就、聽從他們,不可憐惜他們,不可放過或包庇他們。 9必須處死他們。你們要首先下手,然後眾人一起打死他們。 10你們要用石頭打死他們,因為他們企圖使你們背棄你們的上帝耶和華,祂曾把你們從受奴役之地——埃及領出來。 11這樣,所有以色列人聽了就會害怕,必無人再敢做這種惡事。

12-13「在你們的上帝耶和華將要賜給你們居住的各城中,如果你們聽說某城裡有惡人引誘城中的居民偏離正路,唆使他們去供奉你們不認識的神明, 14你們要認真查明真相。如果傳聞屬實,你們當中確有此惡行, 15你們一定要殺光那城中的居民和牲畜。 16你們要把城中的財物堆在廣場中心,然後放火焚燒那城和城中的財物,作為燔祭獻給你們的上帝耶和華。城要永遠荒廢,不可重建。 17-18你們不可保留任何應當被毀滅的東西,這樣耶和華就不再向你們發怒,轉而施恩憐憫你們。

「只要你們遵守我今天吩咐你們的一切誡命,做耶和華視為正的事,祂必按照祂對你們祖先所起的誓,憐憫你們,使你們人丁興旺。

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 13:1-18

113:1 Mat 24:24; Mak 13:22; 2Bs 2:9Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu n’akutegeeza eby’omu maaso nga yeeyambisa ebirooto, n’alangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, 213:2 nny 6, 13era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe b’otomanyangako), 313:3 Ma 8:2, 16towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala n’omutima gwammwe gwonna n’emmeeme yammwe yonna. 413:4 a 2Bk 23:3; 2By 34:31 b Ma 10:20Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga. 513:5 Ma 17:7, 12; 1Ko 5:13Kale nno nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo anattibwanga, kubanga anaabanga abasasamaza mujeemere Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, n’abanunula mu nnyumba ey’obuddu, nnabbi oyo ng’akusasamaza, ove mu kkubo ettuufu Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw’otyo ekibi ekiri mu mmwe, bw’onookimalangamu.

613:6 Ma 17:2-7; 29:18Omuntu yenna, ne bw’abanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gw’oyagala ennyo ow’okulusegere, n’akusendasendanga mu kyama ng’agamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe b’otomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako, 7bakatonda ab’abantu ababeetoolodde, ab’oku muliraano, oba abeewala, okuva ensi gy’etandikira ne gy’ekoma, 813:8 Nge 1:10tomuwulirizanga, so by’anaakugambanga tobikolanga. Tomusaasiranga era tomuzibiikirizanga wadde okumusonyiwanga. 913:9 Ma 17:5, 7Omuttiranga ddala. Gw’omusokangako ng’attibwa n’abantu bonna ne bassa okwo. 10Onoomukubanga amayinja n’omutta, kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa akuggye ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu. 1113:11 Ma 19:20Kale Isirayiri yonna banaakiwuliranga banaatyanga, era tewaabeerengawo mu mmwe n’omu anaddangayo okukola ekibi ng’ekyo.

12Bw’owuliranga mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by’akuwa okubeerangamu, 1313:13 nny 2, 6; 1Yk 2:19nga mulimu abantu abali mu mmwe abasituse ne basikiriza abantu b’omu kibuga kyabwe ekyo nga babagamba nti, “Ka tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda be mutamanyangako, 14kale nno kikusaanira obuulirizenga nnyo ku kintu ekyo, okyekebejjenga, okyekkaanyizenga ddala. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, nga wakati mu mmwe waliwo abakoze ekintu ekibi bwe kityo, 15kale, abantu bonna abanaabeeranga mu kibuga onoobattanga n’ekitala, awamu n’ebisolo byabwe bye balunda byonna. 1613:16 a Yos 6:24 b Yos 8:28; Yer 49:2Omunyago gwonna onoogukuŋŋaanyizanga wakati mu kibangirizi eky’omu kibuga, era onooyokyanga ekibuga kyonna n’omunyago gwako n’omuliro, ng’ekiweebwayo ekiri awamu ekyokebwa eri Mukama Katonda wo. Ekibuga ekyo kinaasigalanga awo nga kifunvu eky’olubeerera, tekiddibwengamu kuzimbibwa. 1713:17 a Kbl 25:4 b Ma 30:3 c Ma 7:13 d Lub 22:17; 26:4, 24; 28:14Tewaabeerengawo kintu na kimu ku ebyo ebinaabanga bimaze okukolimirwa ky’onoosangibwanga nakyo, bwe butyo obusungu bwa Mukama obunaabanga obungi ennyo bunakkakkananga; anaakukwatirwanga ekisa, n’akulaganga okwagala kwe, n’akwongeranga okwala, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, 1813:18 Ma 12:25, 28kubanga onoogonderanga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, n’okolanga ebisaanidde mu maaso ga Mukama Katonda wo.